Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Okwebaza Mukama olw’Obulokozi bwe
12 (A)Ku lunaku olwo oligamba nti,
“Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda;
newaakubadde nga wansunguwalira,
obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi.
2 (B)Laba Katonda bwe bulokozi bwange;
nzija kumwesiga era siritya;
kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
era afuuse obulokozi bwange.”
3 (C)Munaasenanga n’essanyu amazzi
okuva mu nzizi ez’obulokozi.
4 (D)Era ku lunaku olwo mulyogera nti,
“Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye,
mubuulire ebikolwa bye mu mawanga,
mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.
5 (E)Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo;
muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna.
6 (F)Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni,
kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”
Ekibi, Okwatula Ebibi, n’Okusonyiyibwa
59 (A)Mulabe, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n’okuyinza ne gutayinza kulokola,
era si muzibe wa matu nti tawulira.
2 (B)Naye obutali butuukirivu bwammwe
bwe bubaawudde ku Katonda wammwe.
Ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso ge,
n’atawulira.
3 (C)Kubanga emikono gyammwe gibunye omusaayi
n’engalo zammwe zibunye obutali butuukirivu,
emimwa gyammwe gyogedde eby’obulimba,
n’ennimi zammwe z’ogedde eby’ekko.
4 (D)Tewali awaaba bya nsonga
so tewali awoza mu mazima;
Beesiga ensonga ezitaliimu, ne boogera eby’obulimba,
ne baleeta emitawaana ne bazaala obulabe.
5 (E)Baalula amagi ag’essalambwa
ne balanga ewuzi za nnabbubi:
alya ku magi gaabwe afa
n’eryo eriba lyatise livaamu mbalasaasa.
6 (F)Naye enkwe zaabwe ze bakola tezibayamba,
ziri ng’engoye enkole mu wuzi za nnabbubi!
Tebasobola kuzeebikka.
Emirimu gyabwe mirimu gya kwonoona, n’ebikolwa byabwe bulabe.
7 (G)Ebigere byabwe byanguyirira bikole ebibi
era bapapirira bayiwe omusaayi ogutalina musango.
Ebirowoozo byabwe birowoozo bya bubi,
n’okuzika n’okuzikiriza bye biba buli we bagenda.
8 (H)Ekkubo ery’emirembe tebalimanyi
wadde okukozesa obwenkanya mu makubo gaabwe.
Beekubidde amakubo,
tewali n’omu agayitamu afuna emirembe.
9 (I)Amazima gatuli wala,
n’obutuukirivu tetubufunye.
Tunoonyezza omusana naye ekizikiza kitwesibyeko,
we tusuubira obutangaavu, tutambulidde mu bisiikirize byereere.
10 (J)Tuwammantawammanta bbugwe ng’abazibe,
ne tukwatakwata ng’abatalina maaso;
twesittala mu ttuntu ng’ekiro mu abo abalina amaanyi
ne tuba ng’abafu.
11 (K)Ffenna tuwuluguma ng’eddubu
ne tusinda nga bukaamukuukulu.
Tusuubira okuggyibwa mu kunyigirizibwa naye nga bwereere,
n’obulokozi butuliwala.
12 (L)Kubanga ebisobyo byaffe bingi mu maaso go
era ebibi byaffe bitulumiriza,
kubanga ebisobyo byaffe biri naffe,
era tumanyi obutali butuukirivu bwaffe;
13 (M)obujeemu n’enkwe eri Mukama
era n’okulekeraawo okugoberera Katonda waffe.
Okutegeka obwediimo n’okunyigiriza,
okwogera eby’obulimba n’emitima gyaffe bye girowoozezza.
14 (N)Obwenkanya buddiridde
n’obutuukirivu ne bubeera wala.
Amazima geesitalidde mu luguudo, n’obwesimbu tebuyinza kuyingira.
15 Tewali w’oyinza kusanga mazima,
era oyo ava ku kibi asuulibwa.
Mukama yakiraba n’atasanyuka
kubanga tewaali bwenkanya.
Okwebaza n’Okusaba
3 (A)Kitugwanidde okwebazanga Katonda bulijjo ku lwammwe abooluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kweyongedde nnyo okukula, awamu n’okwagalana kwammwe mwekka na mwekka, 4 (B)ekyo ne kituleetera ffe ffennyini okubeenyumiririzaamu mu kkanisa za Katonda olw’okugumiikiriza kwammwe n’okukkiriza kwammwe wakati mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna awamu n’okubonaabona bye mugumiikiriza. 5 (C)Ako kabonero akalaga nti Katonda mutuukirivu mu kulamula kwe, mmwe mulyoke musaanire obwakabaka bwa Katonda, bwe mubonaabonera, 6 (D)ate ng’abo ababanyigiriza alibabonereza nga bwe kibagwanidde. 7 (E)Era nammwe abanyigirizibwa muliweerwa wamu naffe ekiwummulo, mu kubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu bw’aliva mu ggulu, ne bamalayika be ab’amaanyi, 8 (F)mu muliro ogwaka, n’abonereza abo abatamanyi Katonda era abajeemera Enjiri ya Mukama waffe Yesu. 9 (G)Abo baliweebwa ekibonerezo kya kuzikirira emirembe n’emirembe, nga baawukanyiziddwa ne Mukama waffe, n’ekitiibwa ky’amaanyi ge. 10 (H)Bw’alijja okugulumizibwa mu batukuvu be ku lunaku luli abo bonna abamukkiriza balyewuunya kubanga mwakkiriza bye twabategeeza ku ye.
11 (I)Kyetuva tubasabira bulijjo, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe. Abawe amaanyi mutuukirize ebirungi byonna bye mukola, na buli mulimu ogw’okukkiriza mu maanyi, 12 (J)erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke ligulumizibwe mu mmwe, nammwe muweebwe ekitiibwa mu ye, ng’ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.