1 Ebyomumirembe 25:1-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abayimbi
25 (A)Awo Dawudi n’abaduumizi b’eggye, ne baawula abamu ku batabani ba Asafu, n’aba Kemani, n’aba Yedusuni okuweereza, n’okukola obunnabbi, nga bwe bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa. Olukalala lw’abasajja abaakolanga omulimu ogw’okuweereza okwo, lwali:
2 Ku batabani ba Asafu:
Zakkuli, ne Yusufu, ne Nesaniya ne Asalera, era abo nga bakulirwa Asafu, eyakolanga ogw’obunnabbi, ate ye ng’akulirwa kabaka.
3 (B)Ku batabani ba Yedusuni:
Gedaliya, ne Zeri, ne Yesaya, ne Simeeyi, ne Kasabiya ne Mattisiya, be mukaaga awamu, nga bakulirwa kitaabwe Yedusuni, eyakolanga ogw’obunnabbi, nga bw’akuba n’ennanga nga beebaza n’okutendereza Mukama.
4 Ku batabani ba Kemani kabona wa kabaka:
Bukkiya, ne Mattaniya, ne Wuziyeeri, ne Sebuweri, ne Yerimosi, ne Kananiya, ne Kanani, ne Eriyaasa, ne Giddaluti, ne Lomamutyezeri, ne Yosubekasa, ne Mallosi, ne Kosiri, ne Makaziyoosi. 5 Abo bonna baali baana ba Kemani nnabbi aweereza kabaka, abaamuweebwa olw’okusuubiza kwa Katonda, okuyimusanga erinnya lye. Katonda yamuwa abaana aboobulenzi kkumi na bana, n’aboobuwala basatu.
6 (C)Abo bonna baavunaanyizibwanga ba kitaabwe, olw’okuyimba mu yeekaalu ya Mukama, nga bakuba ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, olw’okuweerezanga okw’omu nnyumba ya Katonda. Asafu, ne Yedusuni, ne Kemani baali bakolera wansi kabaka.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.