Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Obwesige bw’oyo atya Katonda.
91 (A)Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo;
aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.
2 (B)Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange;
ggwe Katonda wange gwe nneesiga.
3 (C)Ddala ddala y’anaakuwonyanga omutego gw’omuyizzi,
ne kawumpuli azikiriza.
4 (D)Alikubikka n’ebyoya bye,
era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga;
obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.
5 (E)Tootyenga ntiisa ya kiro,
wadde akasaale akalasibwa emisana;
6 newaakubadde olumbe olusoobasooba mu kizikiza,
wadde kawumpuli azikiriza mu ttuntu.
Bannabbi Abalimba
9 (A)Ebikwata ku bannabbi:
omutima gwange gwennyise mu nda yange
amagumba gange gonna gakankana,
nninga omusajja omutamiivu,
ng’omusajja afugiddwa omwenge,
ku lwa Mukama
n’ebigambo bye ebitukuvu.
10 (B)Ensi ejjudde abenzi;
olw’ekikolimo ensi esigadde nkalu
era n’amalundiro g’omu ddungu meereere.
Bannabbi bagoberera amakubo amabi
era bakozesa obuyinza bwabwe mu butali bwenkanya.
11 (C)“Nnabbi ne kabona bombi tebalina Katonda,
ne mu yeekaalu yange mbasanze nga bakoleramu ebibi,”
bw’ayogera Mukama.
12 (D)“Noolwekyo amakubo gaabwe gajja kuseerera
era bajja kusuulibwa mu kizikiza
era eyo gye baligwira.
Ndibaleetako okuzikirira
mu mwaka gwe balibonerezebwamu,”
bw’ayogera Mukama.
13 (E)“Mu bannabbi b’e Samaliya
nalaba ekintu kino ekyenyinyalwa.
Balagulira wansi wa Baali
ne babuza abantu bange Isirayiri.
14 (F)Era ne mu bannabbi ba Yerusaalemi
ndabye ekintu ekibi ennyo.
Bakola eby’obwenzi ne batambulira mu bulimba.
Bagumya abo abakozi b’ebibi
ne wataba n’omu ava mu kwonoona kwe.
Bonna bali nga Sodomu gye ndi;
abantu ba Yerusaalemi bali nga Ggomola.”
15 (G)Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye ebikwata ku bannabbi nti,
“Nzija kubaliisa emmere ekaawa
banywe amazzi ag’obutwa,
kubanga okuva mu bannabbi ba Yerusaalemi,
obutatya Katonda bubunye mu nsi yonna.”
16 (H)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti,
“Temuwuliriza bannabbi bye babategeeza:
babajjuza essuubi ekyamu.
Boogera ebirooto ebiva mu mitima gyabwe,
so si ebiva mu kamwa ka Mukama Katonda.
17 (I)Bagamba abo abannyooma nti,
‘Mukama Katonda agamba onoobeera n’emirembe.’
Abo abagoberera obukakanyavu bw’emitima gyabwe
babagamba nti, ‘Tewali kabi kanaakujjira.’
18 Naye ani ku bo
eyali abadde mu lukiiko lwa Mukama Katonda okulaba
oba okuwulira ekigambo kye?
19 (J)Laba, omuyaga gwa Mukama
gujja kubwatuka n’ekiruyi,
empewo ey’akazimu
eyetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
20 (K)Obusungu bwa Mukama tebujja kukoma
okutuusa ng’amaze okutuukiriza
ekigendererwa ky’omutima gwe.
Mu nnaku ezijja, mujja kukitegeera bulungi. 21 (L)Situmanga bannabbi bano,
songa bagenda
badduka n’obubaka buno,
era sogeranga nabo,
songa bategeeza obunnabbi.
22 (M)Naye singa bayimirira mu maaso gange,
bandibuulidde abantu bange ebigambo byange,
era bandibaggye mu makubo gaabwe amabi
era ne mu bikolwa byabwe ebibi.
8 (A)Sibawa kiragiro, wabula olw’okunyiikira kw’abalala n’okugezesa okwagala kwammwe nga kw’amazima. 9 (B)Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo nga bwe yafuka omwavu ku lwammwe, mwe mulyoke mugaggawale.
10 (C)Amagezi ge mbawa ge gano nti mumalirize ekyo kye mwatandikako mu mwaka ogwayita, kubanga si mmwe mwasooka okuleeta ekirowoozo ekyo ate era si mmwe mwali ababereberye mu kutandika okukikolerako. 11 (D)Naye kaakano mu bumalirivu bwammwe mu kwagala okukikola, mumalirize omulimu ogwo, okusinziira kw’ekyo kye mulina. 12 (E)Kuba obanga mulina obumalirivu nga buli muntu bw’alina, buli muntu aweeyo okusinziira ku ekyo ky’alina so si ky’atalina.
13 Abalala baleme kuyambibwa ate nga mmwe munyigirizibwa, walyoke wabeewo, okwenkanankana. 14 (F)Kaakano bye mulina ebingi biyambe abo abali mu kwetaaga, ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi biribayamba nga muli mu kwetaaga. 15 (G)Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Oyo eyakuŋŋaanyanga ennyingi teyasigazangawo, n’eyakuŋŋaanyanga entono ng’emumala bumazi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.