Zabbuli 2:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma,
era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.”
1 Abakkolinso 15:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)olwo enkomerero n’eryoka etuuka, Kristo n’akwasa Katonda Kitaawe obwakabaka; Kristo ng’amaze okuzikiriza obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna era n’amaanyi gonna.
Read full chapter
Isaaya 60:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Kubanga eggwanga oba obwakabaka ebitakuweereze byakuzikirira.
Ensi ezo zijja kuggweerawo ddala.
Zabbuli 145:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.
Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
Isaaya 9:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Okufuga kwe n’emirembe
biryeyongeranga obutakoma.
Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe,
n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu
okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
Obumalirivu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
bulikituukiriza ekyo.
Danyeri 4:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)Oluvannyuma lw’ebbanga eryo, nze, Nebukadduneeza, ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne gakomawo. Ne ntendereza Oyo Ali Waggulu Ennyo, ne muwa ekitiibwa ne mugulumiza oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe.
Okufuga kwe tekuliggwaawo,
n’obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe.
Danyeri 6:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)“Nteeka etteeka mu buli kitundu ky’obwakabaka bwange bwonna nga ndagira nti abantu bateekwa okutya n’okussaamu Katonda wa Danyeri ekitiibwa.
“Kubanga ye Katonda omulamu,
abeerera emirembe gyonna;
n’obwakabaka bwe tebuliggwaawo,
n’okufuga kwe tekulikoma.
Danyeri 7:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)N’aweebwa obuyinza, n’ekitiibwa, n’obwakabaka n’amaanyi agava waggulu; abantu bonna, n’amawanga gonna, n’abantu ab’ennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, n’obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.
Read full chapter
Danyeri 7:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)N’oluvannyuma ekitiibwa, n’obuyinza n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu, buliweebwa abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo. Obwakabaka bwe bulibeerawo emirembe gyonna, n’amatwale amalala gonna galimugondera ne gamuweereza.’
Read full chapter
Mikka 4:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Abalema ndibafuula abalonde,
n’abo be nagoba, mbafuule eggwanga ery’amaanyi.
Mukama alibafugira mu Lusozi Sayuuni
okuva ku lunaku olwo okutuusa emirembe gyonna.
Mikka 4:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)“Golokoka otandike okusa ggwe Omuwala wa Sayuuni,
kubanga ejjembe lyo ndirifuula ekyuma;
ndikuwa ebigere eby’ekyuma eky’ekikomo
era olibetenta amawanga mangi.”
Amagoba gaabwe n’ebintu byabwe bye bafunye mu makubo amakyamu olibiwaayo eri Mukama,
n’obugagga bwabwe n’obuwaayo eri Mukama w’ensi zonna.
Lukka 1:33
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
33 (A)Alifuga ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era n’obwakabaka bwe tebulikoma.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.