Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
19 Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange,
n’obulumi n’obubalagaze.
20 (A)Mbijjukira bulungi
era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.
21 Ebyo byonna mbijjukira,
kyenvudde mbeera n’essuubi.
7 (A)Mu nnaku ez’okubonaabona kwe ng’asagaasagana,
Yerusaalemi ajjukira ebintu eby’omuwendo byonna
bye yalinanga mu nnaku ez’edda.
Abantu be bwe baagwa mu mikono gy’omulabe,
tewaali n’omu amubeera;
abalabe be ne bamutunuulira
ne bamusekerera olw’okugwa kwe.
8 (B)Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini,
bw’atyo n’afuuka atali mulongoofu.
Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyooma,
kubanga balabye bw’asigalidde awo;
ye yennyini asinda,
era akwatibwa ensonyi.
9 (C)Obutali bulongoofu bwe bwali mu birenge bye;
teyassaayo mwoyo ku bulamu bwe obw’ebiseera ebijja.
Okugwa kwe kwali kwa kyewuunyo;
tewaali n’omu amubeesabeesa.
“Ayi Mukama, tunuulira okubonaabona kwange,
kubanga omulabe awangudde.”
10 (D)Omulabe yagololera omukono
ku bintu bya Yerusaalemi byonna eby’omuwendo;
yalaba amawanga amakaafiiri
nga gayingira awatukuvu we,
beebo be wali ogaanye
okuyingira mu kuŋŋaaniro lyo.
11 (E)Abantu be bonna basinda
nga bwe banoonya ekyokulya;
eby’obugagga byabwe babiwanyisaamu emmere,
okusobola okuba abalamu.
“Laba, Ayi Mukama Katonda, onziseeko omwoyo
kubanga nnyoomebwa.”
12 (F)“Mmwe tekibakwatako, mmwe mwenna abayitawo?
mwetegereze mulabe
obanga waliwo obuyinike obwenkana,
obwantukako,
Mukama bwe yanteekako
ku lunaku olw’obusungu bwe obungi.
13 (G)“Yaweereza omuliro okuva waggulu,
ne gukka mu magumba gange.
Yatega ebigere byange akatimba,
n’anzizaayo emabega.
Yandeka mpuubadde,
nga nzirise olunaku lwonna.
14 (H)“Ebibi byange binfuukidde ekikoligo;
bisibiddwa ne binywezebwa omukono gwe.
Binzitoowerera mu bulago,
era bimmazeemu amaanyi.
Mukama ampaddeyo mu mikono gy’abo
be siyinza kugumiikiriza.
15 (I)“Mukama anyoomye
abalwanyi abazira bonna abaali nange;
akuŋŋaanyizza eggye okunwanyisa,
okuzikiriza abavubuka bange.
Mukama alinnyiridde Omuwala Embeerera owa Yuda,
ng’omuntu bw’asambirira ezabbibu mu lyato ng’asogola.
Yesu Azibula Bamuzibe Babiri
29 Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bava mu kibuga Yeriko, ekibiina kinene ne kimugoberera. 30 (A)Abazibe b’amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g’ekkubo bwe baawulira nga Yesu ayita mu kkubo eryo, ne baleekaanira waggulu nnyo nga bakoowoola nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, otusaasire!”
31 Ekibiina ne kibalagira okusirika, naye bo, ne beeyongera bweyongezi okukoowoolera waggulu nga boogera nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, tusasire.”
32 Yesu bwe yabatuukako n’ayimirira n’ababuuza nti, “Mwagala mbakolere ki?”
33 Ne bamuddamu nti, “Mukama waffe, twagala otuzibule amaaso.”
34 Yesu n’abasaasira n’akwata ku maaso gaabwe amangwago ne gazibuka, ne bamugoberera.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.