Isaiah 44
Christian Standard Bible
Spiritual Blessing
44 “And now listen, Jacob my servant,
Israel whom I have chosen.(A)
2 This is the word of the Lord
your Maker, the one who formed you from the womb:
He will help you.
Do not fear, Jacob my servant,
Jeshurun[a] whom I have chosen.(B)
3 For I will pour water on the thirsty land
and streams on the dry ground;
I will pour out my Spirit(C) on your descendants
and my blessing on your offspring.
4 They will sprout among[b] the grass
like poplars by flowing streams.
5 This one will say, ‘I am the Lord’s’;
another will use the name of Jacob;
still another will write on his hand, ‘The Lord’s,’
and take on the name of Israel.”
No God Other Than the Lord
6 This is what the Lord, the King of Israel and its Redeemer,(D) the Lord of Armies, says:
I am the first and I am the last.(E)
There is no God but me.(F)
7 Who, like me, can announce the future?
Let him say so and make a case before me,(G)
since I have established an ancient people.
Let these gods declare[c] the coming things,
and what will take place.
8 Do not be startled or afraid.
Have I not told you and declared it long ago?
You are my witnesses!(H)
Is there any God but me?(I)
There is no other Rock;(J) I do not know any.
9 All who make idols are nothing,
and what they treasure benefits no one.
Their witnesses do not see or know anything,
so they will be put to shame.(K)
10 Who makes a god or casts a metal image
that benefits no one?(L)
11 Look, all its worshipers will be put to shame,
and the craftsmen are humans.
They all will assemble and stand;
they all will be startled and put to shame.
12 The ironworker labors over the coals,
shapes the idol with hammers,
and works it with his strong arm.
Also he grows hungry and his strength fails;
he doesn’t drink water and is faint.
13 The woodworker stretches out a measuring line,
he outlines it with a stylus;
he shapes it with chisels
and outlines it with a compass.
He makes it according to a human form,(M)
like a beautiful person,
to dwell in a temple.
14 He cuts down[d] cedars for his use,
or he takes a cypress or an oak.
He lets it grow strong among the trees of the forest.
He plants a laurel, and the rain makes it grow.
15 A person can use it for fuel.
He takes some of it and warms himself;
also he kindles a fire and bakes bread;
he even makes it into a god and worships it;
he makes an idol from it and bows down to it.
16 He burns half of it in a fire,
and he roasts meat on that half.
He eats the roast and is satisfied.
He warms himself and says, “Ah!
I am warm, I see the blaze.”
17 He makes a god or his idol with the rest of it.
He bows down to it and worships;
he prays to it,(N) “Save me, for you are my god.”
18 Such people[e] do not comprehend
and cannot understand,
for he has shut their eyes[f] so they cannot see,
and their minds so they cannot understand.
19 No one comes to his senses;[g]
no one has the perception or insight to say,
“I burned half of it in the fire,
I also baked bread on its coals,
I roasted meat and ate.
Should I make something detestable(O) with the rest of it?
Should I bow down to a block of wood?”
20 He feeds on[h] ashes.
His deceived mind has led him astray,
and he cannot rescue himself,
or say, “Isn’t there a lie in my right hand?” (P)
21 Remember these things, Jacob,
and Israel, for you are my servant;
I formed you, you are my servant;
Israel, you will never be forgotten by me.[i](Q)
22 I have swept away your transgressions like a cloud,(R)
and your sins like a mist.
Return to me,(S)
for I have redeemed you.(T)
23 Rejoice, heavens,(U) for the Lord has acted;
shout, depths of the earth.
Break out into singing, mountains,
forest, and every tree in it.
For the Lord has redeemed Jacob,
and glorifies himself through Israel.(V)
Restoration of Israel through Cyrus
24 This is what the Lord, your Redeemer(W) who formed you from the womb,(X) says:
I am the Lord, who made everything;
who stretched out the heavens by myself;(Y)
who alone spread out the earth;
25 who destroys the omens of the false prophets
and makes fools of diviners;
who confounds the wise
and makes their knowledge foolishness;(Z)
26 who confirms the message of his servant
and fulfills the counsel of his messengers;
who says to Jerusalem, “She will be inhabited,”
and to the cities of Judah, “They will be rebuilt,”
and I will restore her ruins;
27 who says to the depths of the sea, “Be dry,”
and I will dry up your rivers;
28 who says to Cyrus,(AA) “My shepherd,
he will fulfill all my pleasure”(AB)
and says to Jerusalem, “She will be rebuilt,”(AC)
and of the temple, “Its foundation will be laid.”
Isaaya 44
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Isirayiri Eyalondebwa
44 (A)“Naye kaakano ggwe Yakobo omuweereza wange, wuliriza,
ggwe Isirayiri gwe nalonda.
2 (B)Bw’ati bw’ayogera Mukama oyo,
eyakutonda era eyakubumba mu lubuto,
ajja kukuyamba.
Totya ggwe Yakobo,[a] omuweereza wange,
ggwe Yesuruni gwe nalonda.
3 (C)Kubanga ndifuka amazzi ku ttaka
eririna ennyonta n’enzizi ku ttaka ekkalu.
Ndifuka Omwoyo wange ku zadde lyo,
era n’omukisa gwange ku bazzukulu bo.
4 (D)Era balimera ng’omuddo ku mabbali g’enzizi,
babe ng’emiti egiri ku mabbali g’emigga.
5 (E)Omu aligamba nti, ‘Nze ndi wa Mukama,’
n’omulala ne yeeyita erinnya lya Yakobo,
n’omulala ne yeewandiikako nti, ‘Wa Mukama,’
ne yeetuuma Isirayiri.
6 (F)“Bw’ati bw’ayogera Mukama kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we,
Mukama Katonda ow’Eggye:
Nze w’olubereberye era nze nkomererayo
era tewali Katonda mulala we ndi.
7 (G)Ani afaanana nga nze,
akirangirire,
eyali asobola okumanya n’alangirira ebigenda okubaawo
okuviira ddala ku ntandikwa?
Leka batubuulire ebigenda okubaawo.
8 (H)Temutya wadde okuggwaamu amaanyi.
Saakirangirira ne ntegeeza ebigenda okujja?
Mmwe bajulirwa bange.
Eriyo Katonda omulala okuggyako nze? Nedda.
Tewali Lwazi lulala,
sirina lwe mmanyi.”
9 (I)Abo abakola bakatonda abakole n’emikono tebaliimu nsa,
era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa.
Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi,
balyoke bakwatibwe ensonyi.
10 (J)Ani akola Katonda omubajje oba asaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kiyamba?
11 (K)Laba ye ne banne balikwatibwa ensonyi.
N’ababazzi nabo bantu buntu.
Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi n’entiisa.
Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa.
12 (L)Omuweesi akwata ekitundu ky’ekyuma
n’akiyisa mu manda, agaliko omuliro.
Akikolako n’akitereeza n’ennyondo mu maanyi ge.
Enjala emuluma,
n’aggwaamu amaanyi,
tanywa mazzi era akoowa.
13 (M)Omubazzi akozesa olukoba okupima olubaawo
era n’alamba n’ekkalaamu.
Akinyiriza ne landa,
n’akiramba kyonna n’ekyuma ekigera,
n’akikolamu ekifaananyi ky’omuntu ng’omuntu bw’afaanana,
kiryoke kiteekebwe mu nnyumba.
14 Atema emivule oba n’addira enzo oba omuyovu n’agusimba
oba n’aguleka gukule n’emiti mu kibira,
oba n’asimba enkanaga,
enkuba n’egikuza.
15 (N)Abantu bagukozesa ng’enku,
ezimu n’azitwala n’azikozesa okukuma omuliro ne yeebugumya.
Akuma omuliro n’afumba emigaati.
Naye ekitundu ekirala akikolamu katonda n’amusinza,
akola ekifaananyi ekikole n’emikono n’akivuunamira.
16 Ekitundu ky’olubaawo akyokya mu muliro,
ekitundu ekirala akyokesa ennyama
n’agirya n’akutta.
Ayotako n’abuguma nga bw’agamba nti,
“Mbugumye, omuliro ngutegedde!”
17 (O)Ekitundu ekisigaddewo akikolamu katonda,
ekifaananyi ekikole n’emikono,
era n’akivuunamira n’akisinza n’akyegayirira n’agamba nti,
“Mponya, kubanga ggwe katonda wange.”
18 (P)Tebaliiko kye bamanyi so tebaliiko kye bategeera,
amaaso gaabwe gazibye n’okuyinza ne batayinza kulaba,
n’okutegeera ne batayinza kutegeera.
19 (Q)Tewali n’omu ayimirira n’alowooza,
tewali n’omu amanyi wadde ategeera okugamba nti,
“Ekimu ekyokubiri ekyakwo nkyokezza mu muliro,
era ne nfumba n’obugaati ku manda gaakyo,
njokezzaako n’ennyama n’engirya.
Ekitundu kyakyo kifuuse eky’omuzizo?
Nvuunamire ekisiki ky’omuti?”
20 (R)Alya vvu. Omutima gwe gumulimbalimba,
tasobola kwerokola wadde okwebuuza nti,
“Kino ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si bulimba?”
Mukama, Omutonzi era Omulokozi
21 (S)“Jjukira ebintu bino, ggwe Yakobo;
oli muweereza wange ggwe Isirayiri.
Nze nakubumba, oli muweereza wange,
ggwe Isirayiri sirikwerabira.
22 (T)Ebyonoono byo mbyezeewo n’embisenda ng’ekire, n’ebibi byo ne mbyerawo ng’olufu olw’omu makya. Komawo gye ndi kubanga nakununula.”
23 (U)Yimba n’essanyu ggwe eggulu
kubanga ekyo Mukama yakikoze.
Muleekaane n’essanyu mmwe abali wansi ku nsi.
Muyimbe mmwe ensozi, mmwe ebibira na buli muti ogulimu.
Mukama anunudde Yakobo
era yeegulumiriza mu Isirayiri.
Yerusaalemi kya kuzzibwawo
24 (V)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omulokozi wo,
eyakutondera mu lubuto.
“Nze Mukama,
eyatonda ebintu byonna,
eyabamba eggulu nzekka,
eyayanjuluza ensi obwomu,
25 (W)asazaamu abalaguzi bye balagudde
era abalogo abafuula abasirusiru.
Asaabulula eby’abagezi
n’afuula bye balowoozezza okuba eby’obusirusiru.
26 (X)Anyweza ekigambo ky’omuweereza we
n’atuukiriza obubaka bwa babaka bange.
“Ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kirituulibwamu,’
ne ku bibuga bya Yuda nti, ‘Birizimbibwa,’
ne ku bifo ebyazika nti, ‘Ndibizzaawo.’
27 Agamba amazzi g’obuziba bwe nnyanja nti, ‘Kalira,
era ndikaliza emigga gyo.’
28 (Y)Ayogera ku Kuulo nti, ‘Musumba wange
era alituukiriza bye njagala byonna.’
Alyogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kizimbibwe,’
ne ku yeekaalu nti, ‘Emisingi gyayo gizimbibwe.’ ”
Footnotes
- 44:2 Wano Yakobo kitegeeza Isirayiri
The Christian Standard Bible. Copyright © 2017 by Holman Bible Publishers. Used by permission. Christian Standard Bible®, and CSB® are federally registered trademarks of Holman Bible Publishers, all rights reserved.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.