Balam 3:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Osunieri n’ajjula Omwoyo wa Mukama n’akulembera Abayisirayiri, n’alumba Kusanurisaseyimu kabaka w’e Mesopotamiya era n’amuwangula kubanga Mukama yamuwaayo mu mikono gya Osunieri.
Read full chapter
Balam 6:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)Omwoyo wa Mukama Katonda n’akka ku Gidyoni; n’afuuwa ekkondeere ng’ayita ab’essiga lya Abiyezeeri bamugoberere.
Read full chapter
1 Ebyomumirembe 28:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Yamuwa n’enteekateeka ya buli kintu nga eky’empya za yeekaalu ya Mukama, n’ebisenge, ebyali bigiriranye, n’amawanika ga yeekaalu ya Mukama, n’ebintu byonna ebyawongebwa, ng’Omwoyo bwe yali agitadde ku mutima gwe.
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 15:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Awo Omwoyo wa Katonda n’akka ku Azaliya mutabani wa Obedi,
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 20:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Awo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya, muzzukulu wa Benaya muzzukulu wa Yeyeri, muzzukulu wa Mattaniya, Omuleevi ow’ezzadde lya Asafu ng’ayimiridde wakati mu lukuŋŋaana.
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 24:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Awo Omwoyo wa Katonda n’akka ku Zekkaliya muzzukulu wa Yekoyaada, n’ayimirira mu maaso g’abantu n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Katonda nti, ‘Lwaki mujeemera amateeka ga Mukama? Temujja kufuna mukisa kukulaakulana. Kubanga muvudde ku Mukama naye kyavudde abaleka.’ ”
Read full chapter
2 Samwiri 17:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Abusaalomu n’alonda Amasa okuba omuduumizi w’eggye mu kifo kya Yowaabu. Amasa yali mutabani wa Isira Omuyisimayiri eyawasa Abbigayiri muwala wa Nakasi muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu.
Read full chapter
1 Samwiri 25:5-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 Dawudi n’atuma abavubuka kkumi, n’abagamba nti, “Mwambuke e Kalumeeri eri Nabali mumulamuse mu linnya lyange. 6 (A)Mumugambe nti, Emirembe gibeere ku ggwe n’ennyumba yo, ne ku bintu byo byonna.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.