Okuva 35
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebiragiro bya Ssabbiiti
35 (A)Awo Musa n’akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, n’abagamba nti, “Bino bye bintu Mukama by’abalagidde okukola. 2 (B)Munaakolanga emirimu mu nnaku omukaaga; naye olunaku olw’omusanvu lunaabanga Lwassabbiiti, lutukuvu, munaaluwummulanga awali Mukama. Buli anaakoleranga omulimu ku lunaku olwo anattibwanga. 3 (C)Temukumanga muliro mu nnyumba zammwe ku lunaku Lwassabbiiti.”
Ekiragiro ky’Eweema ya Mukama
4 Musa n’agamba ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, “Kino Mukama ky’alagidde. 5 Mutoole ku bye mulina muweeyo eri Mukama. Buli omu aweeyo, nga bw’ayagala mu mutima gwe ebiweebwayo eri Mukama:
“zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo;
6 n’olugoye olwa bbululu, n’olwa kakobe, n’olumyufu, n’olugoye olwa linena erangiddwa mu wuzi ennungi;
n’obwoya bw’embuzi,
7 n’amaliba g’endiga ennume amakunye amannyike mu langi emyufu, n’ekika ky’eddiba ekirala ekiwangaazi;
n’embaawo z’omuti gwa akasiya,
8 n’amafuta g’ettaala,
n’ebyakaloosa eby’okukozesa mu mafuta ag’okwawula, ne mu bubaane obw’okunyookeza,
9 n’amayinja aga onuku n’amayinja amalala ag’omuwendo, ag’okutona ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi era ne ku kyomukifuba.
10 (D)“Abo bonna mu mmwe abakugu mu kukola, muveeyo mujje mukole ebyo byonna Mukama by’atulagidde:
11 (E)“Eweema ya Mukama Omukuŋŋaanirwa n’olugoye lwayo n’ekibikkako, n’ebisiba, n’embaawo, n’emikiikiro, n’empagi zaayo, n’ebituurwamu;
12 (F)essanduuko ey’Endagaano n’emisituliro gyayo, n’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, n’eggigi erigisiikiriza;
13 (G)emmeeza n’emisituliro gyayo ne byonna ebigibeerako, n’emigaati gya Mukama egy’okulaga;
14 (H)ekikondo ky’ettaala n’ebigenderako, ettaala n’amafuta gaazo;
15 (I)ekyoto eky’okwoterezaamu obubaane n’emisituliro gyakyo; amafuta ag’okwawula, n’obubaane obw’akawoowo;
olutimbe olw’omu mulyango oguyingira mu Weema ya Mukama;
16 (J)ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ekitindiro kyakyo eky’ekikomo; emisituliro gyakyo ne byonna ebikozeserwako;
ebbensani ey’ekikomo ne ky’etuulako;
17 (K)entimbe ez’oku bisenge eby’omu luggya n’empagi zaazo ne mwe zituula; n’olutimbe olw’omu mulyango ogulaga mu luggya;
18 enkondo z’eweema n’ez’omu luggya n’emiguwa gyazo;
19 (L)ebyambalo ebiruke ebyambalwa mu kuweereza mu Kifo Ekitukuvu, bye byambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n’ebyambalo bya batabani be bye bakozesa mu bwakabona nga baweereza.”
Abantu Baleeta Ebirabo Byabwe
20 Awo abantu bonna ab’ekibiina ky’abaana ba Isirayiri ne bava awali Musa ne bagenda. 21 Buli eyayagala, era ng’omwoyo gwe bwe gwamukubiriza, n’awaayo eri Mukama eby’okukozesa Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebikozesebwamu byonna, n’eby’okukozesa ebyambalo ebitukuvu. 22 Abasajja n’abakazi bonna abaayagala mu mitima gyabwe ne bajja; ne baleeta ebikwaso eby’omuwendo, empeta ez’omu matu, n’empeta ez’oku ngalo, n’ebikomo, n’ebirala ebya zaabu ebitali bimu; buli muntu n’awaayo ekirabo ekya zaabu eri Mukama. 23 (M)Era buli muntu eyalina olugoye olwa bbululu, oba olwa kakobe, oba olumyufu, oba olwa linena ennungi, oba olw’obwoya bw’embuzi; oba amaliba amakunye ag’endiga ensajja oba ag’embuzi, byonna ne babireeta. 24 Buli omu eyalina eky’okuwaayo ekya ffeeza oba eky’ekikomo, yakireeta n’akiwaayo eri Mukama; era na buli musajja eyalina olubaawo olwa akasiya nga luyinza okugasa mu mulimu ogwali gukolebwa, yaluleeta n’aluwaayo. 25 (N)Abakazi bonna abaali bamanyi ennyo okulanga ewuzi, ne balanga n’engalo zaabwe ewuzi eza bbululu, n’eza kakobe, n’emyufu n’eza linena omuyonde obulungi, ne bazireeta ne baziwaayo. 26 Era n’abakazi bonna abaali abakugu era nga beeyagalidde, ne balanga ewuzi mu bwoya bw’embuzi. 27 (O)Awo abakulembeze ne baleeta amayinja aga onuku, n’amayinja amalala ag’omuwendo, gasalibwe galyoke gatonebwe ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ne ku ky’omu kifuba. 28 (P)Era ne baleeta n’ebyakaloosa, n’amafuta g’ettaala, n’amafuta ag’okwawula n’okukozesa ku bubaane. 29 (Q)Abaana ba Isirayiri bonna, abasajja n’abakazi, abaalina omutima ogwagala okuleeta ekintu kyonna olw’omulimu Mukama gwe yali alagidde Musa okukolebwa, ne bakireeta ng’ekiweebwayo kyabwe kye baawaayo eri Mukama nga beesiimidde.
Bezaaleeri ne Okoliyaabu n’abakozi
30 Awo Musa n’agamba abaana ba Isirayiri nti, “Muwulire. Mukama alonze Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda. 31 (R)Mukama amujjuzza Omwoyo we, n’obusobozi, n’amagezi, n’okuteteenkanya, n’okutegeera, awamu n’obukozi obwa buli ngeri; 32 ayiiye amajjolobera ag’okukolebwa mu zaabu ne ffeeza ne mu kikomo; 33 era n’ag’okusalwa mu mayinja ag’okutona, era n’ag’okwolebwa mu miti, n’okukola buli ngeri yonna ey’amagezi. 34 (S)Era ye ne Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani, Mukama abawadde obusobozi okuyigiriza abalala. 35 (T)Abajjuzza amagezi ag’obukugu mu mitima gyabwe okukola eby’emikono ebya buli ngeri ng’ebikolebwa abayiiya amajjolobera, oba abasala amayinja, oba abatunzi b’emidalizo n’ebimuli mu wuzi eza bbululu, n’eza kakobe n’emyufu mu bitambaala ebya linena omulungi, oba abalusi, oba abakugu abakola ebintu byonna ebya buli ngeri n’abatetenkanya amajjolobera.”
出埃及記 35
Chinese Contemporary Bible (Traditional)
安息日的條例
35 摩西招聚以色列全體會眾,對他們宣佈說:「以下是耶和華吩咐你們遵守的事。 2 一週可以工作六天,但第七天是聖日,是你們為耶和華守安息的日子。凡在這一天工作的,必被處死。 3 在安息日,家家戶戶都不可生火。」
為造聖幕奉獻
4 摩西對以色列全體會眾說:「以下是耶和華給你們的吩咐。
5 「凡慷慨樂捐的,都可以把下列物品獻給耶和華為禮物,即金,銀,銅, 6 細麻線,山羊毛,藍色、紫色和朱紅色的線, 7 染成紅色的公羊皮,海狗皮,皂莢木, 8 燈油,製作膏油和香的香料, 9 鑲嵌在以弗得和胸牌上的紅瑪瑙及其他寶石。
10 「你們當中的能工巧匠都要來建造耶和華所吩咐的物件, 11 即聖幕和聖幕的罩棚、頂蓋、鉤子、木板、橫閂、柱子和底座; 12 約櫃和抬約櫃的橫杠、施恩座和遮掩約櫃的幔子; 13 桌子和抬桌子的橫杠、桌上的一切器具和供餅; 14 燈臺和燈臺用的器具、燈盞和燈油; 15 香壇和抬香壇的橫杠、膏油和芬芳的香;聖幕門口的簾子; 16 燔祭壇、祭壇的銅網、抬祭壇的橫杠、祭壇用的一切器具、洗濯盆和盆座; 17 院子的帷幔、懸掛幔子的柱子和底座、遮擋院子入口的門簾; 18 聖幕和院子用的橛子和繩索; 19 在聖所供職時穿的精製禮服、亞倫祭司的聖衣及其眾子供祭司之職時穿的衣服。」
20 摩西說完後,以色列全體會眾便從他面前退去。 21 凡心裡有感動又甘願奉獻的,都把禮物拿來獻給耶和華,作會幕、會幕中的一切器具及聖衣之用。 22 凡甘心奉獻的,不論男女,都把別針、耳環、戒指、項鏈等各樣金飾拿來獻給耶和華。 23 凡有細麻線,山羊毛,藍色、紫色和朱紅色的線,染成紅色的公羊皮,海狗皮的,都把它們拿來了。 24 凡奉獻銀器和銅器的,都拿來獻給耶和華。凡有皂莢木的,只要用得上,都拿來奉獻。 25 凡懂得紡線的婦女,都把親手紡成的細麻線和藍色、紫色、朱紅色的線拿來奉獻。 26 凡心裡受感動又懂得紡織的婦女都來紡山羊毛。 27 眾首領奉獻了紅瑪瑙和其他寶石,用來鑲嵌在以弗得和胸牌上。 28 他們又獻出香料和油,用來做香、點燈、做膏油。 29 以色列人,不論男女、凡是甘心樂意奉獻的,都把禮物帶來獻給耶和華,好完成耶和華藉摩西吩咐他們的一切工作。
30 摩西對以色列人說:「看啊,耶和華已經親自選出猶大支派中戶珥的孫子、烏利的兒子比撒列, 31 上帝的靈已經充滿他,使他有聰明智慧,精於各種技能和手藝, 32 懂得用金、銀和銅製造各式各樣精巧的器具, 33 又能雕刻和鑲嵌寶石,精通木工和各種手藝。 34 耶和華又使他與但支派亞希撒抹的兒子亞何利亞伯有能力教授別人。 35 耶和華使他們成為能工巧匠,精通各樣技藝,包括雕刻、圖案設計、紡織以及用細麻線和藍色、紫色、朱紅色的線刺繡。」
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.