Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 102:1-17

Okusaba kw’oyo ali mu buyinike ng’ayigganyizibwa nga yeeyongedde okunafuwa, n’afukumula byonna ebimuli ku mutima mu maaso ga Mukama.

102 (A)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
    okkirize okukoowoola kwange kutuuke gy’oli.
(B)Tonneekweka
    mu biseera eby’obuyinike bwange.
Ntegera okutu kwo
    onnyanukule mangu bwe nkukoowoola!

(C)Kubanga ennaku zange zifuumuuka ng’omukka,
    n’amagumba gange gaaka ng’amanda.
(D)Omutima gwange gulinnyirirwa ng’omuddo, era guwotose;
    neerabira n’okulya emmere yange.
Olw’okwaziirana kwange okunene,
    nzenna nfuuse ŋŋumbagumba.
(E)Ndi ng’ekiwuugulu eky’omu ddungu,
    era ng’ekiwuugulu eky’omu nsiko.
(F)Nsula ntunula,
    nga ndi ng’ekinyonyi ekitudde kyokka ku kasolya k’ennyumba.
Abalabe bange banvuma olunaku lwonna;
    abo abanduulira bakozesa linnya lyange nga bakolima.
(G)Kubanga ndya evvu ng’alya emmere,
    n’amaziga gange ne geegattika mu kyokunywa kyange.
10 (H)Olw’obusungu n’okunyiiga kwo;
    onneegobyeko n’onsuula eyo.
11 (I)Ennaku zange ziri ng’ekisiikirize ky’olweggulo nga buziba;
    mpotoka ng’omuddo.

12 (J)Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe;
    erinnya lyo linajjukirwanga ab’omu mirembe gyonna.
13 (K)Olisituka n’osaasira Sayuuni,
    kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano;
    ekiseera kye wateekateeka kituuse.
14 Kubanga amayinja gaakyo abaweereza bo bagaagala nnyo,
    n’enfuufu y’omu kibuga ekyo ebakwasa ekisa.
15 (L)Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama;
    ne bakabaka bonna ab’ensi banaakankananga olw’ekitiibwa kyo.
16 (M)Kubanga Mukama alizimba Sayuuni buto,
    era n’alabika mu kitiibwa kye.
17 (N)Alyanukula okusaba kw’abanaku;
    talinyooma kwegayirira kwabwe.

Yeremiya 25:15-32

Ekikopo ky’Obusungu bwa Mukama

15 (A)Bw’ati Mukama, Katonda wa Isirayiri bwe yaŋŋamba nti, “Twala ekikopo kino, okuva mu mukono gwange, ekijjudde wayini ow’obusungu bwange, okinywese amawanga gonna gye nnaakutuma okukibanywesa. 16 (B)Bwe banaakinywa, bajja kugwa eddalu batagale olw’ekitala kye nnaabasindikamu.”

17 (C)Awo ne ntwala ekikopo okuva mu Mukono gwa Mukama ne nkitwala eri amawanga gonna gye yantuma okukibanywesa;

18 (D)Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda, ne bakabaka baabyo n’abakungu basaanewo era bafuuke ekintu eky’entiisa n’okuzikirira, n’okusekererwa n’ekikolimo nga bwe bali kaakano.

19 Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, ne bakalabaalaba be, n’abakungu be n’abantu be bonna, 20 (E)n’abagwira bonna abaaliyo;

bakabaka ba Uzi bonna,

ne bakabaka b’Abafirisuuti bonna, abo ab’e Asukulooni, n’e Gaza, n’e Ekuloni, n’abantu abaalekebwa e Asudodi,

21 (F)n’e Edomu, n’e Mowaabu n’e Ammoni,

22 (G)bakabaka bonna ab’e Tuulo ne Sidoni, bakabaka ab’oku lubalama ng’osomose ennyanja;

23 (H)Dedani, n’e Teema, n’e Buuzi n’abo bonna abali mu bifo eby’ewala,

24 (I)ne bakabaka bonna ab’e Buwalabu, ne bakabaka b’abannamawanga ababeera mu ddungu;

25 (J)ne bakabaka bonna ab’e Zimuli, n’e Eramu n’e Meedi;

26 (K)n’abo bonna bakabaka ab’omu bukiikakkono, abeewala, n’ab’okumpi, omu ku omu, obwakabaka bwonna obuli ku nsi.

Oluvannyuma lwabo kabaka w’e Sesaki naye balikinywa.

27 (L)“Era onoobagamba nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Munywe mutamiire, museseme, mugwe muleme kuddayo kusituka olw’ekitala ekyo kye ŋŋenda okusindika mu mmwe.’ 28 Naye bwe bagaana okuggya ekikopo mu mukono gwo okukinywa, bagambe nti, ‘Kino Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba nti, Muteekwa okukinywa! 29 (M)Laba, ntandika okuzikiriza ekibuga ekiyitibwa Erinnya lyange, ddala munaagenda nga temubonerezeddwa? Mujja kubonerezebwa kubanga nkoowoola ekitala kikke ku abo bonna abali ku nsi, bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.’

30 (N)“Kaakano bategeeze ebigambo bino byonna obagambe nti,

“ ‘Mukama Katonda anaayogerera waggulu,
    era anaayimusa eddoboozi lye okuva mu kifo kye ekitukuvu
    awulugume n’amaanyi mangi nnyo ng’awakanya bonna abali mu nsi.
Ajja kuleekaana ng’abasogozi abasamba emizabbibu,
    ng’aleekaanira abo abali ku nsi.
31 (O)Eddoboozi lye liriwulirwa n’ensi gy’ekoma.
    Kubanga Mukama alisalira amawanga emisango gy’abavunaana,
    alisalira abantu bonna omusango, atte ababi n’ekitala,’ ”
    bw’ayogera Mukama.

32 (P)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Laba okuzikirira kugenda kusaasaana kuva nsi ku nsi;
    enkuba ey’amaanyi ejja kuva ku nkomerero y’ensi.”

Matayo 10:5-15

(A)Abo ekkumi n’ababiri Yesu n’abatuma ng’abalagira nti: “Temugenda eri bannamawanga wadde mu kibuga ky’Abasamaliya. (B)Naye mugende eri abaana ba Isirayiri, endiga za Katonda ezaabula. (C)Mugende mubabuulire nti, ‘Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.’ Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa.

(D)“Temubanga na zaabu oba ffeeza wadde ekikomo mu nkoba zammwe, 10 (E)wadde ensawo ey’oku mugongo, wadde essaati ebbiri, wadde omugogo gw’engatto omulala, wadde omuggo. Kubanga omukozi asaanira okuweebwa eby’okumuyamba. 11 Buli kibuga oba kyalo mwe mutuukanga, munoonyengamu amaka g’omuntu asaanidde, musulenga omwo okutuusa lwe mulivaayo. 12 (F)Bwe muyingiranga mu nnyumba mubeeyanjulire, amaka ago mugalagenga okwagala kwammwe. 13 Amaka ago bwe gabanga ag’abantu abasaanidde, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku bo, naye bwe gatabanga bwe gatyo emirembe gyammwe ginaabaddiranga. 14 (G)Buli atabasembezenga wadde okuwuliriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo oba mu nnyumba eyo, mukunkumulanga enfuufu[a] ey’oku bigere byammwe. 15 (H)Ddala ddala mbagamba nti ensi ya Sodomu ne Ggomola ziriweebwa ekibonerezo ku lunaku olw’okusalirako omusango ekirigumiikirizika okukira ekibuga ekyo oba amaka ago.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.