Okuva 18:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Yesero n’agamba nti, “Mukama atenderezebwe eyabanunula mu mikono gy’Abamisiri ne mu mukono gwa Falaawo, n’aggya abantu be mu mikono gy’Abamisiri.
Read full chapter
Luusi 4:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Abakyala ne bagamba Nawomi nti, “Mukama Katonda yeebazibwe, oyo atakulese nga tolina mununuzi olunaku lwa leero. Era erinnya ly’omwana lyatiikirire mu Isirayiri yonna!
Read full chapter
1 Samwiri 25:32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 (A)Awo Dawudi n’agamba Abbigayiri nti, “Mukama Katonda wa Isirayiri atenderezebwe, akutumye okujja okunsisinkana leero.
Read full chapter
Olubereberye 24:49
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
49 (A)Kale kaakano obanga mu mazima munaakolera mukama wange ebyekisa, mumbuulire, era obanga si bwe kityo mumbuulire; ndyoke mmanye eky’okukola.”
Read full chapter
Olubereberye 32:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)sisaanira wadde akatundu akatono ak’okwagala kwo okutaggwaawo, wadde obwesigwa bwonna bw’olaze omuddu wo. Kubanga nasomoka omugga guno Yoludaani nga nnina muggobuggo; naye kaakano nfuuse ebibinja bibiri.
Read full chapter
Zabbuli 98:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Ajjukidde okwagala kwe okutakoma
n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri.
Enkomerero z’ensi yonna zirabye
obulokozi bwa Katonda waffe.
Olubereberye 32:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 Ekirabo kyekyava kimukulemberamu, ye n’asula mu kifo we yali ekiro ekyo.
Read full chapter
Olubereberye 24:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)N’asaba nti, “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu mpa obuwanguzi leero nkwegayiridde, olage mukama wange Ibulayimu okwagala kwo okutaggwaawo.
Read full chapter
Olubereberye 24:48
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
48 (A)Awo ne nkutamya omutwe gwange ne nsinza Mukama ne muwa ekitiibwa, Katonda wa mukama wange Ibulayimu eyankulembera nannuŋŋamya mu lugendo lwange okuwasiriza mutabani wa mukama wange omukazi okuva mu bantu ba mukama wange.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.