Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu.
8 (A)Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri;
n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.
9 Wagulongooseza ettaka, ne gumera,
emirandira ne ginywera bulungi, ne gwagaagala mu nsi.
10 Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi,
n’amatabi gaagwo ne gaba ng’emivule egy’amaanyi.
11 (B)Amatabi gaagwo ne gatuuka ku Nnyanja eya Wakati
n’amatabi g’ennyanja gaayo ne gatuuka ku Mugga Fulaati.
12 (C)Kale wamenyera ki ebisenge byagwo,
abayitawo bonna ne beenogera ebibala byagwo?
13 (D)Embizzi ez’omu kibira zigwonoona,
na buli nsolo ey’omu nsiko egulya.
14 (E)Tukyukire, Ayi Katonda ow’Eggye,
otunuulire ensi ng’osinziira mu ggulu;
olabirire omuzabbibu guno.
15 Gwe wagwesimbira n’omukono gwo ogwa ddyo,
era ggwe weerondera omwana wo.
16 (F)Bagutemye, ne bagwokya omuliro;
abakoze ekyo banenye mu bukambwe, obazikirize.
17 Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala
era omwana oyo gwe weerondera.
18 Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega.
Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.
19 Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,
otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
tulyoke tulokolebwe.
Yerusaalemi ne Yuda Bisalirwa Omusango
3 (A)Laba kaakano, Mukama,
Mukama Katonda ow’Eggye,
aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda
ekibeesiguza ne kwe banyweredde,
ekibeesiguza kyonna k’ebeere mmere, ka gabe mazzi.
2 (B)Omusajja ow’amaanyi, n’omusajja omulwanyi omuzira,
omulamuzi, ne nnabbi,
n’omulaguzi, n’omukadde.
3 Omuduumizi akulira ekibinja ky’amakumi ataano,
n’omuwi w’amagezi, omulogo, omufuusa omugezigezi.
4 “Era ndifuula abalenzi obulenzi okuba abafuzi baabwe,
n’abaana obwana balibafuga.”
5 (C)Era abantu balijooga bannaabwe,
buli muntu anyigirize munne, ne muliraanwa anyigirize muliraanwa we.
Abato baliyisa mu bakulu amaaso
n’oyo omuntu ataliiko bw’ali ajooge omuntu ow’ekitiibwa.
6 Ekiseera kirituuka
omusajja agambe muganda we nti,
“Ggwe alina ku ngoye ba omukulembeze waffe,
n’ebizibu bino ggwe oba obyetikka!”
7 (D)Naye ku olwo lwennyini aliddamu nti,
“Si nze n’aba ow’okubawonya,
mu nnyumba yange temuli mmere, wadde ebyambalo.
Temumpa kukulembera bantu!”
8 (E)Kubanga Yerusaalemi kizikiridde
ne Yuda agudde!
Kubanga ebigambo byabwe byonna n’ebikolwa biwakanya Mukama Katonda,
bityoboola ekitiibwa kye.
9 (F)Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango,
era boolesa ekibi kyabwe nga Sodomu[a]
awatali kukweka n’akatono.
Zibasanze!
Kubanga bo bennyini be beereeteedde okuzikirira.
10 (G)Gamba abatuukirivu nti bo tebaabeeko mutawaana,
kubanga baakuwoomerwa ebibala by’ebikolwa byabwe.
11 (H)Zisanze abakozi b’ebivve! Banaatuuka mu kuzikirira!
Balisasulibwa emikono gyabwe kye gikoze.
12 (I)Abantu bange banyigirizibwa abaana abato,
abakazi kaakano be babafuga.
Woowe! Abantu bange bakyamizibwa abakulembeze baabwe
era babatabulatabula okubaggya mu kkubo ettuufu.
13 (J)Mukama Katonda ali mu kifo kye mu mbuga,
ayimiridde okusalira abantu be omusango.
14 (K)Mukama Katonda asala omusango
gw’abakadde n’abakulembeze b’abantu be.
“Mmwe mwayonoona ennimiro yange ey’emizabbibu.
Ebyanyagibwa ku baavu biri mu nnyumba zammwe.
15 (L)Lwaki mulinnyirira abantu bange,
lwaki mutulugunya abaavu?” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
32 (A)Mujjukire ennaku ez’edda bwe mwategeera Kristo, ne mugumiikiriza okubonyaabonyezebwa okw’amaanyi. 33 (B)Oluusi mwavumibwanga era ne muyigganyizibwa mu lwatu, ate olulala ne mussa kimu n’abo abaabonaabona nga mmwe. 34 Mwalumirwa wamu n’abasibe, era mwagumiikiriza n’essanyu bwe mwanyagibwako ebyammwe kubanga mwamanya nti mulina ebisinga obulungi era eby’olubeerera ebibalindiridde.
35 Kale munywererenga ku buvumu bwammwe bwe mulina, obuliko empeera ennene. 36 (C)Kubanga kibasaanira okugumiikiriza nga mukola Katonda by’ayagala mulyoke mufune ebyo bye yasuubiza.
37 (D)Wasigadde akaseera katono nnyo,
oyo ow’okujja ajje era talirwa.
38 (E)Omutuukirivu wange, anaabanga mulamu lwa kukkiriza,
kyokka bw’adda emabega simusanyukira.
39 Naye ffe tetuli ba kudda mabega mu kuzikirira, wabula tulina okukkiriza okunywevu okutuleetera okulokoka.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.