Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
137 (A)Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni,
ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.
2 Ne tuwanika ennanga zaffe
ku miti egyali awo.
3 (B)Abaatunyaga ne batulagira okuyimba,
abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka;
nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”
4 Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama
mu nsi eteri yaffe?
5 Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,
omukono gwange ogwa ddyo gukale!
6 (C)Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange
singa nkwerabira,
ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako
okusinga ebintu ebirala byonna.
7 (D)Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,[a]
ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;
ne baleekaana nti, “Kisuule,
kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”
8 (E)Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,
yeesiimye oyo alikusasula ebyo
nga naawe bye watukola.
9 (F)Yeesiimye oyo aliddira abaana bo
n’ababetentera[b] ku lwazi.
13 (A)Nnyinza kugamba ki,
era kiki kye nnyinza okukugeraageranyaako
ggwe Omuwala wa Yerusaalemi?
Kiki kye nnyinza okukufaananya,
okukusanyusa ggwe
Omuwala Embeerera owa Sayuuni?
Ekiwundu kyo kinene nnyo,
kale ani ayinza okukiwonya?
14 (B)Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna,
kwali kwa bulimba era kwa butaliimu;
tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwo
okukuwonya obusibe.
Engero ze baabanyumizanga
zaali za bulimba era eziwabya.
15 (C)Bonna abayitawo
babakubira mu ngalo
ne bafuuwa empa ne banyeenyeza
omuwala wa Yerusaalemi emitwe gyabwe nga boogera nti,
“Kino kye kibuga ekyayitibwanga
ekituukiridde,
era essanyu ly’ensi zonna?”
16 (D)Abalabe bo bonna
baasaamiridde nga beewuunya;
nga bafuuwa empa, era baluma amannyo
nga boogera nti, “Tumuzikirizza.
Luno lwe lunaku lwe twalindirira,
kaakano lutuukiridde, era tululabye.”
17 (E)Mukama akoze kye yateekateeka,
era atuukirizza ekigambo kye
kye yalagira mu nnaku ez’edda.
Akuzikirizza awatali kukusaasira,
aleetedde omulabe wo okukusekerera,
n’amaanyi g’abalabe bo agagulumizza.
18 (F)Kaabirira Mukama
n’eddoboozi ery’omwanguka
ggwe Omuwala wa Sayuuni.
Leka amaziga go gakulukute ng’omugga
emisana n’ekiro.
Teweewummuza so toganya
maaso go kuwummula.
19 (G)Golokoka, okaabe ekiro
obudde nga bwa kaziba;
Fuka emmeeme yo ng’amazzi
mu maaso ga Mukama.
Yimusa emikono gyo gy’ali,
olw’obulamu bw’abaana bo abato
abazirise olw’enjala
mu buli luguudo.
20 (H)“Tunula, Ayi Mukama Katonda osaasire!
Ani gwe wali obonerezza bw’otyo?
Ddala, abakyala balye ebibala by’embuto zaabwe,
abaana be bakuzizza?
Ddala, bakabona ne bannabbi battibwe
mu watukuvu wa Mukama?
21 (I)“Abato n’abakulu bonna bafiiridde wamu
mu nfuufu ey’enguudo;
abavubuka bange ne bawala bange
battiddwa n’ekitala;
obattidde ku lunaku olw’obusungu bwo,
era obasse awatali kusaasira.
22 (J)“Nga bw’oyita abantu ku lunaku olw’embaga,
bw’otyo bw’ompitidde ebikemo ku njuyi zonna;
era ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama,
tewali n’omu eyasimattuka newaakubadde eyasigalawo;
abo be nalabirira ne nkuza,
omulabe wange be yazikiriza.”
Obuwanguzi bwaffe
5 (A)Buli akkiriza nti Yesu ye Kristo, oyo aba mwana wa Katonda, era buli ayagala kitaawe w’omwana ayagala n’omwana we. 2 Ku ekyo kwe tutegeerera nga twagala abaana ba Katonda, bwe twagala Katonda ne tukola by’atulagira. 3 (B)Kubanga okwagala kwa Katonda kwe kukola ebyo by’atulagira okukola. Okukola by’atulagira si kizibu, 4 kubanga buli mwana wa Katonda awangula ekibi n’okwegomba ensi, era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, kwe kukkiriza kwaffe. 5 Naye ani ayinza okuwangula ensi okuggyako oyo akkiriza nti Yesu Mwana wa Katonda?
Okumaliriza
13 (A)Ebyo mbiwandiikidde mmwe abakkiriza erinnya ly’Omwana wa Katonda, mulyoke mumanye nti mulina obulamu obutaggwaawo. 14 (B)Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gy’ali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bw’asiima atuwulira. 15 (C)Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.
16 (D)Omuntu yenna bw’alaba muganda we ng’agudde mu kibi ekitali kya kufa, amusabirenga, Katonda talirema kumuwa bulamu. Njogera ku abo bokka abagwa mu kibi ekitali kya kufa. 17 (E)Buli ekitali kya butuukirivu kibi, naye waliwo ekibi ekitaleetera muntu kufa.
18 (F)Tumanyi nga buli muntu yenna azaalibwa Katonda teyeeyongera kukola kibi, kubanga Katonda amukuuma, Setaani n’atamukola kabi. 19 (G)Tumanyi nga tuli ba Katonda, n’ensi yonna eri mu mikono gya Setaani. 20 (H)Era tumanyi ng’Omwana wa Katonda yajja mu nsi, n’atuwa okutegeera tumanye Katonda ow’amazima, era tuli mu oyo Katonda ow’amazima, ne mu Yesu Kristo Omwana we. Oyo ye Katonda ow’amazima n’obulamu obutaggwaawo.
21 Abaana abaagalwa, mwewalenga bakatonda abalala.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.