Add parallel Print Page Options

(A)bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu
    era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu.
Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe
    birikkirizibwa ku kyoto kyange.
Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu
    eri amawanga gonna.”
(B)Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,
    akuŋŋaanya Abayisirayiri abaawaŋŋangusibwa nti,
“Ndikuŋŋaanyaayo abantu abalala
    ng’oggyeko abantu bange aba Isirayiri be nkuŋŋaanyizza.”

Katonda Alumiriza Abakulembeze ba Isirayiri Ebibi byabwe

(C)Mukama agamba amawanga amalala okujja
    ng’ensolo ez’omu nsiko, galye abantu be.

Read full chapter