3 Mosebok 1-4
Swedish New Living Bible (Nya Levande Bibeln)
Brännoffret
1 Herren talade till Mose i tabernaklet där han uppenbarade sig,
2-3 och gav honom föreskrifter för Israels folk: När ni bär fram offer åt Herren, ska ni ta djur från era får- och boskapshjordar.Om ert offer är tänkt som ett brännoffer, ska ni ta en felfri tjur. Led fram tjuren till tältets ingång, där prästerna ska ta emot er gåva till Herren.
4 Där ska den som leder fram offerdjuret lägga sin hand på dess huvud, och Gud accepterar att djuret dör i stället för den som har syndat.
5 Sedan ska han slakta tjuren inför Herren, och Arons söner, prästerna, ska bära fram blodet inför Herren och stänka det på alla sidor av det altare som står vid ingången till tabernaklet.
6-7 Sedan ska han flå djuret och stycka det, och prästerna ska lägga ved på altaret och göra upp eld.
8 Därefter ska de lägga styckena med huvudet och fettet på elden.
9 Inälvorna och benen ska han tvätta och sedan ska prästerna bränna dem på altaret. Detta är ett eldsoffer och ett brännoffer som Herren uppskattar.
10 Om brännoffret väljs ut bland fåren och getterna måste det vara av hankön och felfritt.
11 Den person, som kommer med djuret, ska slakta det inför Herren på norra sidan av altaret, och Arons söner, prästerna, ska stänka av blodet på altarets alla sidor.
12 Sedan ska han stycka det, och prästerna ska lägga styckena tillsammans med huvudet och fettet på veden, som finns på altaret,
13 men inälvorna och benen ska först tvättas i vatten. Sedan ska prästerna bränna alltsammans på altaret som ett offer till Herren, för brännoffer är något som Herren uppskattar.
14 Om brännoffret är en fågel ska det vara antingen en turturduva eller en ung duva.
15-17 Prästen ska bära fram fågeln till altaret och vrida nacken av den. Den ska brännas på altaret, och blodet ska rinna ut vid sidan av altaret. Den orena krävan ska tas ut och kastas på östra sidan av altaret i askan. Den som offrar ska ta fågeln i vingarna och fläka upp den utan att slita den i stycken. Prästen ska sedan bränna den på altaret som ett välluktande offer till Herren.
Spisoffret
2 Den som vill bära fram ett spisoffer till Herren ska ta fint mjöl, hälla olivolja över det och sedan lägga rökelse ovanpå.
2 Sedan ska prästen ta en handfull av detta och bränna offret på altaret, och Herren ska se på det med uppskattning.
3 Det som blir kvar tillhör Aron och hans söner. Alltsammans räknas som ett heligt brännoffer till Herren.
4 Om bröd som är bakat i ugn ges som offer till Herren, måste det vara gjort av fint mjöl blandat med olivolja. Kakor ska vara bakade utan jäst eller surdeg och med olivolja.
5 Om offret är gräddat på ett galler, ska det vara av fint mjöl utan jäst, blandat med olivolja.
6 Bryt det i småbitar och häll olja över det. Detta är också en form av spisoffer.
7 Om ditt offer är tillagat i en panna, ska det också vara av fint mjöl blandat med olivolja.
8 Vilket av dessa tillredningssätt ni än väljer ska ni sedan ge spisoffret till prästen, och han ska ta det till altaret för att bära fram det inför Herren.
9 Prästerna ska bara bränna en del av offret som altaroffer.
10 Resten tillhör prästerna. Detta är ett heligt brännoffer inför Herren.
11 Använd aldrig jäst i ett spisoffer av mjöl. Varken jäst eller honung får brännas inför Herren.
12 Ni kan offra bröd med jäst och honung som förstlingsoffer vid skördetiden, men inte som brännoffer.
13 Alla spisoffer måste vara beströdda med salt som en påminnelse om Guds förbund.
14 Som förstlingsoffer ska du ta färska ax, som du krossar och rostar.
15 Häll olivolja över och lägg rökelse på offret, för det är ett spisoffer.
16 Sedan ska prästerna bränna en del av den krossade säden, blandad med olivolja, och all rökelse som ett eldsoffer inför Herren.
Tackoffret
3 När någon vill ge ett tackoffer till Herren, kan han använda antingen en tjur eller en ko, men djuret måste vara helt friskt om det ska offras åt Herren.
2 Den som offrar djuret ska lägga sin hand på dess huvud och slakta det vid ingången till tabernaklet. Sedan ska Arons söner stänka blodet på altarets alla sidor
3-5 och som brännoffer inför Herren bära fram fettet som täcker kroppens inre delar, de båda njurarna med det fett som sitter på låren samt fettet runt levern. Det ska brännas ovanpå brännoffret som ligger på elden. Detta offer kommer att bli mycket uppskattat av Herren.
6 Om en get eller ett får används som tackoffer till Herren får det inte ha något fel, och det kan antingen vara en hanne eller hona.
7-8 Om det är ett lamm, ska den som bär fram det lägga sin hand på dess huvud och slakta det vid ingången till tabernaklet. Prästerna ska stänka blodet på altarets alla sidor
9-11 och lägga det feta, svansen, avhuggen invid ryggraden, fettet som täcker de inre organen med de båda njurarna och fettet som sitter på låren samt på levern på altaret som ett eldsoffer åt Herren.
12 Om någon bär fram en get som offer till Herren,
13 ska han lägga sin hand på dess huvud och slakta den vid ingången till tabernaklet. Prästerna ska stänka dess blod på altarets alla sidor
14 och ska som brännoffer till Herren på altaret offra fettet som täcker de inre organen,
15-16 de båda njurarna och fettet som sitter på låren och runt levern. Det är ett brännoffer som Herren uppskattar. Allt fett tillhör Herren.
17 Det är en fastställd lag för all framtid att ni inte ska äta vare sig fett eller blod.
Syndoffret
4 Herren gav också följande föreskrifter till Mose:
2 Säg till Israels folk att dessa lagar gäller för dem som oavsiktligt bryter mot någon av mina föreskrifter.
3 Om den smorde prästen syndar oavsiktligt och drar skuld över folket, måste han offra en ung, felfri tjur som ett syndoffer inför Herren.
4 Han ska föra fram den till ingången till tabernaklet, lägga sin hand på dess huvud och slakta den inför Herren.
5 Sedan ska prästen bära in något av djurets blod i tabernaklet,
6 doppa sitt finger i blodet och stänka det sju gånger inför Herren, framför förhänget till det allraheligaste.
7 Prästen ska sedan stryka en del av blodet på rökelsealtarets horn. Resten av blodet ska hällas ut vid foten av brännofferaltaret, vid ingången till tältet.
8 Sedan ska han ta fettet runt inälvorna,
9 de båda njurarna och fettet runt dem, fettet på låren och på levern
10 och bränna det som ett eldsoffer, precis som man gör med tjuren eller kon när man bär fram tackoffer.
11-12 Men det som blir kvar av den unga tjuren, hud, kött, huvud, inälvor och tarmar, ska föras bort till den utvalda och rena plats utanför lägret dit askan bärs från altaret. Där ska alltsammans brännas upp med ved.
13 Om hela Israels folk syndar utan att förstå det genom att göra något som Herren har förbjudit, är det ändå skyldigt.
14 När man har insett detta, ska en ung tjur offras som syndoffer och föras fram till tabernaklet.
15 Där ska folkets ledare lägga sina händer på djurets huvud och slakta det inför Herren.
16 Sedan ska den smorde prästen bära in en del av dess blod i tabernaklet,
17 doppa sitt finger i blodet och stänka sju gånger inför Herren framför förhänget.
18 Därefter ska han stryka blod på hornen på altaret i tabernaklet inför Herren, och resten av blodet ska hällas ut vid foten av brännofferaltaret vid ingången till tältet.
19 Allt fett ska tas bort och brännas på altaret.
20 Han ska följa samma procedur som när man bär fram syndoffer. På så sätt ska prästen skaffa försoning för folket, och var och en ska bli förlåten.
21 Prästen ska släpa ut den offrade tjuren utanför lägret och bränna den där, precis som om den varit ett syndoffer för en enskild person, men vid dessa tillfällen gäller offren för hela folket.
22 Om någon av ledarna syndar utan att inse det och gör sig skyldig till olydnad mot Guds lagar,
23 ska han, så snart detta blir klart för honom, som offer bära fram en felfri bock.
24 Han ska lägga sin hand på dess huvud och slakta den på samma plats som man slaktar brännoffren, och sedan ska han bära fram offret inför Herren. Detta är hans syndoffer.
25 Sedan ska prästen ta en del av blodet och stryka det med sitt finger på hornen till brännofferaltaret. Resten av blodet ska hällas ut vid foten av altaret.
26 Allt fett ska brännas upp på altaret, alldeles som om det var fettet från ett tackoffer. På så sätt ska prästen försona ledarens synd och han ska få förlåtelse.
27 Om någon av folket syndar och inte inser det, är han skyldig.
28 Men så snart han förstår det, ska han som offer bära fram en felfri bock till försoning för sin synd.
29 Han ska föra fram den till det ställe där man slaktar djuren för brännoffren, lägga sin hand på syndoffret och slakta det.
30 Prästen ska ta en del av blodet och med sitt finger stryka det på brännofferaltarets horn. Resten ska han hälla ut vid altarets fot.
31 Allt fettet ska tas ut, precis som vid ett tackoffer, prästen ska bränna det på altaret och Herren ska ta emot offret med välbehag. På så sätt blir mannens synd försonad, och han får förlåtelse.
32 Men om han väljer att bära fram ett lamm som syndoffer, ska det vara en felfri hona.
33 Han ska leda fram det till det ställe där brännoffren slaktas, lägga sin hand på dess huvud och slakta det som ett syndoffer.
34 Prästen ska ta en del av blodet och med sitt finger stryka det på brännofferaltarets horn, och resten av blodet ska hällas ut vid altarets fot.
35 Fettet ska tas bort, som när man bär fram lamm till tackoffer, och prästen ska bränna det på altaret ovanpå det brännoffer, som offrats till Herren. Prästen skaffar på så sätt försoning för den som syndat och hans synd blir försonad.
Ebyabaleevi 1-4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Etteeka ery’Ekiweebwayo Ekyokebwa
1 (A)Awo Mukama n’ayita Musa, n’ayogera naye ng’asinziira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. N’amulagira nti, 2 (B)“Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omuntu yenna mu mmwe bw’aneeteesanga okuleeta ekiweebwayo eri Mukama, anaaleetanga ekiweebwayo kya nte ng’agiggya mu kiraalo kye, oba endiga oba embuzi ng’agiggya mu kisibo kye.’
3 (C)“Ekiweebwayo bwe kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa[a] nga kiva mu kiraalo ky’ente, anaawangayo seddume etaliiko kamogo. Anaagyereeteranga n’agiweerayo ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, kiryoke kikkirizibwe eri Mukama. 4 (D)Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakwatanga omutwe gwakyo, era kinakkirizibwanga ku lulwe kiryoke kimutangiririre olw’ebibi bye. 5 (E)Seddume eyo anaagittiranga mu maaso ga Mukama; era batabani ba Alooni, bakabona, banaddiranga omusaayi gwayo ne baguwaayo eri Mukama nga bagumansira ku kyoto okwebungulula enjuuyi zonna ez’ekyoto ekiri awo okumpi n’omulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 6 (F)Awo ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakibaagangako eddiba, n’akitemaatemamu ebifi. 7 (G)Batabani ba Alooni, kabona, banaakumanga omuliro mu kyoto, ne batindikira bulungi enku ku muliro ogwo. 8 (H)Awo batabani ba Alooni, bakabona, banaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu babitaddeko; banaabissanga ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto. 9 (I)Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabyokyanga ku kyoto ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
10 (J)“Ekinaaleetebwanga okuba ekiweebwayo ekyokebwa bwe kinaavanga mu kisibo, oba ndiga oba mbuzi, omuntu oyo anaawangayo ennume etaliiko kamogo. 11 (K)Anaagittiranga ku luuyi olwakkono olw’ekyoto mu maaso ga Mukama, era batabani ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto okukyebungulula. 12 Anaagitemaatemangamu ebifi; era kabona anaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu abitaddeko, n’abissa ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto. 13 Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabiwangayo, n’abyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
14 (L)“Ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama bwe kinaabanga eky’ennyonyi, omuntu anaaleetanga ekiweebwayo eky’amayiba oba eky’enjiibwa ento. 15 (M)Kabona anaaleetanga ennyonyi eyo ku kyoto n’aginyoola omutwe n’agukutulako, n’agwokya ku kyoto; omusaayi gwayo anaagukenenuliranga mu mbiriizi z’ekyoto. 16 (N)Anaagiggyangamu ekisakiro kyayo n’ebikirimu, n’akisuula ku ludda olw’ebuvanjuba olw’ekyoto mu kifo awayiyibwa evvu. 17 (O)Anaagikwatanga ebiwaawaatiro n’agiyuza; kyokka taagiryebulirengamu ddala. Anaagyokeranga ku nku ezikoledde omuliro mu kyoto; nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
Etteeka ery’Ekiweebwayo eky’Empeke
2 (P)“ ‘Omuntu yenna bw’anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke; empeke anaamalanga kuzisa, n’aleeta obuwunga obulungi. Anaabufukangako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’ateekako n’obubaane, 2 (Q)n’alyoka abuleetera batabani ba Alooni, bakabona. Kabona anaayoolanga olubatu lw’obuwunga obulimu amafuta ag’omuzeeyituuni n’obubaane, n’abwokya mu kyoto ng’ekijjukizo, nga kye kiweebwayo ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. 3 (R)Obuwunga obunaasigalangawo ku kiweebwayo, bunaatwalibwanga Alooni ne batabani be, nga kye kitundu ekitukuvu ennyo eky’ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.
4 (S)“ ‘Bw’onooleetanga emigaati egifumbiddwa mu oveni nga kye kiweebwayo, ginaabanga emigaati egikoleddwa mu buwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni nga tegiriimu kizimbulukusa, oba bunaabanga obusukuuti obw’oluwewere obutaliimu kizimbulukusa nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni. 5 Ekiweebwayo kyo bwe kinaabanga eky’emmere ey’empeke nga kitegekeddwa ku lukalango, kinaakolebwanga mu buwunga obulungi obutaliimu kizimbulukusa nga butabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni. 6 Onookimenyaamenyanga mu butundutundu, n’okifukako amafuta ag’omuzeeyituuni. Ekyo kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke. 7 (T)Ekiweebwayo kyo bwe kinaabanga eky’emmere ey’empeke nga kyakufumbirwa mu fulampeni, kinaateekebwateekebwanga mu buwunga obulungi n’amafuta ag’omuzeeyituuni. 8 Onooleeteranga Mukama ekiweebwayo ekyo eky’emmere ey’empeke ekitabuddwa mu bintu ebyo; bwe kinaakwasibwanga kabona, ye anaakireetanga ku kyoto. 9 (U)Awo kabona anaggyanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. 10 (V)Era ekinaafikkanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, Alooni ne batabani be, be banaakitwalanga; nga kye kitundu ekitukuvu ennyo ekibalirwa ku biweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.
Ekizimbulukusa n’Omunnyo
11 (W)“ ‘Temuleeteranga Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kiteekeddwamu n’ekizimbulukusa; kubanga temuuyokyenga kizimbulukusa wadde omubisi gw’enjuki ng’ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro. 12 (X)Munaabireetanga eri Mukama ng’ebiweebwayo eby’ebibala ebibereberye, naye tebiiweerwengayo ku kyoto okubeera evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. 13 (Y)Ebiweebwayo byo byonna eby’emmere ey’empeke onoobirungangamu omunnyo[b]: tokkirizanga munnyo ogw’endagaano ne Katonda wo okubula mu biweebwayo byo eby’emmere ey’empeke; mu biweebwayo byo byonna ossangamu omunnyo.
14 (Z)“ ‘Bw’onooleetanga eri Mukama ebiweebwayo eby’ebibala ebibereberye eby’emmere ey’empeke, binaabanga ebirimba ebibisi ebibereberye eby’emmere ey’empeke nga bibetenteddwa era nga byokeddwako mu muliro. 15 Onoobifukangako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’obiteekangako n’obubaane; ekyo nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke. 16 (AA)Awo kabona anaggyanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekimaze okubetentebwa nga mulimu amafuta ag’omuzeeyituuni n’obubaane, ekitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokya; ekyo nga kye kiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.
Etteeka ery’Ekiweebwayo olw’Emirembe
3 (AB)“ ‘Omuntu bw’anaaleetanga ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama, ekiweebwayo ekyo nga kya nte nnume oba nkazi gy’aggye mu kiraalo kye, ente eyo tebeerengako kamogo. 2 (AC)Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo anaakwatanga omutwe gwakyo n’akittira ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu; batabani ba Alooni, bakabona, ne balyoka bamansira omusaayi ku kyoto okukyebungulula. 3 (AD)Omu ku bakabona anaggyanga ebintu bino mu kiweebwayo olw’emirembe ekireeteddwa nga kyokeddwa mu muliro, nga kye kiweebwayo eri Mukama; anaawangayo amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda, 4 n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo. 5 (AE)Kale batabani ba Alooni banaabyokeranga kungulu ku kiweebwayo ekyokebwa ekiri ku nku eziri ku muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
6 (AF)“ ‘Omuntu anaggyanga mu kisibo kye ekisolo ekisajja oba ekikazi nga tekiriiko kamogo, n’akiwaayo eri Mukama. 7 (AG)Bw’anaaleetanga endiga ento nga kye kiweebwayo kye eri Mukama, 8 (AH)anaagikwatanga omutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto n’okukyebunguluza. 9 Mu kiweebwayo olw’emirembe ky’anaaleetanga okuwaayo ng’ekiweebwayo eri Mukama nga kyokebwa mu muliro, anaggyangamu bino n’abiwaayo eri Mukama: anaawangayo amasavu n’omukira gwonna n’amasavu gaagwo, nga gusaliddwako okumpi n’omugongo, n’amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda, 10 n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba, nga biggyibwako wamu n’ensigo. 11 (AI)Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okubeera ekyokulya ekiweebwayo eri Mukama nga kyokeddwa mu muliro.
12 “ ‘Ekiweebwayo kye bwe kinaabanga embuzi, anaagiwangayo ng’ekiweebwayo eri Mukama; 13 (AJ)anaagikwatanga omutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto n’okukyebunguluza. 14 Awo anaawangayo ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro ng’akiggya okwo: amasavu agabikka ebyenda, n’amasavu gonna agaliraanye ebyenda, 15 n’ensigo zombi n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo. 16 (AK)Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okubeera ekyokulya ekiweebwayo nga kyokebwa mu muliro okuvaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Amasavu gonna ganaabanga ga Mukama.
17 (AL)“ ‘Ekintu kino kinaabeeranga etteeka ery’ebiro byonna okuyita mu mirembe eginaagendanga giddiriragana mu bifo byonna gye munaabeeranga. Temulyanga masavu wadde omusaayi.’ ”
Etteeka ery’Ekiweebwayo nga Kabona y’Ayonoonye
4 Awo Mukama n’ayogera ne Musa n’amugamba nti, 2 (AM)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti: ‘Bino bye biragiro eri buli muntu anaasobyanga ku mateeka ga Mukama nga tagenderedde, n’akola ekintu kyonna Mukama kye yalagira obutakikolanga.
3 (AN)“ ‘Singa Kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ayonoona, bw’atyo abantu n’abaleetako omusango olw’ekibi ky’anaabanga akoze, anaaleeteranga Mukama ente ennume entoototo etaliiko kamogo, nga kye kiweebwayo eri Mukama olw’ekibi. 4 (AO)Sseddume eyo anaagireetanga ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu maaso ga Mukama; anaagikwatanga omutwe gwayo n’agittira awo mu maaso ga Mukama. 5 (AP)Awo kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni anaatoolangako ku musaayi gwa sseddume eyo n’aguleeta mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 6 Anannyikanga olugalo lwe mu musaayi ogwo n’agumansirako emirundi musanvu awo eggigi ery’awatukuvu we litunudde mu maaso ga Mukama. 7 (AQ)Awo kabona anaddiranga ku musaayi, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto okwoterezebwa obubaane obw’akawoowo, ekiri mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso ga Mukama. Omusaayi gwa sseddume ogunaasigalangawo gwonna, anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 8 (AR)Amasavu gonna aganaabanga mu sseddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, anaagaggyangako: amasavu agabikka ebyenda, n’amasavu gonna agaliraanye ebyenda, 9 (AS)n’ensigo zombi n’amasavu agazirimu okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba ng’abiggyirako wamu n’ensigo, 10 (nga bwe biggyibwa ku nte ey’ekiweebwayo olw’emirembe), bw’atyo kabona anaabyokeranga ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. 11 (AT)Naye eddiba lya sseddume eyo n’ennyama yaayo yonna, n’omutwe gwayo, n’amagulu gaayo, n’eby’omu nda byayo nga n’ebyenda kwebiri, awamu n’obusa bwayo, 12 (AU)ye sseddume yonna, anaagitwalanga wabweru w’olusiisira mu kifo ekiyonjo awayiyibwa evvu ly’ekyoto, anaatindiranga enku n’akuma omuliro n’agyokeranga okwo.
Etteeka ery’Ekiweebwayo ng’Abantu Bonna Boonoonye
13 (AV)“ ‘Ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri bwe kinaayonoonanga nga tekigenderedde, ne kikola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ekibiina ne bwe kinaabanga tekitegedde nti kisobezza, banaabanga bazzizza omusango. 14 (AW)Ekibi ekikoleddwa bwe kinaategeerekekanga, ekibiina kinaaleetanga sseddume y’ente entoototo mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi. 15 (AX)Abakulembeze b’ekibiina banassanga emikono gyabwe ku mutwe gwa sseddume eyo mu maaso ga Mukama, sseddume eyo n’ettirwa mu maaso ga Mukama. 16 (AY)Awo kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni anaatwalangako ku musaayi gwa sseddume eyo n’aguleeta mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 17 (AZ)Anannyikanga olugalo lwe mu musaayi ogwo n’agumansira emirundi musanvu awo eggigi ly’awatukuvu we litunudde mu maaso ga Mukama. 18 (BA)Anaddiranga ku musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto ekiri mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso ga Mukama. Omusaayi ogunaasigalangawo gwonna anaagufukanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 19 (BB)Anaggyangamu amasavu gaayo gonna n’agookera ku kyoto, 20 (BC)n’akola ku sseddume eno nga bwe yakola ku sseddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi. Bw’atyo kabona anaatangiririranga abantu bonna mu kibiina, era ne basonyiyibwa. 21 (BD)Anaafulumyanga sseddume eno ebweru w’olusiisira n’agyokya nga bwe yayokya sseddume eri eyasooka. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi ku lw’ekibiina ky’abantu bonna.
Etteeka ery’Ekiweebwayo ng’Omufuzi Ayonoonye
22 (BE)“ ‘Omufuzi bw’anaayonoonanga nga tagenderedde n’akola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, anaabanga azzizza omusango. 23 Ekibi ekyo ky’akoze bwe kinaamalanga okumutegeezebwa, anaaleetanga ekiweebwayo kye eky’embuzi ensajja etaliiko kamogo. 24 Anagikwatanga ku mutwe gwayo, n’agittira awo mu maaso ga Mukama we battira ebiweebwayo ebyokebwa. Ekyo nga kye kiweebwayo olw’ekibi. 25 (BF)Awo kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’olugalo lwe, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. 26 (BG)Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto okwo, okufaanana ng’amasavu olw’ekiweebwayo olw’emirembe bwe ganaayokebwanga. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omufuzi oyo olw’ekibi kye, n’asonyiyibwa.
Etteeka ery’Ekiweebwayo olw’Abantu Abaabulijjo
27 (BH)“ ‘Omuntu yenna owabulijjo bw’anaayonoonanga nga tagenderedde, n’akola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, anaabanga azzizza omusango. 28 (BI)Ekibi ekyo ky’akoze bwe kinaamalanga okumutegeezebwa, anaaleetanga ekiweebwayo kye eky’embuzi enkazi etaliiko kamogo, olw’ekibi ekyo ky’akoze. 29 (BJ)Anaakwatanga ku mutwe gw’ekiweebwayo ekyo olw’ekibi, n’akittira awo awattirwa ebiweebwayo ebyokebwa. 30 (BK)Awo kabona anaddiranga ku musaayi gwakyo n’olugalo lwe n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo, gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. 31 (BL)Amasavu gaakyo anaagaggyangamu nga ag’omu biweebwayo olw’emirembe bwe gaggyibwamu; kabona anaagookeranga ku kyoto ne gavaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.
32 (BM)“ ‘Bw’anaabanga aleese endiga ento ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi, anaaleetanga nkazi etaliiko kamogo. 33 (BN)Anaagikwatanga ku mutwe, n’agittira awo awattirwa ebiweebwayo ebyokebwa, nga kye kiweebwayo olw’ekibi. 34 (BO)Awo kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’olugalo lwe, n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo, gwonna anaaguyiwanga ku ntobo ey’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa. 35 (BP)Amasavu gaayo anaagaggyangamu nga ag’omu biweebwayo olw’emirembe bwe gaggyibwamu, era kabona anaagookeranga ku kyoto ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.
Footnotes
- 1:3 ekiweebwayo ekyokebwa Ebika by’ensolo bisatu bye byaweebwangayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa, okusinziira ku mbeera y’omuntu awaayo ssaddaaka: ente sseddume yaweebwangayo abantu abagagga; endiga n’embuzi (lunny 10) n’ebinyonyi (lunny 14) byaweebwangayo abantu abaavu (5:7; 12:8)
- 2:13 omunnyo Omunnyo guyamba emmere obutavunda.
Copyright © 1974, 1977, 1987, 1995, 2003, 2004 by Biblica
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.