Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Asafu.
74 (A)Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna?
Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo?
2 (B)Ojjukire abantu bo be wagula edda;
ekika kye wanunula okuba ababo.
Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.
3 Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa!
Olabe omulabe nga bw’azikirizza ennyumba yo.
4 (C)Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga;
ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe.
5 (D)Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi
abatema emiti mu kibira.
6 (E)Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole,
era ne babissessebbula n’obubazzi.
7 Bookezza awatukuvu wo;
ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.
8 (F)Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!”
Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.
9 (G)Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu.
So tewali n’omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.
10 (H)Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira?
Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize.
11 (I)Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo?
Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo?
12 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda;
gw’oleeta obulokozi mu nsi.
13 (K)Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja;
omulabe n’omuzikiririza mu mazzi.
14 Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene;
n’oguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde eby’omu ddungu.
15 (L)Ggwe wazibukula ensulo n’emyala;
ate n’okaza n’emigga
egyakulukutanga bulijjo.
16 (M)Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo;
ggwe wakola omwezi n’enjuba.
17 (N)Ggwe wateekawo ensalo z’ensi;
ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.
18 (O)Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe,
n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.
19 (P)Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe;
so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa.
20 (Q)Ojjukire endagaano yo;
kubanga ensi ejjudde ekizikiza n’abantu abakambwe.
21 (R)Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa;
era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.
22 (S)Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango.
Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba.
23 (T)Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo,
n’okuleekaana okwa buli kiseera.
8 (A)Zibasanze mmwe aboongera amayumba ku ge mulina,
n’ennimiro ne muzongerako endala
ne wataba kafo konna kasigadde,
ne mubeera mwekka wakati mu nsi!
9 (B)Mukama Katonda alayidde nga mpulira nti,
“Mu mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukkwa,
n’ezo ennene ez’ebbeeyi zibulemu abantu.
10 (C)Kubanga yika kkumi ez’ennimiro y’emizabbibu zinaavangamu ekibbo kimu,
n’ogusero ogw’ensigo, kabbo bubbo ak’amakungula.”
11 (D)Zibasanze abo abakeera enkya ku makya
banoonye ekitamiiza,
abalwawo nga banywa omwenge ettumbi ly’obudde,
okutuusa omwenge lwe gubalalusa!
12 (E)Ababeera n’ennanga n’entongooli, ebitaasa n’endere,
n’omwenge ku mbaga zaabwe;
naye ne batalowooza ku mulimu gwa Mukama Katonda,
wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda.
13 (F)Abantu bange kyebavudde bagenda mu buwaŋŋanguse
kubanga tebalina kutegeera.
Abantu baabwe ab’ekitiibwa bafe enjala,
n’abantu aba bulijjo bafe ennyonta.
14 (G)Amagombe kyegavudde gagaziya omumiro gwago,
era ne gaasamya akamwa kaago awatali kkomo.
Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe
n’abantu baabwe abaabulijjo, n’ab’effujjo n’abatamiivu.
15 (H)Buli muntu alitoowazibwa,
abantu bonna balikkakkanyizibwa
era amaaso g’abo abeemanyi nago gakkakkanyizibwe.
16 (I)Naye Mukama Katonda ow’Eggye aligulumizibwa olw’obwenkanya,
era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw’ali omutukuvu mu butuukirivu bwe.
17 (J)Endiga ento ziryoke zirye ng’eziri mu malundiro gaazo,
n’ensolo engenyi ziriire mu bifo ebyalekebwa awo, ebyalundirwangamu eza ssava.
18 (K)Zibasanze abo abasikaasikanya ebibi byabwe
ng’embalaasi bw’esika ekigaali.
19 (L)Aboogera nti, “Ayanguyeeko, ayite mu bwangu tulabe ky’anaakola.
Entegeka z’omutukuvu wa Isirayiri nazo zijje,
zituuke nazo tuzimanye.”
20 (M)Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi
n’ekirungi ekibi,
abafuula ekizikiza okuba ekitangaala,
n’ekitangaala okuba ekizikiza,
abafuula ekikaawa okuba ekiwoomerera
n’ekiwoomerera okuba ekikaawa.
21 (N)Zibasanze abo abeeraba ng’abalina amagezi,
era abagezigezi bo nga bwe balaba.
Mugezese Emyoyo
4 (A)Abaagalwa, temukkirizanga buli myoyo, naye musookenga okugyetegereza mulabe obanga givudde eri Katonda, kubanga kaakano waliwo bannabbi ab’obulimba bangi mu nsi. 2 (B)Eno y’engeri gye tutegeeramu Mwoyo wa Katonda: buli ayatula nti Yesu Kristo yafuuka omubiri, ng’ava eri Katonda, oyo y’alina Mwoyo wa Katonda. 3 (C)Naye buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda. Ogwo gwe mwoyo ogw’Omulabe wa Kristo, gwe mwawulira nti ajja mu nsi, era amaze okutuuka.
4 (D)Mmwe, abaana abaagalwa, muli ba Katonda era mumaze okuwangula, kubanga oyo ali mu mmwe wa maanyi okusinga oyo ali mu nsi. 5 (E)Bo ba nsi era boogera bya nsi, era abantu b’ensi kyebava babawuliriza. 6 (F)Naye ffe tuli bantu ba Katonda, era buli amanyi Katonda atuwuliriza; atali wa Katonda tatuwuliriza. Eyo y’engeri gye tusobola okwawulamu omwoyo ogw’amazima n’omwoyo ogw’obulimba.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.