Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 91:1-6

Obwesige bw’oyo atya Katonda.

91 (A)Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo;
    aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.
(B)Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange;
    ggwe Katonda wange gwe nneesiga.

(C)Ddala ddala y’anaakuwonyanga omutego gw’omuyizzi,
    ne kawumpuli azikiriza.
(D)Alikubikka n’ebyoya bye,
    era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga;
    obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.
(E)Tootyenga ntiisa ya kiro,
    wadde akasaale akalasibwa emisana;
newaakubadde olumbe olusoobasooba mu kizikiza,
    wadde kawumpuli azikiriza mu ttuntu.

Zabbuli 91:14-16

14 “Olw’okuba nga njagala kyendiva muwonya;
    nnaamukuumanga, kubanga amanyi erinnya lyange.
15 (A)Anankowoolanga ne muyitabanga;
    nnaabeeranga naye mu biseera eby’akabi.
    Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa.
16 (B)Ndimuwangaaza n’asanyuka
    era ndimulaga obulokozi bwange.”

Yeremiya 24

Ebibbo by’Emitiini

24 (A)Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abakungu, n’abaweesi n’abafundi ba Yuda bwe baatwalibwa kabaka Nebukadduneeza mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi, Mukama yandaga ebibbo bibiri eby’emitiini nga biteekeddwa mu maaso ga yeekaalu ya Mukama. (B)Ekibbo ekimu kyalimu ettiini nga nnungi nnyo ng’eyo esooka okwengera, n’ekibbo ekirala kyalimu ettiini nga mbi nnyo, ezitayinza kuliika.

(C)Mukama n’ambuuza nti, “Olaba ki Yeremiya?” Ne muddamu nti, “Ndaba ettiini. Ennungi nga nnungi nnyo naye embi nga mbi nnyo ezitayinza kuliika.”

Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’ettiini zino ennungi, ndaba nti abawaŋŋanguse b’omu Yuda balungi, be natwala okuva mu kifo kino eri mu nsi ey’Abakaludaaya. (D)Amaaso gange gajja kubalabirira olw’obulungi bwabwe, era nzija kubakomyawo mu nsi eno. Nzija kubazimba era nneme kubamenyaamenya: nzija kubasimba nneme kubakuula. (E)Ndibawa omutima bammanye, nti nze Mukama. Balibeera bantu bange, nange ndibeera Katonda waabwe, kubanga balidda gye ndi n’omutima gwabwe gwonna.

(F)“ ‘Naye ng’ettiini embi, embi ennyo ezitayinzika kuliika, bwe ntyo bwe nnaakola Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abo abaasigalawo mu Yerusaalemi, oba abaasigalawo mu nsi eno oba abo ababeera mu Misiri,’ bw’ayogera Mukama. (G)‘Ndibafuula kyennyinnyalwa era eky’omuzizo eri amawanga g’ensi, eky’okusekererwa era olugero obugero, ekintu eky’okusekererwa era eky’okukolimirwanga yonna gye nnaabagoberanga. 10 (H)Ndireeta ekitala, n’ekyeya, ne kawumpuli okubalumba okutuusa lwe balizikirira babule ku nsi gye nabawa ne bakitaabwe.’ ”

Lukka 9:43-48

43 Abantu bonna ne beewuunya obuyinza bwa Katonda. Awo buli muntu bwe yali akyewuunya eby’ekitalo ebyo Yesu bye yali akola, n’agamba abayigirizwa be nti, 44 (A)“Muwulirize nnyo kye ŋŋenda okubagamba. Omwana w’Omuntu, agenda kuliibwamu olukwe.” 45 (B)Naye abayigirizwa tebaategeera ky’agambye n’amakulu gaakyo. Kubanga kyali kibakwekebbwa, baleme okutegeera ate nga batya okukimubuuza.

46 (C)Awo empaka ne zisituka mu bayigirizwa ba Yesu, nga bawakanira aliba omukulu mu bo. 47 (D)Naye Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe n’addira omwana omuto n’amuyimiriza w’ali. 48 (E)N’abagamba nti, “Buli muntu asembeza omwana ono omuto mu linnya lyange ng’asembezezza Nze, na buli ansembeza aba asembezezza oyo eyantuma. Oyo asembayo okuba owa wansi mu mmwe, ye mukulu okubasinga.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.