1 Samwiri 30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Dawudi Azikiriza Abamaleki
30 (A)Awo Dawudi ne basajja be bwe baatuuka e Zikulagi, nga wayiseewo ennaku ssatu, baasanga Abamaleki baalumbye obukiikaddyo mu ddungu; ne Zikulagi, baali bakikumyeko omuliro. 2 Baali batutte abakazi nga basibe, ne bonna abaalimu, abato era n’abakulu. Tewaali n’omu ku bo gwe batta, wabula okubawamba ne babatwala.
3 Dawudi ne basajja be bwe baatuuka mu kibuga, baasanga kyokebbwa, era abakazi baabwe n’abaana baabwe aboobulenzi n’aboobuwala nga nabo bawambiddwa. 4 Awo Dawudi ne bonna abaali awamu naye ne bakaaba nnyo okutuusa lwe baggweeramu ddala agakaaba. 5 (B)Abakyala ba Dawudi bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri nnamwandu wa Nabali Omukalumeeri, nabo baali babatutte. 6 (C)Mu kiseera ekyo Dawudi n’anakuwala nnyo kubanga basajja be baali boogera ku kumukuba amayinja, buli omu nga munyiikaavu mu mutima olwa batabani baabwe ne bawala baabwe abaali batwalibbwa. Naye Dawudi n’afuna amaanyi okuva eri Mukama Katonda we.
7 (D)Dawudi n’agamba Abiyasaali kabona, mutabani wa Akimereki nti, “Ndeetera ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi.” Awo Abiyasaali n’agimuleetera. 8 (E)Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ngoberere ekibinja ekyo, nnaabakwata?” N’amuddamu nti, “Bagoberere, kubanga ojja kusobola okununula abawambe bonna.”
9 (F)Awo Dawudi n’abasajja lukaaga ne batuuka ku kagga Besoli, abamu ku bo ne basigala awo, 10 (G)kubanga ebikumi bibiri ku bo baali bakooye nnyo n’okuyinza nga tebayinza kusomoka kagga. Naye Dawudi n’abalala ebikumi bina ne banyiikira okugoberera omulabe, ebikumi ebibiri ne basigala ku kagga nga bakooye.
11 Ne basanga Omumisiri mu nnimiro ne bamuleeta eri Dawudi. Ne bamuwa amazzi okunywa, n’emmere n’alya, 12 (H)ne bamuwa ekitole eky’ettiini n’ebirimba bibiri eby’ezabbibu enkalu. N’alya n’addamu amaanyi, kubanga yali amaze ennaku ssatu, emisana n’ekiro nga talidde ku mmere wadde okunywa ku mazzi.
13 Awo Dawudi n’amubuuza nti, “Oli w’ani era ova wa?” N’addamu nti, “Ndi Mumisiri, omuweereza w’Omwamaleki. Mmaze ennaku ssatu nga ndi mulwadde muyi era mukama wange kyeyavudde ansuula wano. 14 (I)Twalumba obukiikaddyo obw’Abakeresi[a], n’ensi ya Yuda n’obukiikaddyo obwa Kalebu, ne twokya ne Zikulagi.” 15 Dawudi n’amubuuza nti, “Oyinza okuntwala eri ekibinja ekyo ekyalumbye?” N’amuddamu nti, “Ssooka ondayirire Katonda, nga tolinzita so tolimpaayo eri mukama wange, ndyoke nkuserengese gye bali.”
16 (J)N’abakulembera n’abatwalayo, era laba, nga basaasaanye mu kifo kyonna ku ttale, nga balya, nga banywa, nga bazina olw’omunyago omunene gwe baggya mu nsi ey’Abafirisuuti, ne mu nsi ya Yuda. 17 (K)Dawudi n’atandika okubatta okuva akawungeezi okutuusa enkeera, ne watawonawo n’omu, okuggyako abavubuka ebikumi bina abeebagala eŋŋamira ne badduka. 18 (L)Dawudi n’akomyawo byonna Abamaleki bye baali banyaze, ng’omwo mwe muli ne bakyala be ababiri abaali bawambiddwa. 19 Ne watabaawo na kimu ekyabula, oba kitono oba kinene, newaakubadde abaana aboobulenzi oba aboobuwala, n’omunyago na buli kintu kyonna ku ebyo bye baatwala. Dawudi yakomyawo buli kimu. 20 N’atwala ebisibo byonna n’amagana gonna, abasajja be ne babikulembeza ebisolo ebirala byonna, nga bwe boogera nti, “Guno gwe munyago gwa Dawudi.”
21 (M)Awo Dawudi n’addayo eri bali ebikumi ebibiri abaali bakooye ennyo, nga tebayinza kumugoberera, abaasigala ku kagga Besoli. Ne bavaayo okusisinkana Dawudi n’abantu abaali naye, n’abalamusa. 22 Naye abamu ku basajja abaagenda ne Dawudi abaali ababi n’abalala nga bafujjo, ne boogera nti, “Tetujja kugabana nabo munyago gwe twasuuzizza omulabe, kubanga tebaagenze naffe. Wabula, buli musajja addizibwe mukazi we n’abaana be agende.”
23 Naye Dawudi n’addamu nti, “Nedda baganda bange, temusaana kukola bwe mutyo, Mukama by’atuwadde. Atukuumye era n’awaayo mu mukono gwaffe ekibinja ekyatulumbye. 24 (N)Ani anaabawuliriza ku nsonga eyo? Omuntu eyagenze mu lutalo ky’anaagabana, kinaaba kyekimu n’eky’oli eyasigadde ng’akuuma ebintu ebikozesebwa. Bonna banaagabana kyenkanyi.” 25 Ekyo Dawudi n’akifuula etteeka n’empisa mu Isirayiri ne leero.
26 Awo Dawudi bwe yatuuka mu Zikulagi, n’aweereza abakadde ba Yuda ebimu ku bintu eby’omunyago, abaali mikwano gye, ng’agamba nti, “Ekyo kirabo okuva ku munyago gw’abalabe ba Mukama.”
27 (O)Yakiweereza ab’e Beseri, abaali mu bukiikaddyo mu Lamosi n’ab’e Yattiri, 28 (P)ab’e Aloweri, n’e Sifumosi, n’e Esutemoa; 29 (Q)n’e Lakali, n’abaali mu bibuga eby’Abayerameeri, ne mu bibuga eby’Abakeeni; 30 (R)n’e Koluma, n’e Kolasani n’e Asaki; 31 (S)n’e Kebbulooni, ne bonna abaali mu bifo byonna Dawudi ne basajja be gye baatambuliranga.
1 Samuel 30
The Voice
30 When David and his men reached Ziklag three days later, they discovered that the Amalekites had raided the desert hill country. They had attacked Ziklag in David’s absence, burned it, 2 and carried away the women and all the other inhabitants whom David had left behind. None of them were killed, but they were taken captive and carried back toward Amalek.
3 So David and his men arrived in the burned city and found their wives, daughters, and sons gone, taken captive by the Amalekite raiders. 4 And when they saw this, they cried out and wept aloud until they could weep no more. 5 David’s wives, Ahinoam of Jezreel and Abigail, the widow of Nabal of Carmel, were among those carried off.
6 David, too, was in anguish. Some of his men talked about stoning him because they were so bitter about their families being taken. But David took comfort in the Eternal One, his True God.
7 He called for the priest, Abiathar, son of Ahimelech, and instructed him to bring the priestly vest, which he did.
David (to the Lord): 8 Should we pursue these raiders? Can we catch them?
Eternal One: Go after them. You will catch them, and you will certainly rescue your families.
9-10 So David set out with his 600 men. They came to the wadi Besor, a dry creek bed where he left behind 200 men who were too exhausted to continue the pursuit.
11 In the open country beyond, some of his soldiers found an Egyptian. They took him to David, fed him, and gave him water. 12 They gave him some fig cake and two clusters of raisins. After the man had eaten, he regained his strength. He had not had food or water for three days and nights.
David: 13 Who are your people? Where are you from?
Egyptian: I am a young man of Egypt who served an Amalekite, but my master left me behind three days ago because I was sick. 14 We had gone raiding in the desert country, against the Cherethites and the territories of Judah and of Caleb, and we burned down the town of Ziklag.
David: 15 Can you lead me to this raiding party?
Egyptian: I will take you to them, if you will swear to me by the True God that you won’t kill me or give me back to my master.
16 He led David to where the Amalekites were spread out all over the place eating and drinking and dancing, because they had taken such great spoils in their raids against Philistia and Judah. 17 David fought against them from one twilight to the next, and he killed all of them except for 400 young men who escaped on camels.
18 So David recovered everything that had been taken, including his two wives. 19 Nothing was missing—from the smallest thing to the greatest treasure, none of the sons or daughters, no property of any kind. David brought everything home. 20 David also captured their flocks and herds, which they were driving ahead of other livestock, and the people agreed this would be David’s share of the Amalekites’ property.
21 David and his people returned to the wadi Besor, where the 200 had remained behind, and those men went out to meet David and all those with him. As David approached, he greeted them. 22 But some of the wicked and greedy ones who had fought alongside David spoke out.
Wicked Men: Because these men didn’t go with us, why should we give them back the things we recovered for them? Sure, let them take back their wives and their children. But that’s all. We’ll keep the rest, and they must leave.
David: 23 My brothers, this is not how we’re going to treat what the Eternal One has returned to us. He saved us and gave us success over the raiding party that sacked our city. 24 Why would anyone agree with you about this matter? The share of the one who fights is the same as the share of the one who looks after the supplies. We all share equally.
25 In fact, he made this a law and an ordinance, and it remains so in Israel today.
26 And after David returned to Ziklag, he gave part of the spoil he had taken to his friends who ruled over Judah, with the message, “This is a present for you taken from the enemies of the Eternal.”
27 These gifts were sent to Bethel, to Ramoth in the desert south, to Jattir, 28 to Aroer, to Siphmoth, to Eshtemoa, 29 to Racal, to the towns of the Jerahmeelites, to the towns of the Kenites, 30 to Hormah, to Bor-ashan, to Athach, 31 and to Hebron—all places where David and his men had lived and traveled.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
The Voice Bible Copyright © 2012 Thomas Nelson, Inc. The Voice™ translation © 2012 Ecclesia Bible Society All rights reserved.