Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 106:40-48

40 (A)Mukama kyeyava asunguwalira abantu be,
    n’akyawa ezzadde lye.
41 (B)N’abawaayo eri amawanga amalala,
    abalabe ne babafuga.
42 Abalabe baabwe ne babanyigiriza,
    ne babatuntuza nnyo ddala.
43 (C)Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi,
    naye obujeemu ne bubalemeramu,
    ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.

44 (D)Naye bwe yawulira okukaaba kwabwe,
    n’abakwatirwa ekisa;
45 (E)ku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye;
    okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye.
46 (F)N’abaleetera okusaasirwa
    abo abaabawambanga.
47 (G)Ayi Mukama Katonda,
    otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga,
tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu,
    era tusanyukenga nga tukutendereza.

48 (H)Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri,
    emirembe n’emirembe.

Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!”

Mumutendereze Mukama.

Yeremiya 10:17-25

Okuzikirira Okujja

17 (A)Mukuŋŋaanye ebyammwe muve mu nsi,
    mmwe abazingiziddwa.
18 (B)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
    “Laba nfuumuula abantu
    mbaggye mu nsi eno,
era ndibaleetako ennaku
    balyoke bawambibwe.”

19 (C)Zinsanze nze olw’ekiwundu kyange
    ekinnuma ennyo.
Naye ate ne ŋŋamba nti,
    “Eno ndwadde yange, nteekwa okugigumira.”
20 (D)Eweema yange eyonooneddwa,
    era emiguwa gyonna gikutuse, abaana bange bandese, tewakyali.
Tewali n’omu asigaddewo kaakano
    kuzimba weema yange
    wadde okuzimba ekigango kyange.
21 (E)Kubanga abasumba bafuuse ng’ensolo
    tebakyebuuza ku Mukama.
Noolwekyo tebakulaakulana
    era endiga zaabwe zonna zisaasaanye.
22 (F)Wuliriza!
    Amawulire gatuuse,
waliwo akeegugungo ak’amaanyi okuva mu nsi ey’omu bukiikakkono,
    kajja kufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ebisulo by’ebibe.

Okusaba kwa Yeremiya

23 (G)Mmanyi Ayi Mukama Katonda ng’obulamu bw’omuntu si bubwe,
    omuntu si y’aluŋŋamya amakubo ge.
24 (H)Nnuŋŋamya, Mukama Katonda naye mu kigera ekisaanidde,
    si mu busungu bwo,
    si kulwa ng’onfuula ekitaliimu.
25 (I)Yiwa obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi,
    agatakutwala ng’ekikulu,
    ku bantu abatakoowoola linnya lyo.
Kubanga bamazeewo Yakobo,
    bamuliiridde ddala
    era ne boonoona ensi ye.

Lukka 20:45-21:4

45 Awo abantu bonna nga bawulira, Yesu n’akyukira abayigirizwa be n’abagamba nti, 46 (A)“Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka. Baagala nnyo okutambula nga bambadde amaganduula agagenda gakweya, n’abantu okugenda nga babalamusa mu butale, era baagala nnyo okutuula mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro ne ku mbaga! 47 Balimbalimba nga basaba essaala empanvu, ng’eno bwe basala enkwe okunyaga ebintu bya bannamwandu. Noolwekyo bagenda kufuna ekibonerezo ekisingira ddala obunene.”

Okugaba kwa Nnamwandu

21 (B)Awo Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba abantu abagagga nga bateeka ebirabo byabwe mu ggwanika mu Yeekaalu. N’alaba nnamwandu omwavu ng’awaayo busente bubiri. N’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu agabye okusinga bali abagagga bonna. (C)Kubanga bagabye kitono nga bakiggya ku bugagga bwe bafisizzaawo, naye nnamwandu mu bwavu bwe awaddeyo kyonna ky’alina.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.