Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
ז Zayini
49 Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo,
kubanga gwe wampa essuubi.
50 (A)Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi
kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.
51 (B)Ab’amalala banduulira obutamala,
naye nze siva ku mateeka go.
52 (C)Bwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama,
biwummuza omutima gwange.
53 (D)Nkyawa nnyo abakola ebibi,
abaleka amateeka go.
54 Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba
buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.
55 (E)Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama,
ne neekuuma amateeka go.
56 Olw’okukugonderanga
nfunye emikisa gyo mingi.
36 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ekibuga kino okyogerako nti, Kijja kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni lwa kitala, n’enjala, ne kawumpuli.’ 37 (B)Naye laba, ndibakuŋŋaanya mu mawanga gye mbagobedde n’obusungu bwange n’ekiruyi eky’amaanyi; ndibakomyawo mu kifo kino, mubeere n’emirembe. 38 (C)Era balibeera bantu bange, nange mbeere Katonda waabwe. 39 (D)Ndibawa omutima gumu n’ekkubo limu, bantyenga emirembe gyonna, olw’obulungi bwabwe, n’obulungi bw’abaana abaliddawo. 40 (E)Ndikola nabo endagaano eteriggwaawo: siribaleka era sirirekeraawo kubakolera birungi, era ndibassaamu omwoyo oguntya, baleme kuddayo kunvaako. 41 (F)Ndisanyuka olw’okubakolera ebirungi era awatali kubuusabuusa ndibasimba mu nsi eno n’omutima gwange gwonna n’emmeeme yange yonna.
42 (G)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Nga bwe naleeta akabi kano konna ku bantu bano, era nze ndibawa okukulaakulana kwonna kwe mbasuubizza. 43 (H)Era nate ennimiro zirigulwa mu ggwanga lino lye mugamba nti, ‘Lifuuse matongo agatagambika, omutali bantu wadde ensolo kubanga kiweereddwayo eri Abakaludaaya.’ 44 (I)Ennimiro zirigulibwa ffeeza, era n’ebiwandiiko eby’obwannannyini biteekebweko omukono, bisabikibwe era bifune n’ababijulira mu Benyamini, ne mu byalo ebyetoolodde Yerusaalemi, ne mu bibuga bya Yuda ne mu bibuga ebyetoolodde Yerusaalemi, ne mu byalo bya Yuda ne mu bibuga eby’omu nsi ey’ensozi, ne mu bibuga eby’omu nsenyi ne mu bibuga eby’omu bukiikaddyo, kubanga ndikomyawo okukulaakulana kwabwe, bw’ayogera Mukama.”
Okulabula abagagga
5 (A)Kale, mmwe abagagga, mukaabe era mwaziirane. Mugenda kujjirwa ennaku. 2 (B)Eby’obugagga byammwe bivunze, n’ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje. 3 (C)Ezaabu yammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge bwabyo bwe buliba obujulirwa obulibalumiriza omusango, ne bumalawo omubiri gwammwe ng’omuliro. Mweterekera obugagga olw’ennaku ez’oluvannyuma. 4 (D)Laba abakozi abaakola mu nnimiro zammwe ne mulyazaamaanya empeera yaabwe, bakaaba, n’abaakungula bakungubaga, era amaloboozi g’okwaziirana kwabwe gatuuse mu matu ga Mukama ow’Eggye. 5 (E)Mwesanyusiza ku nsi ne mwejalabya mu bugagga bwammwe. Mwagezza emitima gyammwe nga muli ng’abeetegekera olunaku olw’okubaagirako ebyassava. 6 (F)Atasobyanga mwamusalira omusango okumusinga ne mumutta, ng’ate ye talina bwe yeerwanirako.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.