1 Ebyomumirembe 2:18-4:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 Kalebu mutabani wa Kezulooni n’azaala abaana mu Azuba mukyala we ate era ne mu Yeriyoosi.
Yeseri, ne Sobabu, ne Aludoni be baali abaana ba Azuba.
19 (A)Azuba bwe yafa, Kalebu n’awasa Efulaasi, eyamuzaalira Kuuli.
20 (B)Kuuli n’azaala Uli, Uli n’azaala Bezaleeri.
21 (C)Oluvannyuma Kezulooni, ne yeebaka ne muwala wa Makiri kitaawe wa Gireyaadi, gwe yali afumbiddwa nga wa myaka nkaaga, n’amuzaalira Segubu.
22 Segubu n’azaala Yayiri, eyafuganga ebibuga amakumi abiri mu bisatu mu nsi ye Gireyaadi.
23 (D)Naye Gesuli ne Alamu ne bawamba ebibuga bya Yayiri, Kenasi n’ebyalo byayo, byonna awamu byali ebibuga nkaaga.
Abo bonna be baali abazzukulu ba Makiri, kitaawe wa Gireyaadi.
24 (E)Kezulooni ng’amaze okufa, Kalebu ne yeebaka ne maama we omuto Efulaasi eyali mukyala wa kitaawe, n’amuzaalira Asukuli, n’azaala Tekowa.
25 Yerumeeri mutabani wa Kezulooni omukulu yalina batabani be bataano nga be ba
Laamu, mutabani we omukulu, ne Buna, ne Oleni, ne Ozemu ne Akiya. 26 Wabula Yerumeeri yalina omukyala omulala ng’erinnya lye ye Atala, era oyo yali nnyina Onamu.
27 Batabani ba Laamu mutabani omukulu owa Yerameeri baali
Maazi, ne Yamuni ne Ekeri.
28 Batabani ba Onamu be baali
Sammayi ne Yada,
ate batabani ba Sammayi nga be ba
Nadabu ne Abisuli.
29 Abisuli yalina omukyala erinnya lye Abikayiri, era n’amuzaalira Abani ne Molidi.
30 Batabani ba Nadabu be baali
Seredi ne Appayimu, naye Seredi n’afa nga tazadde mwana.
31 Mutabani wa Appayimu yali
Isi, ate nga Isi ye kitaawe wa Akulayi.
32 Batabani ba Yada muganda we Sammayi be baali
Yeseri ne Yonasaani, naye Yeseri n’afa nga tazadde mwana.
33 Batabani ba Yonasaani be baali
Peresi ne Zaza.
Abo bonna be baali bazzukulu ba Yerameeri.
34 Sesani ye yalina baana ba buwala bokka,
ng’alina n’omuddu Omumisiri, erinnya lye Yala. 35 Sesani n’awaayo omu ku bawala be okufuumbirwa omuddu we Yala, era omuwala n’azaala Attayi.
36 (F)Attayi n’azaala Nasani,
ne Nasani n’azaala Zabadi.
37 Zabadi n’azaala Efulali,
ne Efulali n’azaala Obedi.
38 Obedi n’azaala Yeeku,
ne Yeeku n’azaala Azaliya.
39 Azaliya n’azaala Kerezi,
ne Kerezi n’azaala Ereyaasa.
40 Ereyaasa n’azaala Sisumaayi,
ne Sisumaayi n’azaala Sallumu.
41 Sallumu n’azaala Yekamiya,
ne Yekamiya n’azaala Erisaama.
42 (G)Omwana omukulu owa Kalebu muganda wa Yerameeri,
ye yali Mesa, ate Mesa n’azaala Zifu.
Zifu n’azaala Malesa, Malesa n’azaala Kebbulooni.
43 Batabani ba Kebbulooni baali
Koola, ne Tappua, ne Lekemu, ne Sema.
44 Sema n’azaala Lakamu,
ne Lakamu n’azaala Yolukeyaamu.
Lekemu n’azaala Sammayi.
45 (H)Mutabani wa Sammayi n’azaala Manoni,
ne Mawoni n’azaala Besuzuli.
46 Efa omukazi omulala owa Kalebu yamuzaalira
Kalani, ne Moza ne Gazezi.
Ate Kalani n’azaala omulenzi gwe yatuuma Gazezi.
47 Batabani ba Yadayi baali
Legemu, ne Yosamu, ne Gesani, ne Pereti, ne Efa ne Saafu.
48 Ate era Kalebu yalina omukazi omulala, Maaka eyamuzaalira
Seberi ne Tirukaana.
49 (I)Mukazi we oyo yazaalayo n’omwana omulala erinnya lye Saafu, eyazaala Madumanna.
Seva n’azaala Makubena ne Gibea.
Muwala wa Kalebu ye yali Akusa.
50 (J)Abo be baali bazzukulu ba Kalebu.
Batabani ba Kuuli baali Efulaasa omuggulanda,
Sobali n’azaala Kiriyasuyalimu, 51 Saluma n’azaala Besirekemu, ne Kalefu n’azaala Besugaderi.
52 Sabali eyazaala Kiriyasuyalimu, yalina abaana abalala nga be ba
Kalowe, ne kimu kyakubiri eky’Abamenukosi, 53 (K)n’ebika ebya Kiriyasuyalimu nga be ba Abayisuli, n’Abapusi, n’Abasumasi, n’Abamisulayi. Muno mwe mwasibuka Abazolasi n’Abayesutawooli.
54 (L)Batabani ba Saluma baali
Besirekemu, n’Abanetufa, Atulosubesuyowabu, ne kimu kyakubiri eky’Abamanakasi, Abazooli, 55 (M)n’ebika by’abawandiisi b’amateeka abaabeeranga e Yabezi, nga be b’Abatirasi, Abasimeyasi, n’Abasukasi. Bano be Bakeeni abasibuka mu Kammasi, era be baavaamu oluggya lwa Lekabu.
Ennyumba ya Dawudi
3 (N)Bano be baana Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni:
Omuggulanda ye yali Amunoni gwe yazaala mu Akinoamu Omuyezuleeri;
owookubiri ye yali Danyeri gwe yazaala mu Abbigayiri Omukalumeeri;
2 (O)owookusatu ye yali Abusaalomu gwe yazaala mu Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w’e Gesuli;
n’owookuna ye yali Adoniya gwe yazaala mu Kaggisi.
3 Owookutaano ye yali Sefatiya, gwe yazaala mu Abitali
n’ow’omukaaga nga ye Isuleyamu gwe yazaala mu Egula.
4 (P)Bano omukaaga Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni, gye yafugira emyaka musanvu n’emyezi mukaaga.
Dawudi yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu esatu, 5 (Q)era bano be baana be yazaalira eyo:
Simeeyi, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani be yazaala mu Besusebba muwala wa Amiyeeri.
6 N’abalala baali Ibukali, ne Erisaama, ne Erifereti, 7 ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya, 8 ne Erisaama, ne Eriyada, ne Erifereti, bonna awamu mwenda.
9 (R)Bano bonna be baali batabani ba Dawudi, obutabala batabani be abalala aba bazaana be. Tamali ye yali mwannyinaabwe.
Olulyo lwa Sulemaani
10 (S)Mutabani wa Sulemaani yali Lekobowaamu,
ne Abiya nga ye mutabani wa Lekobowaamu,
ne Asa nga ye mutabani wa Abiya,
ne Yekosafaati nga ye mutabani wa Asa,
11 (T)ne Yolaamu nga ye mutabani wa Yekosafaati,
ne Akaziya nga ye mutabani wa Yolaamu,
ne Yowaasi nga ye mutabani wa Akaziya,
12 (U)Amaziya nga ye mutabani wa Yowaasi,
ne Azaliya nga ye mutabani wa Amaziya,
ne Yosamu nga ye mutabani wa Azaliya.
13 (V)Akazi yali mutabani wa Yosamu,
ne Keezeekiya nga ye mutabani wa Akazi,
ne Manase nga ye mutabani wa Keezeekiya.
14 (W)Amoni yali mutabani wa Manase,
ne Yosiya nga ye mutabani wa Amoni.
15 (X)Batabani ba Yosiya baali
Yokanaani omuggulanda,
ne Yekoyakimu ye yali owookubiri,
ne Zeddekiya nga wa wakusatu,
ne Sallumu nga wakuna.
16 (Y)Batabani ba Yekoyakimu baali
Yekoniya
ne Zeddekiya.
Olulyo Olulangira Oluvannyuma lw’Okuva mu Buwaŋŋanguse
17 (Z)Abaddirira mu lulyo lwa Yekoniya omuwambe be ba:
Seyalutyeri mutabani we, 18 (AA)ne Malukiramu, ne Pedaya, ne Senazzali, ne Yekamiya, ne Kosama ne Nedabiya.
19 (AB)Batabani ba Pedaya baali
Zerubbaberi ne Simeeyi.
Batabani ba Zerubbaberi baali
Mesullamu ne Kananiya,
ne Seronisi nga ye mwannyinaabwe. 20 N’abalala abataano be yazaala baali Kasuba, ne Okeri, ne Berekiya, ne Kasadiya ne Yusubukesedi.
21 Batabani ba Kananiya baali
Peratiya ne Yesukaya, ne mutabani wa Yesukaya nga ye Lefaya, ne mutabani wa Lefaya nga ye Alunani, ne mutabani wa Alumani nga ye Obadiya, ne mutabani wa Obadiya nga ye Sekaniya.
22 (AC)Ab’olulyo lwa Sekaniya baali
Semaaya mutabani we, ng’abazzukulu be ba Kattusi, ne Igali, ne Baliya, ne Neyaliya, ne Safati. Abazzukulu bonna awamu baali mukaaga.
23 Batabani ba Neyaliya baali
Eriwenayi, ne Kizukiya, ne Azulikamu, be baana basatu bonna awamu.
24 Batabani ba Eriwenayi baali
Kodaviya, ne Eriyasibu, ne Peraya, ne Akkubu, ne Yokanaani, ne Deraya ne Anami, be baana musanvu.
Ebika Ebirala ebya Yuda
4 (AD)Bazzukulu ba Yuda abalala baali
Pereezi, ne Kezulooni, ne Kalumi, ne Kuuli ne Sobali.
2 Leyaya mutabani wa Sobali n’azaala Yakasi, ne Yakasi n’azaala Akumayi ne Lakadi. Bano baali ba mu nnyumba ya Abazolasi.
3 Ne bano, be baali baganda ba Etamu,
ne Yezuleeri, ne Isuma, ne Idubasi, ne mwannyinaabwe nga ye Kazzereruponi. 4 (AE)Penueri n’azaala Gedoli, ne Ezeri n’azaala Kusa.
Bano be baali abazzukulu ba Kuuli, ng’omuzzukulu omukulu mu luggya ye Efulaasa, omukulembeze wa Besirekemu.
Ebikolwa by’Abatume 24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Pawulo Awozesebwa mu maaso ga Ferikisi
24 (A)Awo nga wayiseewo ennaku ttaano, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’atuuka mu Kayisaliya ng’ali n’abamu ku bakulembeze b’Abayudaaya era ng’aleese n’omwogezi omulungi erinnya lye Terutuulo, eyannyonnyola gavana emisango egyali givunaanibwa Pawulo. 2 Pawulo bwe yaleetebwa, Terutuulo n’ayitibwa ategeeze ekivunaanibwa Pawulo, n’awoza bw’ati nti, “Oweekitiibwa, ffe Abayudaaya otuwadde eddembe, n’enkulaakulana olw’amagezi go. 3 (B)Tukwebaza nnyo olwa bino byonna by’otukoledde. 4 Obutayagala kukukooya, nsaba ompulirize akaseera katono nga mpitaayita mu byangu ku nsonga ze tuvunaana omusajja ono.
5 (C)“Omusajja ono tumulabye nga wa mutawaana nnyo, kubanga akuma omuliro mu Bayudaaya bonna mu nsi yonna, basasamale era bajeemere gavumenti y’Abaruumi, omukulembeze mu ttabi ly’eddiini erimanyiddwa ng’ery’Abannazaalaayo. 6 (D)N’okugezaako yali agezaako okwonoona Yeekaalu, ne tumukwata. Twali tugenda okumusalira omusango n’ekibonerezo ng’amateeka gaffe bwe galagira, 7 naye Lusiya, omuduumizi w’abaserikale n’ajja n’atumuggyako n’amaanyi, 8 n’alagira nti awozesebwe mu mateeka g’Ekiruumi, era n’alagira abamuwawaabira bajje wano mu maaso go. Bw’onoogenda ng’omubuuza ebintu bino byonna, amazima g’ensonga zaffe gajja kweyoleka.”
9 (E)Olwo n’Abayudaaya abalala ne boogera nga bawagira ebyo Terutuulo bye yawoza nti bya mazima.
10 (F)Oluwalo lwa Pawulo ne lutuuka, gavana n’amuwenya asituke ayogere. Pawulo n’ayanukula nti, “Mmanyi, ssebo, nga bw’osaze emisango egifa ku nsonga zaffe ez’Ekiyudaaya okumala emyaka emingi, ekyo kimpa obugumu nga mpoleza mu maaso go. 11 (G)Ggwe bw’onoobuuza, ojja kuzuula nti ennaku tezinnayita kkumi na bbiri kasookedde nyambuka mu Yerusaalemi okusinza mu Yeekaalu. 12 (H)Abo abampawaabira tebansisinkanangako nga nnina gwe nnyumya naye mu Yeekaalu, wadde nga nsasamaza ekibiina mu kuŋŋaaniro oba awalala wonna mu kibuga. 13 (I)Era tebayinza kukulaga bukakafu bwonna ku bintu bino bye bampawaabira nti nabikola. 14 (J)Naye waliwo ekintu kimu kye nzikiriza. Nsinza Katonda nga nzikiririza mu Kkubo, bano kye bayita enzikiriza endala. Nsinza Katonda n’okumuweereza nga ngoberera empisa za bajjajjaffe n’obulombolombo, nga bwe baabitegeka, era nzikiririza ddala mu mateeka g’Ekiyudaaya ne mu byonna ebyawandiikibwa mu bitabo bya bannabbi. 15 (K)Era nzikiriza, nga bano bwe bakkiriza, nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’ababi. 16 (L)Olw’essuubi lino lye nnina, nfuba bulijjo okuba n’emmeeme ennongoofu eri Katonda n’eri abantu.
17 (M)“Oluvannyuma lw’emyaka mingi, nga siriiwo, nakomawo mu Yerusaalemi ng’Abayudaaya mbaleetedde n’ensimbi ez’okubayamba, nga nange neeretedde ekirabo eky’okuwaayo eri Katonda mu Yeekaalu. 18 (N)Bano abampawaabira bansanga ndi mu kusinza kuno mu Yeekaalu, nga nneerongoosezza, mmaze n’okumwa omutwe ng’amateeka bwe galagira, nga tewaliiwo kibiina kinneetoolodde, era nga tewali kasasamalo. 19 (O)Naye waliwo Abayudaaya abava mu kitundu kye Asiya era basaanye babeewo wano boogere obanga balina kye banvunaana. 20 Oba si ekyo buuza bano abali wano kaakano, bakutegeeze omusango Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu gwe lwandabako, bwe nayimirira mu maaso gaalwo. 21 (P)Mpozzi kino ekimu kye nayogera nti, ‘Ndi wano mu Lukiiko nga mpozesebwa olwokubanga nzikiriza okuzuukira kw’abafu!’ ”
22 Awo Ferikisi, eyali amanyi obulungi ebikwata ku Kkubo, n’agamba Abayudaaya nti, “Lusiya, omuduumizi w’abaserikale mu Yerusaalemi, bw’alituuka ne ndyoka nsala omusango gwammwe.” 23 (Q)N’alagira Pawulo azzibweyo mu kkomera akuumibwe, naye ng’alekerwamu ku ddembe, ne mikwano gye bakkirizibwe okujjanga okumulaba n’okumuleetera bye yeetaaga.
24 (R)Awo nga wayiseewo ennaku ntonotono, Ferikisi n’ajja ne mukyala we Dulusira, eyali Omuyudaaya. N’atumya Pawulo, ne bamuwuliriza ng’abategeeza ku kukkiriza Kristo Yesu. 25 (S)Awo Pawulo bwe yagenda abannyonnyola ebikwata ku butuukirivu, n’okwefuga mu bikolwa, n’okusalirwa omusango okugenda okujja, Ferikisi n’atya nnyo, n’agamba Pawulo nti, “Ebyo binaagira bimala! Kaakano genda, bwe ndifuna ekiseera ekirungi ndyongera okukuyita.” 26 Era Ferikisi yali asuubira nti Pawulo ajja kumuwa enguzi, kyeyava amutumya emirundi mingi n’ayogera naye.
27 (T)Ne wayitawo emyaka ebiri, Polukiyo Fesuto n’adda mu bigere bya Ferikisi. Naye Ferikisi olw’okwagala Abayudaaya bamusiime, bwe yali agenda n’aleka nga Pawulo musibe mu kkomera.
Read full chapter
Zabbuli 4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ya mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
4 (A)Bwe nkukoowoola onnyanukule,
Ayi Katonda wange omutuukirivu.
Bwe mba mu nnaku, onnyambe.
Onkwatirwe ekisa owulire okusaba kwange.
2 (B)Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange?
Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, n’okunoonya eby’obulimba?
3 (C)Naye mutegeere nga Mukama yeerondeddemu abo abamugondera.
Bwe nnaamukoowoolanga anampuliranga era anannyanukulanga.
4 (D)Ne bwe munyiiga ennyo, temusaana kwonoona; musiriikirire,
mwekebere era mufumiitirize mu mitima gyammwe nga mugalamidde ku bitanda byammwe.
5 (E)Muweeyo ebiweebwayo ebisaanidde;
era mwesigenga Mukama.
6 (F)Waliwo bangi abasaba nti, “Oyongere okutulaga ebirungi, Ayi Mukama,
otumulisize omusana gw’amaaso go.”
7 (G)Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange
erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.
8 (H)Nnaagalamira ne nneebaka mirembe;
kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama,
ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.
Engero 18:16-18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Ekirabo ky’omuntu kimuseguliza,
era kimutuusa ne mu maaso g’abeekitiibwa.
17 Asooka okweyogerako y’afaanana ng’omutuufu,
okutuusa omulala lw’amubuuza ebibuuzo.
18 (B)Okukuba akalulu kimalawo empaka,
era kisalawo eggoye wakati w’abawakana ab’amaanyi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.