Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba.
87 Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.
2 (A)Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni
okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.
3 (B)Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako,
ggwe ekibuga kya Katonda.
4 (C)“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,
ne Babulooni;
era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo
ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”
5 Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti,
“Ono n’oli baazaalirwa omwo,”
n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.
6 (D)Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati,
omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”
7 (E)Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti,
“Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”
17 (A)“Kale mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe,
abeera ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.
Era Yerusaalemi kinaabeeranga kitukuvu,
nga ne bannamawanga tebakyakirumba.
18 (B)“Olunaku luli bwe lulituuka, ensozi ziritonnyesa wayini omuggya,
n’obusozi bulikulukusa amata,
n’emigga gyonna egya Yuda emikalu girikulukusa amazzi.
Ensulo eriva mu nnyumba ya Mukama
n’efukirira ekiwonvu kya Sittimu.
19 (C)Misiri erifuuka amatongo
n’ensi ya Edomu erifuuka ddungu jjereere
olw’ebikolobero bye baakola ku bantu ba Yuda,
ensi mwe battira abantu abatalina musango.
20 (D)Naye mu Yuda mulibeeramu abantu ennaku zonna,
ne Yerusaalemi kiribeerawo emirembe gyonna.
Olugero olw’Abaana Ababiri
28 (A)“Kale mulowooza mutya ku kino? Waaliwo omusajja eyalina abaana be babiri, n’agamba omubereberye nti, ‘Genda okole mu nnimiro y’emizabbibu leero.’
29 “Omulenzi n’addamu nti, ‘ŋŋaanyi,’ naye oluvannyuma ne yeerowooza n’agenda.
30 “Ate kitaabwe n’agenda eri omulala n’amugamba ekintu kye kimu. Naye ye n’addamu nti, ‘Nnaagenda mukama wange.’ Naye n’atagenda.
31 (B)“Kale, ku bombi aliwa eyagondera kitaawe?”
Ne bamuddamu nti, “Omulenzi ow’olubereberye.”
Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, abasolooza b’omusolo ne bamalaaya balibasooka okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 32 (C)Kubanga Yokaana yajja ng’abuulira ekkubo ery’obutuukirivu naye ne mutamukkiriza. Wabula abasolooza b’omusolo ne bamalaaya baamukkiriza, newaakubadde nga mwakiraba, oluvannyuma temwenenya kumukkiririzaamu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.