Okuva 9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Nsotoka mu Magana ag’Abamisiri
9 (A)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Genda ewa Falaawo omugambe nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agambye nti, ‘Leka abantu bange bagende, bansinze. 2 Singa ogaana okubakkiriza okugenda, n’oyongera okubakuumira wano, 3 (B)Mukama ajja kusindika nsotoka omukambwe ennyo mu magana go agali mu malundiro, ne mu mbalaasi ne mu ndogoyi, ne mu ŋŋamira, ne mu zisseddume z’ente ne mu ndiga. 4 (C)Naye Mukama ajja kwawulamu amagana aga Isirayiri n’aga Misiri, waleme kubaawo nsolo n’emu efa mu magana ag’abaana ba Isirayiri.’ ”
5 Mukama n’alonda ekiseera, n’agamba nti, “Enkya Mukama w’anaakolera ekintu kino mu nsi eno.” 6 (D)Era enkeera Mukama n’akola ekikolwa ekyo: amagana aga Misiri gonna ne gafa, naye ne wataba nsolo n’emu ku magana ag’abaana ba Isirayiri eyafa. 7 (E)Falaawo n’atuma abantu okwetegereza, ne basanga nga tewali wadde ensolo n’emu ey’abaana ba Isirayiri eyali efudde. Naye era omutima gwa Falaawo ne gusigala nga gukyakakanyadde, Abayisirayiri n’atabakkiriza kugenda.
Amayute n’Amabwa mu Bamisiri
8 Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, “Muyoole mu kyokero embatu z’omunyale, Musa agumanse waggulu mu bbanga nga ne Falaawo alaba. 9 (F)Gujja kufuuka nfuufu mu nsi yonna ey’e Misiri, guleete amayute ku bantu ne ku nsolo aganaatulikamu amabwa mu nsi yonna ey’e Misiri.”
10 Bwe batyo ne bayoola omunyale mu kyokero, ne bagenda bayimirira mu maaso ga Falaawo. Musa n’amansa evvu waggulu mu bbanga, ne lifuuka amayute, ne gatulikamu amabwa ku bantu ne ku nsolo. 11 (G)Abalogo ne batasobola kuyimirira mu maaso ga Musa olw’amayute;[a] kubanga amayute gaakwata abalogo n’Abamisiri bonna. 12 (H)Naye Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atawuliriza Musa ne Alooni, era nga Mukama bwe yagamba Musa.
Amayinja g’Omuzira Gagwa mu Bamisiri
13 (I)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ozuukuka mu makya nnyo, n’ogenda oyolekera Falaawo, n’omugamba nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agamba bw’ati nti, ‘Leka abantu bange bagende, bampeereze. 14 (J)Kubanga ku mulundi guno nzija kukusindikira kawumpuli ku ggwe kennyini, ne ku baweereza bo, ne ku bakungu bo, olyoke otegeere nga tewali ali nga nze mu nsi yonna. 15 (K)Kubanga nandiyinzizza okugolola omukono gwange ne nkusindikira olumbe, ggwe n’abantu bo, ne lubamalawo ku nsi. 16 (L)Naye olw’ensonga eno kyennava nkuleka n’obeera mulamu, ndyoke njolese amaanyi gange, era n’erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi yonna. 17 Kyokka okyekulumbaliza ku bantu bange n’otobakkiriza kugenda, 18 (M)noolwekyo, enkya obudde nga bwe buti, nzija kusindika kibuyaga ow’omuzira ogw’amayinja ogutagwangako mu Misiri kasookedde ensi eyo ebaawo. 19 Kale, lagira bayingize amagana go ag’ente, n’ebisolo byonna ebiri mu ddundiro, kubanga omuzira gujja kukuba buli muntu ali ebweru era ajja kufa; ne buli nsolo yonna eneebeera ebweru mu ddundiro gujja kugikuba efe.’ ”
20 (N)Abakungu ba Falaawo abaali batya ekigambo kya Mukama, ne banguwa ne bayingiza abaddu baabwe n’amagana gaabwe. 21 Naye abo abatassaayo mwoyo ku kigambo kya Mukama ne baleka abaddu baabwe n’amagana gaabwe ebweru.
22 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gugwe ku nsi yonna ey’e Misiri: gukube abantu, n’ensolo, ne buli kimera kyonna ekiri mu nnimiro mu Misiri.” 23 (O)Musa n’ayolekeza omuggo gwe eri eggulu; Mukama n’asindika okubwatuka n’omuzira; laddu ne yakira ku ttaka. Bw’atyo Mukama n’atonnyesa omuzira ku nsi y’e Misiri. 24 Omuzira ne gugwa, n’okumyansa ne kwetabika n’omuzira awatali kusalako, ne guba mungi nnyo, nga tegugwangako bwe gutyo kasookedde ensi ya Misiri efuuka ggwanga. 25 (P)Omuzira gwakuba buli kintu kyonna ekyali ebweru mu nnimiro mu nsi yonna ey’e Misiri: abantu n’ensolo; era omuzira ne gukuba buli kimera kyonna mu nnimiro, ne gusensebula emiti gyonna ku ttale. 26 (Q)Ekitundu kyokka ekitaatuukwamu muzira, kye kya Goseni, abaana ba Isirayiri gye baabeeranga.
27 (R)Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni, n’abagamba nti, “Leero luno nnyonoonye; Mukama ye mutuufu, naye nze n’abantu bange ffe bakyamu. 28 (S)Weegayirire Mukama; kubanga omuzira n’okubwatuka bitwetamizza. Nzija kubaleka mugende; siraba kyemuva mweyongera kubeera wano.”
29 (T)Musa n’addamu nti, “Olunaafuluma mu kibuga, nnaagolola emikono gyange waggulu eri Mukama ne mmusaba. Okubwatuka kunaasirika, n’omuzira gunaalekera awo okugwa; olyoke otegeere ng’ensi eno Mukama ye nannyini yo. 30 Kyokka mmanyi nga ggwe n’abakungu bo temunnatya Mukama Katonda.”
31 (U)(Obugoogwa ne sayiri byakubwa ne bizikirizibwa, kubanga sayiri yali ayengera nga n’obugoogwa bumulisizza. 32 Naye eŋŋaano n’omukyere, byo tebyayonoonebwa kubanga byali tebinnayengera.)
33 Musa n’ava mu kibuga ewa Falaawo, n’awanika emikono gye eri Mukama ng’amusaba; okubwatuka n’omuzira ne bisirika, era n’enkuba n’ekya. 34 Naye Falaawo bwe yalaba enkuba, n’omuzira, n’okubwatuka nga birekeddaawo, ate ne yeeyongera okusobya; ye n’abakungu be ne bakakanyaza emitima gyabwe. 35 (V)Omutima gwa Falaawo bwe gutyo ne gukakanyala; n’ataleka baana ba Isirayiri kugenda, era nga Mukama bwe yayogerera mu Musa.
Footnotes
- 9:11 Ebirwadde n’ebibonoobono ebyasooka byali bituuse ku bintu ebisinzibwa, kyokka ekirwadde kino kyali kituuse ku balogo, baleme kuddayo nate kutawanya Musa.
Exodus 9
EasyEnglish Bible
5: Death of animals
9 Then the Lord said to Moses, ‘Go to Pharaoh and say to him, “The Lord, the God of the Israelites says this: Let my people go so that they may worship me. 2 If you refuse to let them go, you will have more trouble. If you still keep them in Egypt, 3 the Lord will punish you. He will send a very bad illness on all your animals. Your animals in the fields, your horses, donkeys, camels, cows, sheep and goats will all become very ill. 4 But the Lord will make a difference between the animals of the Israelites and the animals of the Egyptians. None of the animals of the Israelites will die.” ’
5 The Lord decided when this would happen. He said, ‘Tomorrow I will make this happen in the land of Egypt.’ 6 So on the next day, the Lord did it! All the animals of the Egyptians died. But not one of the animals of the Israelites died. 7 Pharaoh sent his men to see what had happened. They saw that not one of the animals of the Israelites was dead! But Pharaoh's mind was still hard. He did not let the people go.
6: Boils
8 Then the Lord said to Moses and Aaron, ‘Take in your hands some ashes from an oven. Throw them up in the air as Pharaoh watches. 9 They will become very small dust over the whole country of Egypt. The dust will cause boils to appear on the skin of people and animals. It will happen all over Egypt.’
10 So they took ashes from an oven and they stood in front of Pharaoh. Moses threw the ashes up in the air. Then bad boils appeared on both people and animals. 11 All the Egyptians had boils, even the magicians. Because of the boils, the magicians could not stand in front of Moses. 12 But Pharaoh refused to listen to Moses and Aaron. The Lord caused Pharaoh's mind to be hard. The Lord had told Moses that this would happen, and it did!
7: Hail
13 Then the Lord said to Moses, ‘Get up early in the morning and go to Pharaoh. Say to him, “This is what the Lord, the God of the Israelites says: Let my people go to worship me. 14 This time, I will send all my troubles to punish you. I will send them against you, your officers and your people. I want you to know that there is nobody as great as me in the whole earth. That is why I am doing this. 15 Already I could have used my power to destroy you and your people. With one very bad trouble, I could have removed you from the earth. 16 But I have let you live, to show you my power. Then people all over the world will know how great I am. 17 You are still too proud to let my people go.
18 Look! Tomorrow at this time, I will send a very great storm of hail. Nobody has ever seen hail fall like this in Egypt before now. From Egypt's first day as a country until today, nobody has seen a storm like this. 19 Now send your servants out to tell this message to your people. You must bring into your houses all your animals from the fields to be safe. The hail will fall on every person and on every animal that is still outside. They will all die.” ’
20 Some of Pharaoh's officers were afraid of what the Lord said he would do. So they quickly brought their servants and animals inside their houses. 21 But others did not believe the Lord's message. They left their servants and animals outside in the fields.
22 Then the Lord said to Moses, ‘Lift up your hand towards the sky. Then hail will fall over all the country of Egypt. It will fall on people and on animals. It will fall on all the plants that grow in the fields of Egypt.’
23 When Moses lifted up his stick towards the sky, the Lord sent a great storm. He sent thunder, hail and lightning. 24 The hail fell and there was lightning like fire. It was the worst storm anywhere in Egypt since Egypt had become a nation. 25 Everywhere in Egypt, the hail knocked down everything that was in the fields. It knocked down both people and animals. It knocked down all the plants in the fields and it broke all the trees. 26 But no hail fell in the region of Goshen, where the Israelites lived.
27 Then Pharaoh called Moses and Aaron to come to him. He said to them, ‘This time, I have done a bad thing. The Lord is right. I and my people are guilty. 28 The storms with the thunder and the hail are too much for us! Pray to the Lord to take them away. Then I will let you go! You do not need to stay any longer in Egypt.’
29 Then Moses said to Pharaoh, ‘As soon as I leave the city, I will lift my hands to the Lord and I will pray to him. The storm will stop and there will be no more hail. Then you will know that the whole world belongs to the Lord. 30 But I know you and your officers. You still do not respect the Lord God.’[a]
31 At that time, the barley was ripe in the fields and the flax was nearly ripe. So the storm of hail destroyed the flax and the barley. 32 But the hail did not destroy the wheat and other grains. Those crops become ripe later in the year.[b]
33 Then Moses left Pharaoh and he went out of the city. He lifted up his hands to the Lord and he prayed. Then the storms and the hail stopped. The heavy rain stopped falling on the earth.
34 Pharaoh saw that the rain and the hail and the storms had stopped. So he did a bad thing again. His mind and his officers' minds became hard. 35 Pharaoh still refused to obey God. He did not let the Israelites go. The Lord had told Moses that this would happen, and it did!
Footnotes
- 9:30 Moses knew that Pharaoh and his servants were not really afraid of God. They only wanted their problems to go away. They wanted the bad things that were happening to stop.
- 9:32 Flax is a plant. People make cloth from the flax plant. Barley is a food plant. Wheat is also a food plant that makes grains. These plants had not yet grown as tall, so the hail did not destroy them.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
EasyEnglish Bible Copyright © MissionAssist 2019 - Charitable Incorporated Organisation 1162807. Used by permission. All rights reserved.