Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Okwebaza Mukama olw’Obulokozi bwe
12 (A)Ku lunaku olwo oligamba nti,
“Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda;
newaakubadde nga wansunguwalira,
obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi.
2 (B)Laba Katonda bwe bulokozi bwange;
nzija kumwesiga era siritya;
kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
era afuuse obulokozi bwange.”
3 (C)Munaasenanga n’essanyu amazzi
okuva mu nzizi ez’obulokozi.
4 (D)Era ku lunaku olwo mulyogera nti,
“Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye,
mubuulire ebikolwa bye mu mawanga,
mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.
5 (E)Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo;
muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna.
6 (F)Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni,
kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”
Ekisa eri Abeenenya
14 (A)Era kiryogerwa nti,
“Muzimbe, muzimbe, mulongoose ekkubo!
Muggyeewo enkonge zonna mu kkubo ly’abantu bange.”
15 (B)Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu
omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe,
ow’erinnya ettukuvu nti,
“Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu
awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza,
okuzzaamu amaanyi
omwoyo gw’abakkakkamu,
era n’ogw’abo ababoneredde.
16 (C)Kubanga sirirumiriza bantu bange emirembe n’emirembe
era siribasunguwalira bbanga lyonna.
Kubanga omutima gw’omuntu gwandigwereddewo mu maaso gange nga ndaba,
emmeeme y’omuntu nze gye nakola.
17 (D)Olw’okwegomba kwe okw’obutali butuukirivu nnali nzijjudde obusungu.
Namubonereza ne nkweka amaaso gange olw’obusungu obungi
naye yeeyongera okugenda mu maaso mu makubo amabi.
18 (E)Nalaba by’akola, naye ndimuwonya.
Ndimuluŋŋamya ne muddiza emirembe era ne mbeesabeesa abo abakungubaga.
19 (F)Mirembe, era mirembe,
eri abo abali ewala n’eri abo abali okumpi,
era ndibawonya,” bw’ayogera Mukama.
20 (G)Naye ababi bali ng’ennyanja esiikuuse,
eteyinza kutereera,
ey’amayengo agasiikuula ebitosi n’ebitaka.
21 (H)“Tewali mirembe, eri aboonoonyi,” bw’ayogera Katonda wange.
Obusungu bwa Katonda eri abantu
18 (A)Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibbwa okuva mu ggulu ku abo abatatya Katonda bonna n’abakaafiiri bonna ku bye bakola okuziyiza amazima okuvaayo. 19 (B)Kubanga ebisoboka okumanyibwa ku Katonda bibabikkuliddwa, kubanga Katonda abibalaze byonna mu bujjuvu. 20 (C)Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo n’obwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu by’obutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza.
21 (D)Kubanga newaakubadde nga Katonda bamumanyi, tebaamugulumiza nga Katonda wadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza. 22 (E)Beeyita ab’amagezi ne bafuuka abasirusiru, 23 (F)ne bawanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okukifaananyiriza ekifaananyi ky’omuntu aggwaawo, n’eky’ebinyonyi, n’eky’ebirina amagulu ana n’eky’ebyewalula.
24 (G)Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira eby’obugwagwa ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka. 25 (H)Ne bafuula amazima ga Katonda okuba obulimba ne basinza era ne baweereza ebitonde, mu kifo ky’okusinza eyabitonda, eyeebazibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.