Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 52:7-10

(A)Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi,
    alangirira emirembe,
    aleeta ebigambo ebirungi,
alangirira obulokozi,
    agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.”
(B)Wuliriza!
    Amaloboozi g’abakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa.
Bonna awamu bajaguza olw’essanyu.
    Kubanga okudda kwa Mukama mu Sayuuni balikulaba n’amaaso gaabwe.
(C)Mubaguke okuyimba ennyimba ez’essanyu mwenna,
    mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika.
Kubanga Mukama asanyusizza abantu be,
    anunudde Yerusaalemi.
10 (D)Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna,
    bagulabe.
Enkomerero z’ensi zonna
    ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.

Zabbuli 98

Zabbuli.

98 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
    kubanga akoze eby’ekitalo.
Omukono gwe ogwa ddyo,
    era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.
(B)Mukama ayolesezza obulokozi bwe,
    era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.
(C)Ajjukidde okwagala kwe okutakoma
    n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri.
Enkomerero z’ensi yonna zirabye
    obulokozi bwa Katonda waffe.

(D)Muyimbire Mukama n’essanyu lingi mwe ensi yonna;
    muyimbe ennyimba mu maloboozi ag’essanyu.
(E)Mutendereze Mukama n’ennanga ez’enkoba;
    n’ennanga ez’enkoba n’amaloboozi ag’okuyimba,
(F)n’amakondeere n’eddoboozi ly’eŋŋombe.
    Muyimbe n’essanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka.

(G)Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu,
    n’ensi ne byonna ebigirimu bijaguze.
(H)Emigga gikube mu ngalo
    n’ensozi zonna ziyimbire wamu olw’essanyu;
(I)byonna biyimbe mu maaso ga Mukama,
    kubanga ajja okulamula ensi.
Aliramula ensi mu butuukirivu;
    aliramula amawanga mu bwenkanya.

Abaebbulaniya 1:1-4

Omwana mukulu okusinga bamalayika

(A)Edda, Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe mu ngeri nnyingi ez’enjawulo ng’ayita mu bannabbi; (B)naye mu nnaku zino ez’oluvannyuma yayogera naffe ng’ayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi n’ebintu byonna ebirimu. (C)Amasamasa n’ekitiibwa kya Katonda, era ky’ekifaananyi kye ddala bw’ali, era abeezaawo buli kintu olw’ekigambo kye eky’amaanyi. Bwe yamala okukola ekikolwa eky’okututukuza okuva mu bibi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obw’omu ggulu. (D)Bw’atyo n’asinga bamalayika, nga kyeragira ku linnya lye okuba ery’ekitiibwa okusinga amannya gaabwe.

Abaebbulaniya 1:5-12

(A)Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti,

“Ggwe oli Mwana wange,
    Leero nkuzadde?”
Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gy’ali
    naye anaabeeranga Mwana wange gye ndi?”

(B)Era nate bw’aleeta Omwana we omubereberye mu nsi, agamba nti,

“Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.”

(C)Era ayogera ku bamalayika nti,

“Afuula bamalayika be ng’empewo,
    n’afuula n’abaweereza be ng’ennimi z’omuliro.”

Naye ku Mwana ayogera nti,

“Entebe yo ey’Obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe n’emirembe;
    obutuukirivu, gwe muggo ogw’obwakabaka bwo.
(D)Wayagala obutuukirivu n’okyawa obujeemu.
    Katonda, era Katonda wo kyeyava akufukako
    amafuta ag’omuzeeyituuni agaleeta essanyu okusinga banno.”

10 Ayongera n’agamba nti,

“Mukama ku lubereberye wassaawo omusingi gw’ensi,
    era n’eggulu mirimu gwa mukono gwo.
11 (E)Ebyo biriggwaawo, naye ggwe olibeerera emirembe gyonna,
    era byonna birikaddiwa ng’ekyambalo bwe kikaddiwa.
12 (F)Era olibizingako ng’ekooti bwe zingibwako,
    era birikyusibwa ng’ekyambalo bwe kikyusibwa.
Naye ggwe oba bumu,
    so n’emyaka gyo tegirikoma.”

Yokaana 1:1-14

Kigambo

(A)Kigambo yaliwo ng’ensi tennatondebwa. Kigambo[a] yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda. (B)Oyo, okuva ku lubereberye yaliwo ne Katonda.

(C)Ebintu byonna byatondebwa ku lulwe, era tewaliiwo kintu na kimu ekyatondebwa nga taliiwo. (D)Mu ye mwe mwali obulamu; era obulamu buno ne buba ekitangaala eri abantu. (E)Omusana ne gwaka mu kizikiza, naye ekizikiza tekyaguyinza.

(F)Ne walabika omuntu ng’ayitibwa Yokaana, Katonda gwe yatuma, (G)eyajja okutegeeza abantu ebifa ku musana, bonna bakkirize nga bayita mu ye. Yokaana si ye yali Omusana, wabula ye yatumibwa ategeeze eby’Omusana.

(H)Kristo ye yali Omusana, omusana ogw’amazima, ogujja mu nsi, okwakira buli muntu. 10 (I)Kyokka newaakubadde Kigambo oyo ye yatonda ensi, bwe yajja mu nsi, ensi teyamutegeera. 11 Yajja eri abantu be, naye abantu be ne batamusembeza. 12 (J)Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye. 13 (K)Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kw’omubiri, wadde okwagala kw’omuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda. 14 (L)Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng’eky’oyo omu yekka eyava eri kitaffe ng’ajjudde ekisa n’amazima.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.