Isaaya 17:12-13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Woowe oluyoogaano olw’amawanga amangi,
bawuluguma ng’okuwuluguma kw’ennyanja esiikuuse!
Okuwuluguma kw’abantu,
bawuluguma ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi!
13 (B)Wadde amawanga galiwuuma n’okuwulikika ne gawulikika ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi,
Mukama bw’aligagoba, galibulawo mbagirawo.
Galiba ng’ebisusunku bwe bitwalibwa empewo;
era ng’enfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ng’eneetera okutonnya.
Yoweeri 3:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Bakabona Balangirira Omusango eri Abaamawanga
9 (A)Bakabona mulangirire mu mawanga bwe muti nti,
Mwetegekere olutalo!
Muyite abalwanyi bammwe ab’amaanyi,
buli mulwanyi yenna asembere ajje mu lutalo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.