Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
94 (A)Ayi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga,
ggwe Katonda awalana eggwanga, labika omasemase.
2 (B)Golokoka, Ayi ggwe Omulamuzi w’ensi,
osasule ab’amalala nga bwe kibagwanidde.
3 Ayi Mukama, omukozi w’ebibi alikomya ddi?
Omukozi w’ebibi alituusa ddi ng’asanyuka?
4 (C)Bafukumula ebigambo eby’okwewaanawaana;
abakola ebibi bonna beepankapanka.
5 (D)Babetenta abantu bo, Ayi Mukama,
babonyaabonya ezzadde lyo.
6 Batta nnamwandu n’omutambuze;
ne batemula ataliiko kitaawe.
7 (E)Ne boogera nti, “Katonda talaba;
Katonda wa Yakobo tafaayo.”
8 (F)Mwerinde mmwe abantu abatategeera.
Mmwe abasirusiru muligeziwala ddi?
9 (G)Oyo eyatonda okutu tawulira?
Oyo eyakola eriiso talaba?
10 (H)Oyo akangavvula amawanga, taakubonereze?
Oyo ayigiriza abantu talina ky’amanyi?
11 (I)Mukama amanyi ebirowoozo by’abantu;
amanyi nga mukka bukka.
12 (J)Ayi Mukama, alina omukisa oyo gw’ogunjula,
gw’oyigiriza eby’omu mateeka go;
13 (K)omuwummuzaako mu kabi kaalimu,
okutuusa abakola ebibi lwe balisimirwa ekinnya.
14 (L)Kubanga Mukama talireka bantu be;
talyabulira zzadde lye.
15 (M)Aliramula mu butuukirivu,
n’abo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga.
16 (N)Ani alinnwanyisizaako abakola ebibi?
Ani alinnwanirira eri abakola ebibi?
17 (O)Singa Mukama teyali mubeezi wange,
omwoyo gwange gwandiserengese emagombe.
18 (P)Bwe naleekaana nti, “Nseerera!”
Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira.
19 Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi,
okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.
20 (Q)Oyinza okukolagana n’obufuzi obukyamu,
obukaabya abantu n’amateeka gaabwe?
21 (R)Abakola ebibi beegatta ne balumbagana abatuukirivu;
atasobezza ne bamusalira ogw’okufa.
22 (S)Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange eky’amaanyi;
ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka.
23 (T)Mukama alibabonereza olw’ebibi byabwe,
n’abazikiriza olw’ebyonoono byabwe;
Mukama Katonda waffe alibamalirawo ddala.
Ekyeya, Enjala, n’Ekitala
14 Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yerusaalemi ekikwata ku kyeya.
2 (A)“Yuda ekungubaga n’ebibuga byayo bifaafaaganye,
bakaabira ensi,
era omulanga
gusimbuse mu Yerusaalemi.
3 (B)Abakungu batuma abaddu baabwe okuleeta amazzi;
bagenda mu ttanka ez’omu ttaka nga temuli kantu,
bakomawo n’ebintu ebikalu;
ensonyi nga zibakutte
n’essuubi nga libaweddemu;
babikka amaaso gaabwe.
4 (C)Ettaka lyatise
kubanga enkuba tekyatonnya,
abalimi baweddemu amaanyi,
babikka ku mitwe gyabwe.
5 (D)N’empeewo ku ttale ezaala
n’ereka awo omwana gwayo
kubanga tewali muddo.
6 (E)N’ennyumbu ez’omu nsiko ziyimirira ku busozi obukalu
nga ziwejjawejja ng’ebibe,
amaaso gaazo nga tegalaba bulungi
kubanga tezirina kye zirya.”
7 (F)Wadde obutali butuukirivu bwaffe butulumiriza, Ayi Mukama,
baako ky’okola olw’erinnya lyo.
Kubanga tuzze ennyuma emirundi mingi,
tukwonoonye nnyo.
8 (G)Ayi ggwe essuubi lya Isirayiri,
Omulokozi waalyo mu biseera eby’okulabiramu ennaku,
lwaki oli ng’omuyise mu nsi,
ng’omutambuze asula ekiro ekimu?
9 (H)Lwaki oli ng’omuntu gwe baguddeko obugwi,
ng’omulwanyi ataliimu maanyi ganunula?
Ggwe, Ayi Mukama Katonda, oli wakati mu ffe,
era tuyitibwa linnya lyo.
Totuleka.
10 (I)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku bantu be nti,
“Baagala nnyo okubula,
tebaziyiza bigere byabwe.
Noolwekyo Mukama tabakkiriza
era kaakano wakujjukira obutali butuukirivu bwabwe
era ababonereze olw’ebibi byabwe.”
17 (A)“Kino ky’oba obagamba nti,
“ ‘Leka amaaso gange gakulukute amaziga
emisana n’ekiro awatali kukoma;
kubanga muwala wange embeerera, abantu bange,
bafunye ekiwundu ekinene,
ekintu eky’amaanyi.
18 (B)Bwe ŋŋenda mu byalo
ndaba abafumitiddwa n’ekitala!
Bwe ŋŋenda mu kibuga
ndaba okutaagulwataagulwa okw’enjala.
Naye nnabbi ne kabona beeyongera okukola emirimu gyabwe mu ggwanga
kyokka nga bye boogera bya bulimba.’ ”
19 (C)Yuda ogigaanidde ddala?
Sayuuni ogyetamiriddwa ddala?
Otufumitidde ddala awatali kuwonyezebwa?
Twasuubira emirembe naye tewali kalungi ke tufunye,
ekiseera eky’okuwonyezebwa
naye laba tufunye bulabe bwereere.
20 (D)Ayi Mukama tukkiriza ebibi byaffe
era n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe,
kubanga ddala twayonoona gy’oli.
21 (E)Olw’erinnya lyo totugoba,
tovumaganyisa ntebe yo ey’obwakabaka ey’ekitiibwa.
Jjukira endagaano gye wakola naffe,
togimenya, gituukirize.
22 (F)Waliwo ku bakatonda ababajje bannaggwanga asobola okutonnyesa enkuba?
Eggulu ku bw’alyo lisobola okuleeta enkuba?
Nedda, wabula ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe.
Noolwekyo essuubi lyaffe liri mu ggwe,
kubanga ggwe okola bino byonna.
31 (A)“Simooni, Simooni, Setaani asabye okukuwewa ng’eŋŋaano, 32 (B)naye ggwe nkusabidde okukkiriza kwo kuleme kukuggwaamu. Era bw’olimala okwenenya, yamba mu kuzimba n’okunyweza okukkiriza kwa baganda bo.”
33 (C)Awo Peetero n’addamu nti, “Mukama wange, neeteeseteese okusibirwa awamu naawe mu kkomera, era n’okufiira awamu naawe.”
Peetero Yeegaana Yesu
54 (A)Awo ne bakwata Yesu ne bamutwala mu nnyumba ya Kabona Asinga Obukulu. Peetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga. 55 Bwe baamala okukuma omuliro wakati mu luggya ne batuula okwota; Peetero naye n’atuula wakati mu bo, n’ayota omuliro. 56 Omuwala omuweereza n’amulengera ng’omuliro gumumulisizza, n’amutunuulira enkaliriza, okutuusa lwe yagamba nti, “Omusajja ono yali ne Yesu!”
57 Peetero ne yeegaana nti, “Omukazi, oyo gw’oyogerako nze simumanyi.”
58 Bwe waayitawo akabanga omuntu omulala n’alaba Peetero n’amugamba nti, “Naawe oli omu ku bo.” Peetero ne yeegaana nti, “Nedda, ssebo, si bwe kiri.” 59 (B)Bwe waali wayiseewo ng’essaawa nnamba, omuntu omu n’ayogera ng’akakasa nti, “Ddala n’ono yali wamu ne Yesu kubanga naye Mugaliraaya.” 60 Peetero n’addamu nti, “Omusajja, by’oyogerako sibimanyi!” Peetero bwe yali akyayogera enkoko n’ekookolima. 61 (C)Mu kaseera ako Mukama waffe n’akyuka n’atunuulira Peetero. Peetero n’ajjukira Yesu kye yagamba nti, “Enkoko eneeba tennakookolima ononneegaana emirundi esatu.” 62 Awo Peetero n’afuluma okuva mu luggya n’akaaba nnyo amaziga!
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.