Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 10

10 (A)Lwaki otwekwese, Ayi Mukama?
    Lwaki otwekwese mu biseera eby’emitawaana?

Omubi, mu malala ge, ayigganya abanafu;
    muleke agwe mu nkwe ezo z’asaze.
(B)Kubanga omubi yeewaana ng’anyumya ku bibi ebiri mu mutima gwe,
    agabula aboomululu n’avuma Mukama.
(C)Omubi mu malala ge
    tanoonya Katonda.
Buli ky’akola kimugendera bulungi.
    Amateeka go tagafaako,
    era n’abalabe be abanyooma.
(D)Ayogera mu mutima gwe nti, “Sikangibwa,
    nzija kusanyuka emirembe gyonna.”

(E)Mu kamwa ke mujjudde okukolima n’obulimba awamu n’okutiisatiisa;
    ebigambo bye bya mutawaana era bibi.
(F)Yeekukuma mu byalo
    okutemula abantu abataliiko musango.
    Yeekweka ng’aliimisa b’anatta.
(G)Asooba mu kyama ng’empologoma,
    ng’alindirira okuzinduukiriza abateesobola.
    Abakwasa n’abatwalira mu kitimba kye.
10 B’abonyaabonya bagwa wansi
    ne babetentebwa ng’amaanyi g’omubi gabasukkiridde.
11 (H)Ayogera mu mutima gwe nti, “Katonda yeerabidde, amaaso ge agakwese,
    era takyaddayo kubiraba.”

12 (I)Golokoka, Ayi Mukama, ozikirize omubi, Ayi Katonda;
    abanaku tobeerabiranga.
13 Omuntu omubi ayinza atya okukunyooma, Ayi Katonda,
    n’agamba mu mutima gwe nti
    “Sigenda kwennyonnyolako?”
14 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, ennaku zaabwe n’okubonaabona kwabwe obiraba
    era ojja kubikolako.
Ateesobola yeewaayo mu mikono gyo,
    kubanga gwe mubeezi w’abatalina bakitaabwe.
15 (K)Malawo amaanyi g’omwonoonyi,
    muyite abyogere ebyo
    ebibadde bitajja kuzuulwa.

16 (L)Mukama ye Kabaka emirembe n’emirembe.
    Amawanga galizikirizibwa mu nsi ye.
17 (M)Mukama awulira okwetaaga kw’ababonyaabonyezebwa, ogumye emitima gyabwe;
    otege okutu kwo obaanukule.
18 (N)Olwanirira abataliiko bakitaabwe n’abajoogebwa;
    omuntu obuntu ow’oku nsi n’ataddayo kubatiisa.

Yeremiya 7:27-34

27 (A)“Kale ojja kubagamba bino byonna naye tebajja kukuwuliriza, bw’onoobayita tebajja kukwanukula. 28 Noolwekyo bagambe nti, ‘Lino ly’eggwanga eritagondera Mukama Katonda waalyo oba okufaayo ku kugololwa. Amazima gabulawo, tegali ku mimwa gyabwe. 29 (B)Salako enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala ddala okaabire ku ntikko z’ensozi, kubanga Mukama alese abantu be era n’asuula ab’omu mulembe guno mw’asunguwalidde ennyo.’ ”

Ekiwonvu eky’Okufiiramu

30 (C)“Abantu ba Yuda bakoze ekintu eky’ekivve mu maaso gange, bw’ayogera Mukama. Batadde bakatonda abalala mu nnyumba yange eyitibwa erinnya lyange ne bagyonoona. 31 (D)Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Tofesi mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ne bassaddaakiramu batabani baabwe be bazaala n’abawala, kye saalowoozaako wadde okukibalagira. 32 (E)Laba, ennaku zijja,” bw’atyo bw’ayogera Mukama, bwe kitariyitibwa Kiwonvu kya Tofesi oba ekya Kinnomu ne kiyitibwa Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziikamu Tofesi okutuusa we wataliba bbanga lya kuziikamu. 33 (F)Era emirambo gy’abantu bano gifuuke emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga era n’ensolo ez’omu nsiko, era waleme kubaawo muntu wakuzigoba; 34 (G)olwo nga nkomezza amaloboozi ag’okusanyuka n’okujaguza, n’eddoboozi ly’omusajja awasa n’ery’omugole we mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, olwo ensi ng’efuuse matongo.

Lukka 6:6-11

Yesu Awonya Omusajja ow’Omukono Ogukaze

(A)Ku lunaku lwa Ssabbiiti olulala Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro nga mulimu n’omusajja eyalina omukono ogukaze. (B)Abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bamusimbako amaaso okulaba obanga anaawonya ku Ssabbiiti, babeeko n’ekintu kye baneekwasa bamuvunaane omusango. (C)Naye Yesu n’ategeera ebirowoozo byabwe. N’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Situka oyimirire wakati wano.” N’asituka n’ayimirira.

Yesu n’alyoka agamba Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Muleke mbabuuze; Kirungi okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Kirungi okuwonya obulamu oba okubuzikiriza?”

10 N’abeetoolooza amaaso kinnoomu, n’alyoka agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” Omusajja n’agolola omukono gwe ne guwona. 11 (D)Naye ne bajjula obusungu, ne boogera bokka ne bokka kye banaakola Yesu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.