使徒行傳 14
Chinese Contemporary Bible (Traditional)
在以哥念傳道
14 保羅和巴拿巴一同進入以哥念的猶太會堂講道,許多猶太人和希臘人信了耶穌。 2 但那些頑梗不信的猶太人卻慫恿外族人敵視信徒。 3 二人在那裡逗留了好些日子,靠著主勇敢地傳道。主賜給他們行神蹟奇事的能力,為祂的恩典之道做見證。 4 城裡的居民分成了兩派,有些附和猶太人,有些支持使徒。
5 當時,有些外族人、猶太人及其官長企圖惡待使徒,用石頭打他們。 6 保羅和巴拿巴得知後,就逃往呂高尼的路司得和特庇二城並周圍的地區, 7 在那裡繼續傳揚福音。
在路司得和特庇傳福音
8 路司得城裡坐著一個天生雙腳無力、不能走路的瘸子。 9 他也聽保羅講道。保羅定睛看他,見這個人有信心,可以得醫治, 10 就高聲對他說:「起來,兩腳站直!」那人就跳了起來,開始行走。 11 周圍的人看見保羅所行的,就用呂高尼話大聲說:「神明化成人形下凡了!」 12 於是,他們稱巴拿巴為希臘天神宙斯,又因為保羅是主要的發言人,就稱他為希耳米[a]。 13 城外宙斯廟的祭司也牽著牛、拿著花環來到城門口,要和眾人一同向使徒獻祭。
14 巴拿巴和保羅見此情形,就撕裂衣服,衝進人群中,大聲喊著說: 15 「各位,你們為什麼這樣做?我們和你們一樣只是凡人!我們來這裡是要向你們傳福音,叫你們離棄這些虛妄的事,轉向那創造天、地、海和其中萬物的永活上帝。 16 在以往的世代,祂雖然容許萬國各行其道, 17 卻從未停止用美善的事證實自己的存在。祂常施恩惠,降下甘霖,賞賜豐年,又叫你們衣食飽足,滿心喜樂。」
18 保羅和巴拿巴說了這些話,才勉強制止住向他們獻祭的人群。 19 有些猶太人從安提阿和以哥念來煽動民眾,他們用石頭打保羅,以為他死了,就把他拖到城外。 20 當門徒圍過來看他的時候,他站了起來,走回城裡。第二天,保羅和巴拿巴前往特庇。
返回安提阿
21 他們向那裡的人傳福音,有很多人作了門徒。然後,他們又回到路司得、以哥念和安提阿, 22 堅固各地門徒的信心,鼓勵他們要持守信仰,並且說:「我們在進入上帝國的道路上必經歷許多苦難。」 23 二人又為每個教會選立長老,禁食禱告,把他們交託給所信靠的主。
24 後來,二人又經過彼西底,來到旁非利亞, 25 在別加講道,然後下到亞大利, 26 從那裡乘船回安提阿。當初就是在安提阿,他們被交託在上帝的恩手中去傳道,如今工作已經完成了。
27 他們到達之後,就召集教會的人,報告上帝藉著他們所做的一切事,以及上帝如何給外族人開了信仰之門。 28 之後,二人和門徒同住了很久。
Footnotes
- 14·12 希臘神話中天神宙斯是最大的神,希耳米則是為眾神傳遞信息的使者——「傳諭之神」。
Ebikolwa by’Abatume 14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Awo Pawulo ne Balunabba bwe baatuuka mu Ikoniya ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. Ne babuulira n’amaanyi mangi era abantu bangi Abayudaaya n’Abayonaani ne bakkiriza. 2 Naye Abayudaaya abaagaana okukkiriza ne bassa omutima omubi mu baamawanga okukyawa abooluganda. 3 (B)Ne baabeerayo ebbanga gwanvu nga babuulira n’obuvumu, era Mukama n’akakasanga ekigambo ky’ekisa kye ng’abawa okukola obubonero n’ebyamagero. 4 (C)Naye ekibiina ky’abantu mu kibuga ne kyawukanamu abamu ne bagoberera Abayudaaya n’abalala ne bakkiriza abatume. 5 (D)Abayudaaya n’abakulembeze baabwe awamu n’Abamawanga, ne basala olukwe okubonyaabonya abatume, n’okubakuba amayinja. 6 (E)Naye Pawulo ne Balunabba olukwe ne baluggukamu ne baddukira mu bibuga ebya Lukawoniya ne Lusitula ne Derube, ne mu bitundu ebiriraanyeewo, 7 (F)era n’eyo ne babuulirirayo Enjiri.
Pawulo ne Balunabba mu Lusitula ne Derube
8 (G)Mu Lusitula mwalimu omusajja eyazaalibwa nga mulema, ng’ebigere bye bigongobavu, nga tatambulangako. 9 (H)N’atuula awo ng’awuliriza Pawulo bye yali ayogera. Pawulo n’amwekaliriza amaaso n’alaba ng’alina okukkiriza okuwonyezebwa. 10 (I)Pawulo n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yimirira ku bigere byo, weegolole!” Amangwago omusajja n’ayimirira, n’atandika okutambula! 11 (J)Awo ekibiina ky’abantu bwe baalaba Pawulo ky’akoze, ne baleekaanira waggulu mu lulimi lwabwe Olulikaoniya nti, “Bakatonda basse wansi gye tuli nga bali mu kifaananyi ky’abantu!” 12 Balunabba ne bamuyita Zewu, Pawulo ne bamuyita Kerume kubanga ye yali omwogezi omukulu. 13 Awo kabona wa Zewu, eyali ebweru w’ekibuga, n’agenda n’aleeta ente ennume n’ebimuli ku wankaaki, ye n’ekibiina ky’abantu ne baagala okuwaayo ssaddaaka.
14 (K)Naye abatume, Balunabba ne Pawulo, bwe baabiwulira, ne bayuza engoye zaabwe, ne bafubutuka ne bayingira mu kibiina ky’abantu nga baleekaana nga bagamba nti, 15 (L)“Abasajja! Kiki ekibakozesa ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe! Twazze tubabuulire mukyuke okuva ku bintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja n’ebintu byonna ebirimu. 16 (M)Mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okukwata amakubo ge baayagalanga. 17 (N)Kyokka tasigalirangako awo nga talina bujulirwa ng’abakolera ebirungi okuva mu ggulu, ng’aweereza enkuba, n’okubawa ebiro eby’okubalizangamu ebibala n’okubakkusa emmere, era n’okubajjuza essanyu mu mitima gyabwe.” 18 Newaakubadde baabategeeza bwe batyo, naye era katono balemwe okuziyiza ebibiina okubawa ssaddaaka.
19 (O)Awo Abayudaaya ne batuuka nga bava mu Antiyokiya ne mu Ikoniya, ne basasamaza ebibiina, ne bakuba Pawulo amayinja ne bamukulula ne bamutwala ebweru w’ekibuga nga balowooza nti afudde. 20 (P)Naye abayigirizwa ne bajja ne bayimirira okumwetooloola, n’asituka n’addayo mu kibuga! Enkeera ne basitula ne Balunabba ne balaga mu Derube.
Balunabba ne Pawulo badda mu Antiyokiya eky’omu Siriya
21 (Q)Ne babuulira Enjiri mu kibuga ekyo, era abantu bangi ne bakkiriza. Ne baddayo mu Lusitula, ne mu Ikoniya, ne mu Antiyokiya, 22 (R)ne babuulirira abakkiriza, nga babakubiriza banywerere mu kukkiriza, era ne babagamba nti, “Kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda nga tuyita mu bibonoobono ebingi.” 23 (S)Pawulo ne Balunabba buli kkanisa baagironderamu abakadde. Ne basaba ne basiiba, ne babakwasa Mukama, oyo gwe bakkiriza. 24 Awo ne batambula ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya, 25 bwe baamala okubuulira ebigambo mu Peruga, ne beeyongerayo mu Ataliya.
26 (T)Oluvannyuma ne basaabala ku nnyanja okuddayo mu Antiyokiya, gye baali baasigirwa ekisa kya Katonda olw’omulimu gwe baakola. 27 (U)Bwe baatuuka, ne bakuŋŋaanya ekkanisa ne babategeeza ebyafa mu lugendo lwabwe, ne byonna Katonda bye yabakozesa, n’Abamawanga nga bwe yabaggulirawo oluggi olw’okukkiriza. 28 Ne babeera eyo ne bamalayo ebbanga ggwanvu nga bali n’abayigirizwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.