Add parallel Print Page Options

15 (A)ekyoto eky’okwoterezaamu obubaane n’emisituliro gyakyo; amafuta ag’okwawula, n’obubaane obw’akawoowo;

olutimbe olw’omu mulyango oguyingira mu Weema ya Mukama;

16 (B)ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ekitindiro kyakyo eky’ekikomo; emisituliro gyakyo ne byonna ebikozeserwako;

ebbensani ey’ekikomo ne ky’etuulako;

17 (C)entimbe ez’oku bisenge eby’omu luggya n’empagi zaazo ne mwe zituula; n’olutimbe olw’omu mulyango ogulaga mu luggya;

Read full chapter