Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 65:17-25

Eggulu Epya n’Ensi Empya

17 (A)“Laba nditonda eggulu eriggya
    n’ensi empya.
Ebintu eby’edda tebijja kujjukirwa
    wadde okulowoozebwako mu mutima.
18 (B)Naye musanyukire ekyo kye ntonda
    mujaguze emirembe n’emirembe,
kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyu
    n’abantu baamu okuba okujaguza.
19 (C)Ndijaguza olwa Yerusaalemi
    era nsanyukire abantu bange;
amaloboozi ag’okukaaba
    tegaliddayo kuwulirwamu.

20 (D)“Teriddayo kuba mu kyo mwana muwere
    anaaberawo ennaku obunaku,
    oba omusajja omukulu ataamalengayo myaka gye;
oyo alifiira ku myaka ekikumi
    alitwalibwa ng’omuvubuka obuvubuka.
Oyo atalituusa kikumi
    abalibwe ng’eyakolimirwa.
21 (E)Balizimba ennyumba bazisulemu,
    balisimba emizabbibu balye ebibala byagyo.
22 (F)Tebalizimba nnyumba ate omulala agisulemu,
    tebalisimba ate omulala abirye.
Kubanga emyaka gy’emiti nga bwe giba
    bwe gityo bwe giribeera emyaka gy’abantu bange.
Abalonde bange balirwawo nga bawoomerwa
    emirimu gy’emikono gyabwe.
23 (G)Tebalikolera bwereere
    oba okuzaala abaana ab’okugwa mu katyabaga,
kubanga balibeera abantu abaweebwa Mukama Katonda omukisa,
    bo awamu n’ab’enda yaabwe.
24 (H)Nga tebanakoowoola ndibaddamu,
    nga bakyayogera bati mbaddemu.
25 (I)Omusege n’omwana gw’endiga biriire wamu,
    era empologoma erye omuddo ng’ennume,
    era ettaka libeere emmere y’omusota.
Tewaliba kulumya
    wadde kuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Isaaya 12

Okwebaza Mukama olw’Obulokozi bwe

12 (A)Ku lunaku olwo oligamba nti,
    “Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda;
newaakubadde nga wansunguwalira,
    obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi.
(B)Laba Katonda bwe bulokozi bwange;
    nzija kumwesiga era siritya;
kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
    era afuuse obulokozi bwange.”
(C)Munaasenanga n’essanyu amazzi
    okuva mu nzizi ez’obulokozi.

(D)Era ku lunaku olwo mulyogera nti,

“Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye,
    mubuulire ebikolwa bye mu mawanga,
    mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.
(E)Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo;
    muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna.
(F)Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni,
    kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”

2 Basessaloniika 3:6-13

Abalabula obutagayaalanga

(A)Abooluganda abaagalwa, mbakuutira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo ne mu buyinza bwe, mwewalenga abagayaavu abatayagala kukola mirimu ne balemwa okugoberera ekyokulabirako kye twabateerawo. (B)Kubanga mmwe bennyini mumanyi bulungi bwe kibagwanira okutugobereranga ng’ekyokulabirako kyammwe, kubanga temwatulaba nga twegomba okulya ebyo bye tutakoleredde, (C)tetwakkiriza kulya mmere ya muntu yenna awatali kumusasula. Twafubanga nnyo ne tukoowa nga tukola emirimu emisana n’ekiro tulyoke tufunemu bye twetaaga okukozesa, era tuleme kuzitoowerera muntu n’omu ku mmwe. (D)Si kubanga tetwalina buyinza okubagamba mmwe okutuliisa, naye twayagala mutulabireko nga bwe kibagwanidde okukolanga. 10 (E)Era ne bwe twali gye muli eyo, twabakuutira nti omuntu yenna bw’agaananga okukola emirimu, n’okulya talyanga.

11 (F)Kyokka tuwulira nti mu mmwe mulimu abagayaavu abatayagala kukola, aboonoona ebiseera byabwe mu kusaasaanya eŋŋambo. 12 (G)Mu linnya lya Mukama waffe, tubeegayirira era tubakuutira abali bwe batyo, okukolanga emirimu n’obunyiikivu n’obuteefu balyoke balyenga ebyo bye bakoleredde. 13 (H)Naye mmwe temukoowanga kukola bulungi abooluganda abaagalwa.

Lukka 21:5-19

Okuzikirizibwa kwa Yeekaalu

Ne wabaawo aboogera ku bulungi bw’amayinja agaweebwayo eri Katonda okuzimba Yeekaalu. (A)Naye Yesu n’agamba nti, “Ekiseera kijja ebirungi bino byonna bye mutunuulira lwe biribetentulwa ne watasigalawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, eritalisuulibwa wansi.”

Ne bamubuuza nti, “Omuyigiriza, ebyo biribaawo ddi? Ye walibaawo akabonero akaliraga nti biri kumpi okubaawo?”

(B)Yesu n’addamu nti, “Mwekuume muleme kulimbibwalimbibwa. Kubanga bangi balikozesa erinnya lyange, nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo.’ Naye temubakkirizanga. Naye bwe muwuliranga entalo n’obwegugungo, temutyanga. Kubanga entalo ziteekwa okusooka okujja, naye enkomerero terituuka mangwago.”

10 (C)N’ayongera n’abagamba nti, “Amawanga galirwanagana, n’obwakabaka ne bulwanagana ne bunaabwo. 11 (D)Wagenda kubeerawo musisi ow’amaanyi ennyo, n’enjala ennyingi mu bitundu eby’enjawulo, ne kawumpuli. Walibaawo n’ebyentiisa ate n’obubonero okuva mu ggulu.

12 “Naye bino byonna nga tebinnabaawo balibayigganya, balibakwata. Balibawaayo mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso ga bakabaka ne bagavana, ku lw’erinnya lyange, ne musibibwa ne mu makomera. 13 (E)Kiribaviiramu okufuna omukisa okuba abajulirwa bange. 14 (F)Naye temweraliikiriranga gye muliggya ebigambo eby’okuwoza, 15 (G)Kubanga ŋŋenda kubawa ebigambo n’amagezi ebiriremesa n’abalabe bammwe okubaako n’eky’okuddamu! 16 (H)Muliweebwayo bakadde bammwe, ne baganda bammwe ne mikwano gyammwe, balibawaayo mukwatibwe, era abamu ku mmwe muttibwe. 17 (I)Abantu bonna balibakyawa nga babalanga erinnya lyange. 18 (J)Naye n’oluviiri olumu bwe luti olw’oku mitwe gyammwe terulizikirira. 19 (K)Kubanga bwe muligumiikiriza muliwonya obulamu bwammwe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.