Yeremiya 31:18-19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)“Ddala mpulidde Efulayimu ng’akungubaga nti,
‘Wankangavvula ng’ennyana endalu
era kaakano nkangavvuddwa.
Nziza, n’akomawo gy’oli
kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
19 (B)Nga mmaze okubula,
neenenya,
nga nzizeemu amagezi agategeera
ne neekuba mu kifuba.
Nakwatibwa ensonyi era ne nswala,
kubanga naliko ekivume ky’obuvubuka bwange.’
Abaebbulaniya 12:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu, kuba kwa bulumi, naye oluvannyuma kuleeta ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa, era ekivaamu bwe butuukirivu.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.