Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
2 (A)Lwaki amawanga geegugunga
n’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?
2 (B)Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye,
n’abafuzi ne bateeseza wamu
ku Mukama
ne ku Kristo we, nga bagamba nti,
3 (C)“Ka tukutule enjegere zaabwe,
era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.”
4 (D)Naye Katonda oyo atuula mu ggulu,
abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.
5 (E)N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu,
n’abatiisa nnyo ng’aswakidde.
6 N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange
ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”
7 (F)Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama:
kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange,
olwa leero nfuuse kitaawo.
8 (G)Nsaba,
nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo,
era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.
9 (H)Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma,
era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.”
10 Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka;
muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi.
11 (I)Muweereze Mukama nga mumutya,
era musanyuke n’okukankana.
12 (J)Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira
n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe;
kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.
Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.
Yeremiya Ayigganyizibwa ng’Abuulira
20 (A)Awo Pasukuli eyali kabona mutabani wa Immeri, eyali omukulu mu yeekaalu ya Mukama, yawulira nga Yeremiya awa obubaka buno, 2 (B)n’alagira Yeremiya akubibwe. N’asibibwa mu nvuba eyali mu mulyango ogw’ekyengulu ogwa Benyamini ku yeekaalu ya Mukama. 3 (C)Olunaku olwaddirira, nga Pasukuli amusumuludde mu nvuba, Yeremiya n’amugamba nti, “Mukama takyakuyita Pasukuli, naye Magolumissabibu. 4 (D)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndikufuula eky’entiisa, ekikangabwa, eri ggwe n’eri mikwano gyo bonna; era balifa ekitala ky’abalabe baabwe, n’amaaso go galikiraba, era Yuda yonna ndigiwaayo mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, alibatwala e Babulooni oba okubattisa ekitala. 5 (E)Era ndigabula obugagga bw’ekibuga kino bwonna obulimu, n’eby’omuwendo omungi era n’eby’obugagga byonna ebya bakabaka ba Yuda mu mukono gw’abalabe baabwe. Balibutwala babwetikke ng’omunyago mu Babulooni. 6 (F)Era ggwe Pasukuli, era n’abo bonna ab’omu nnyumba yo balitwalibwa mu busibe, e Babulooni. Eyo gy’olifiira era oziikibwe, ggwe ne mikwano gyo bonna b’otegeezezza obunnabbi obw’obulimba.’ ”
Okwemulugunya kwa Yeremiya
7 Ayi Mukama, wannimba era n’ennimbibwa,
wansinza amaanyi n’ompangula.
Nvumibwa okuva ku makya okuzibya obudde,
buli muntu ankudaalira.
8 (G)Buli lwe njogera,
ndeekaana ne nnangirira akatabanguko n’okuzikirira.
Kale ekigambo kya Mukama kindeetera
kuvumwa na kusekererwa buli lunaku.
9 (H)Naye bwe ŋŋamba nti,
“Sijja kumwogerako oba okweyongera okwogera mu linnya lye,”
ekigambo kye mu mutima gwange kiri ng’omuliro ogwaka,
ogukwekeddwa mu magumba gange.
Nkooye okukizibiikiriza
era ddala sisobola.
10 (I)Mpulira bangi nga beegeya nti, “Akabi kali enjuuyi zonna.
Mumuloope.
Leka naffe tumuloope.”
Mikwano gyange bonna
banninda ngwe,
nga bagamba nti, “Oboolyawo anaasobya,
tumugweko
tuwoolere eggwanga.”
11 (J)Naye Mukama ali nange ng’omulwanyi ow’amaanyi ow’entiisa,
kale abanjigganya kyebaliva bagwa ne bataddayo kuyimirira.
Baakulemererwa era baswalire ddala
n’okuswala kwabwe tekulyerabirwa emirembe gyonna.
12 (K)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye oyo agezesa abatuukirivu,
alaba ebiri munda mu mitima era n’ebirowoozo,
kale leka ndabe bw’obawoolererako eggwanga,
kubanga ensonga zange nzitadde mu mikono gyo.
13 (L)Muyimbire Mukama Katonda.
Mumuwe ettendo.
Kubanga awonyezza obulamu bw’omunaku
mu mikono gy’abo abakozi b’ebibi.
14 (M)Lukolimirwe
olunaku kwe nazaalirwa!
Olunaku mmange kwe yanzaalira
luleme kuweebwa mukisa!
15 Akolimirwe eyaleetera kitange amawulire,
agaamusanyusa ennyo,
ng’agamba nti, “Omwana omulenzi akuzaaliddwa.”
16 (N)Omusajja oyo abeere ng’ebibuga Mukama bye yamenyaamenya
awatali kusaasira kwonna.
Okukaaba kuwulirwe ku makya,
ne nduulu z’abalwanyi mu ttuntu.
17 (O)Yandinzitidde mu lubuto lwa mmange.
Mmange yandibadde entaana yange,
olubuto lwe ne luba lunene emirembe gyonna.
18 (P)Lwaki nava mu lubuto
okulaba emitawaana n’obuyinike
era ennaku zange ne nzimala mu buswavu?
Omukungu Omugagga
18 (A)Awo omu ku bakulembeze b’Abayudaaya n’abuuza Yesu nti, “Omuyigiriza omulungi, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” 19 Yesu n’amuddamu nti, “Lwaki ompita omulungi? Tewali mulungi n’omu wabula Katonda yekka. 20 (B)Amateeka ogamanyi nti, ‘Toyendanga, tottanga, tobbanga, tolimbanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ”
21 N’amuddamu nti, “Amateeka ago gonna ngagondedde ebbanga lyonna okuva mu buto bwange.”
22 (C)Yesu bwe yawulira ebyo, n’amugamba nti, “Okyabulako ekintu kimu. Genda otunde ebibyo byonna, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, olibeera n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”
23 Naye bwe yawulira ebigambo ebyo n’agenda ng’anakuwadde nnyo, kubanga yali mugagga nnyo. 24 (D)Yesu bwe yamulaba ng’anakuwadde nnyo, n’ayogera nti, “Nga kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25 Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”
26 Abo abaawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?”
27 (E)Yesu n’addamu nti, “Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda.”
28 (F)Peetero n’amugamba nti, “Ffe twalekawo ebyaffe byonna ne tukugoberera!”
29 Yesu n’addamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti teri muntu n’omu eyalekawo amaka ge, oba omukazi we, oba baganda be, oba abazadde be, oba abaana be, olw’obwakabaka bwa Katonda, 30 (G)atalifuna mirundi mingi n’okusingawo mu mulembe guno, ate ne mu mulembe ogugenda okujja aweebwe obulamu obutaggwaawo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.