Oluyimba 1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
1 (A)Oluyimba lwa Sulemaani olusinga ennyimba zonna.
Omwagalwa
2 (B)Leka annywegere n’emimwa gye
kubanga okwagala kwo kusinga envinnyo,
3 (C)n’amafuta go gawunya akaloosa akalungi;
erinnya lyo liri ng’amafuta agattululwa,
era abawala kyebava bakwagala.
4 (D)Baako ne gy’ontwala, yanguwa!
Kabaka ansembezezza kumpi nnyo antutte mu bisenge bye.
Abemikwano
Tunaasanyuka ne tukujagulizaamu;
era tunaatendereza okwagala kwo okusinga envinnyo.
Omwagalwa
Nga batuufu okukwegomba!
5 (E)Ndi muddugavu, ndi mulungi,
Mmwe abawala ba Yerusaalemi
muli ng’eweema ez’e Kedali,[a]
era ng’entimbe za Sulemaani.
6 (F)Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu,
olw’okuba omusana gunjokezza.
Batabani ba mmange baansunguwalira;
ne bandagira okukuuma ennimiro ez’emizabbibu.
Ennimiro yange ngigayaaliridde.
7 (G)Ntegeeza ggwe gwe njagala, gy’oliisiza ekisibo kyo,
ne gy’owumuliza endiga zo mu ssaawa ez’omu ttuntu.
Lwaki mbeera ng’omukazi eyeebisse amaaso
nga nninaanye ebisibo eby’abanywanyi bo?
Abemikwano
8 (H)Bw’oba nga tomanyi, ggwe omukyala asinga bonna obulungi,
goberera ekkubo endiga lye zikutte,
ogende oliisize embuzi zo ento,
okumpi n’eweema z’abasumba.
Owoomukwano
9 (I)Omwagalwa wange,
nkugeraageranya n’embalaasi esika amagaali ga Falaawo.
10 (J)Amatama go galabika bulungi ng’oyambadde ebikomo eby’oku matu,
n’ensingo yo nerabika bulungi ng’erimu eby’omu bulago eby’omuwendo.
11 Tunaakukolera eby’oku matu ebya zaabu,
nga birina amapeesa aga ffeeza.
Omwagalwa
12 (K)Kabaka bwe yali ng’atudde ku mmeeza ye,
akawoowo kange ne kamuwunyira bulungi.
13 Muganzi wange ali ng’ensawo eya kaloosa aka mooli[b] gye ndi,
ng’awummulidde mu kifuba kyange.
14 (L)Muganzi wange ali ng’ekiganda eky’ebimuli ebya kofera[c]
ebivudde mu nnimiro ez’emizabbibu ez’e Engedi.[d]
Owoomukwano
15 (M)Laba, oli mubalagavu, omwagalwa wange
oli mubalagavu olabika bulungi.
Amaaso go mayiba.
Omwagalwa
16 Olabika bulungi muganzi wange,
era onsanyusa.
Ekitanda kyaffe kya muddo muto.
Owoomukwano
17 (N)Emikiikiro gy’ennyumba yaffe mivule,
n’enzooba zaffe nkanaga.
Footnotes
- 1:5 Abantu b’e Kedali baali Bawalabu abaabeeranga mu bukiikaddyo obw’obuvanjuba wa Edomu. Baabeeranga mu weema ze baakolanga mu maliba g’embuzi enzirugavu.
- 1:13 Mooli kaloosa kalungi nnyo akakolebwa okuva mu balusamu nga kasangibwa mu Esiyopya, ne mu Buyindi, ne mu nsi za Buwalabu. Mooli yakozesebwanga ng’obuwoowo mu biseera ebyo
- 1:14 Kofera kimuli ky’akaloosa kalungi, era kikolebwamu obuwoowo.
- 1:14 Engedi nsulo y’amazzi esangibwa ku luuyi olw’obugwanjuba bw’Ennyanja ey’Omunnyo, era we luli wamerawo ebimera ebyakaloosa bingi.
Song of Solomon 1
World English Bible
1 The Song of songs, which is Solomon’s.
Beloved
2 Let him kiss me with the kisses of his mouth;
for your love is better than wine.
3 Your oils have a pleasing fragrance.
Your name is oil poured out,
therefore the virgins love you.
4 Take me away with you.
Let’s hurry.
The king has brought me into his rooms.
Friends
We will be glad and rejoice in you.
We will praise your love more than wine!
Beloved
They are right to love you.
5 I am dark, but lovely,
you daughters of Jerusalem,
like Kedar’s tents,
like Solomon’s curtains.
6 Don’t stare at me because I am dark,
because the sun has scorched me.
My mother’s sons were angry with me.
They made me keeper of the vineyards.
I haven’t kept my own vineyard.
7 Tell me, you whom my soul loves,
where you graze your flock,
where you rest them at noon;
for why should I be as one who is veiled
beside the flocks of your companions?
Lover
8 If you don’t know, most beautiful among women,
follow the tracks of the sheep.
Graze your young goats beside the shepherds’ tents.
9 I have compared you, my love,
to a steed in Pharaoh’s chariots.
10 Your cheeks are beautiful with earrings,
your neck with strings of jewels.
Friends
11 We will make you earrings of gold,
with studs of silver.
Beloved
12 While the king sat at his table,
my perfume spread its fragrance.
13 My beloved is to me a sachet of myrrh,
that lies between my breasts.
14 My beloved is to me a cluster of henna blossoms
from the vineyards of En Gedi.
Lover
15 Behold,[a] you are beautiful, my love.
Behold, you are beautiful.
Your eyes are like doves.
Beloved
16 Behold, you are beautiful, my beloved, yes, pleasant;
and our couch is verdant.
Lover
17 The beams of our house are cedars.
Our rafters are firs.
Footnotes
- 1:15 “Behold”, from “הִנֵּה”, means look at, take notice, observe, see, or gaze at. It is often used as an interjection.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
by Public Domain. The name "World English Bible" is trademarked.