Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.
142 (A)Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
neegayirira Mukama ansaasire.
2 (B)Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
ne mmwanjulira ebinteganya byonna.
3 (C)Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
4 (D)Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.
5 (E)Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”
17 (A)Wadde omutiini tegutojjera,
so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala,
amakungula g’emizeeyituuni ne gabula,
ennimiro ne zitabala mmere n’akamu,
endiga nga ziweddemu mu kisibo,
nga n’ente tezikyalimu mu biraalo,
18 (B)kyokka ndijaguliza Mukama,
ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.
19 (C)Mukama Katonda, ge maanyi gange;
afuula ebigere byange okuba ng’eby’empeewo,
era ansobozesa okutambulira mu bifo ebigulumivu.
Ya Mukulu wa Bayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.
Olugero lw’Ensimbi
11 (A)Awo nga bakyawuliriza ebyo, Yesu n’abagerera olugero olulala. Mu kiseera ebyo yali asemberedde nnyo Yerusaalemi, era abantu ne balowooza nti obwakabaka bwa Katonda bugenda kutandika mu kiseera ekyo. 12 N’abagamba nti, “Waaliwo omukungu omu eyalaga mu nsi ey’ewala alye obwakabaka alyoke akomewo. 13 (B)Bwe yali asitula n’ayita abaddu be kkumi n’abalekera mina[a] kkumi n’abagamba nti, ‘Muzisuubuzise okutuusa lwe ndidda.’
14 “Naye abantu be baali tebamwagala ne batuma ababaka baabwe mu nsi gye yalaga, nga bagamba nti, ‘Ffe tetwagala musajja ono kubeera kabaka waffe.’
15 “Naye n’afuulibwa kabaka, n’addayo mu kitundu ky’ewaabwe. Bwe yatuuka n’ayita abaddu be, be yali alekedde ensimbi, bamutegeeze amagoba ge baggyamu.
16 “Eyasooka n’ajja n’agamba nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina kkumi.’
17 (C)“Mukama we n’amwebaza, n’amugamba nti, ‘Oli muddu mulungi nnyo. Kubanga obadde mwesigwa mu kintu ekitono ennyo, nkuwadde okufuga ebibuga kkumi.’
18 “Omuddu owookubiri n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina ttaano.’
19 “Oyo naye n’amugamba nti, ‘Onoofuga ebibuga bitaano.’
20 “Awo omuddu omulala n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Mina gye wandekera yiino, nagitereka bulungi. 21 (D)Nakutya, kuba, nga bw’oli omuntu omukakanyavu, otwala ebitali bibyo, n’okungula n’ebibala by’otaasiga.’
22 (E)“Mukama we n’amuddamu nti, ‘Oli musajja mubi nnyo! Nzija kukusalira omusango ng’ebigambo byo by’oyogedde bwe biri. Wamanya nga ndi muntu mukalubo, nga ntwala ebitali byange, era nga nkungula bye saasiga, 23 kale, lwaki ensimbi zange tewazissa mu banka, bwe nandikomyewo nandizisanzeeyo nga zizadde n’amagoba?’
24 “N’alyoka agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko mina eyo mugiwe oli alina ekkumi.’
25 “Ne bamugamba nti, ‘Naye ssebo, oli alina mina kkumi!’
26 (F)“N’abaddamu nti, ‘Mbagamba nti oyo yenna alina, alyongerwako; ate oyo atalina, n’akatono k’alina kalimuggibwako. 27 Kaakano njagala abo bonna abalabe bange, abaajeema nga tebaagala mbeere kabaka waabwe, mubandeetere wano, mubattire mu maaso gange.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.