Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
EKITABO II
Zabbuli 42–72
Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.
42 (A)Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,
n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
2 (B)Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.
Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
3 (C)Nkaabirira Mukama
emisana n’ekiro.
Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,
abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
4 (D)Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange
nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,
ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,
nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,
nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka
n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.
5 (E)Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange?
Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Essuubi lyo liteeke mu Katonda,
kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange;
ye mubeezi wange.
6 Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise,
yeeraliikiridde;
naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani
ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni[a] ne ku Lusozi Mizali.
7 (F)Obuziba bukoowoola obuziba,
olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro
amayengo n’amasingisira go
bimpiseeko.
8 (G)Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro
ne muyimbira oluyimba lwe;
y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.
9 (H)Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti,
“Lwaki onneerabidde?
Lwaki ŋŋenda nkungubaga
olw’okujoogebwa abalabe bange?”
10 Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange
bancocca,
nga bwe bagamba buli kiseera nti,
“Katonda wo ali ludda wa?”
11 (I)Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?
Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Weesigenga Katonda,
kubanga nnaamutenderezanga,
Omulokozi wange era ye Katonda wange.
17 (A)Mu kiseera kitono, Lebanooni tekirifuulibwa nnimiro ngimu,
n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira?
18 (B)Mu biro ebyo abaggavu b’amatu baliwulira ebigambo by’omuzingo,
n’amaaso g’abazibe galizibuka okuva mu kiseera ekizibu ne mu kizikiza.
19 (C)Abawombeefu balisanyukira mu Mukama nate,
n’abeetaaga balisanyukira mu Mutukuvu wa Isirayiri.
20 (D)Weewaawo asinga obubi aliggwaawo,
n’omunyoomi alibula,
n’abo bonna abeesunga okukola obutali butuukirivu,
21 (E)abo abakozesa ebigambo okufuula omuntu omusobya,
abatega eyeerwanako mu mbuga z’amateeka, abawa obujulizi obw’obulimba,
ne baleetera abataliiko musango obutawulirwa mu mbuga z’amateeka, balisalibwako.
22 (F)Noolwekyo Mukama eyanunula Ibulayimu bw’ati bw’ayogera eri ennyumba ya Yakobo nti,
Yakobo taliddayo kuswazibwa,
n’obwenyi bwabwe tebulisiiwuuka.
23 (G)Bwe baliraba omulimu gw’emikono gyange mu baana baabwe,
balikuuma erinnya lyange nga ttukuvu.
Balikakasa obutuukirivu bw’Omutukuvu wa Yakobo
era baliyimirira
ne beewuunya Katonda wa Isirayiri.
24 (H)Abo abaabula mu mwoyo balifuna okutegeera,
n’abo abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.
Abatume Bawonya Abantu Bangi
12 (A)Abatume ne baba n’omwoyo gumu ne bakuŋŋaananga mu kisasi kya Sulemaani, ne bakola ebyamagero bingi mu bantu. 13 (B)So ne wataba n’omu ku balala eyayaŋŋanga okubeegattako, newaakubadde ng’abantu bonna baabasiima nnyo. 14 Abakkiriza bangi abasajja n’abakazi ne beeyongeranga okwegatta ku Mukama waffe. 15 (C)Abantu ne baleeta abalwadde baabwe ku nguudo z’omu kibuga, ne babagalamizanga ku butanda ne ku bikeeka, ekisiikirize kya Peetero kibatuukeko ng’azze. 16 (D)Ebibiina ne biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, ne baleeta abalwadde n’abaaliko baddayimooni, bonna ne bawonyezebwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.