Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
11 (A)Mu Mukama mwe neekweka;
ate muyinza mutya okuŋŋamba nti,
“Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?
2 (B)Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe
egy’obusaale,
balase abalina omutima
omulongoofu.
3 (C)Emisingi nga gizikirizibwa,
omutuukirivu ayinza kukola ki?”
4 (D)Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;
Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.
Amaaso ge gatunuulira
era geetegereza abaana b’abantu.
5 (E)Mukama akebera abatuukirivu
naye omutima gwe gukyawa ababi,
n’abakola eby’obukambwe.
6 (F)Ababi alibayiwako
amanda ag’omuliro;
n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.
7 (G)Kubanga Mukama mutuukirivu
era ayagala eby’obutuukirivu;
abo abalongoofu be balimulaba.
Mukama Ayogera ku Kuzikiriza Ensi
24 (A)Laba Mukama alifuula ensi amatongo,
agimalirewo ddala,
era azikirize n’obwenyi bwayo
era asaasaanye n’abagibeeramu.
2 (B)Bwe kityo bwe kiriba,
ekiriba ku kabona kye kiriba ne ku bantu,
ekiriba ku mwami kye kiriba ne ku muweereza omusajja,
ekiriba ku mugole we kye kiriba ne ku muweereza we omukazi,
ekiriba ku atunda kye kiriba ne ku muguzi,
ekiriba ku awola kye kiriba ne ku yeewola,
ekiriba ku abanja kye kiriba ne ku abanjibwa.
3 (C)Okumalibwamu ensa, ensi erimalibwamu ddala ensa,
n’okunyagibwa, erinyagibwa.
Mukama Katonda y’akyogedde.
4 (D)Ensi ekala n’eggwaamu obulamu,
ensi ekala n’ewuubaala,
abantu ab’ekitiibwa baggwaamu amaanyi.
5 (E)Ensi eyonooneddwa abantu baayo,
bajeemedde amateeka,
bamenye ebiragiro,
ne bamenyawo n’endagaano ey’emirembe n’emirembe.
6 (F)Noolwekyo ekikolimo kimalawo ensi;
n’abantu baayo bateekwa okusasula olw’omusango ogwabasinga.
Abatuuze b’ensi bayidde,
Era abatono be basigaddewo.
7 (G)Wayini omusu aggwaamu, n’omuzabbibu gukala,
ab’amasanyu bonna bakaaba olw’obulumi.
8 (H)Okujaguza kw’ebitaasa kusirise,
n’oluyoogaano lw’abo ababeera mu masanyu lusirise,
entongooli esanyusa esirise.
9 (I)Tebakyanywa nvinnyo nga bwe bayimba,
n’omwenge gukaayira abagunywa.
10 Ekibuga ekyazikirizibwa kisigadde nga matongo,
na buli mulyango oguyingira mu nnyumba guzibiddwa.
11 (J)Bakaabira envinnyo mu nguudo,
n’essanyu lyonna liweddewo,
n’okujaguza kwonna tekukyaliwo mu nsi.
12 Ekibuga kizikiridde
wankaaki waakyo amenyeddwamenyeddwa.
13 (K)Bwe kityo bwe kiriba ku nsi
ne mu mawanga
ng’omuzeyituuni bwe gunyeenyezebwa
oba ng’ebinywa ebisigaddewo bwe bibeera oluvannyuma lw’okukungula kw’ezabbibu.
17 (A)Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yagezesebwa, n’awaayo Isaaka omwana we omu yekka, eyaweebwa ebyasuubizibwa, 18 (B)gwe kyayogerwako nti, “Mu Isaaka mw’olifunira abazzukulu,” 19 (C)gwe yamanya nga Katonda ayinza okumuzuukiza mu bafu, era n’ayaniriza Isaaka, nga Isaaka ali ng’azuukidde mu bafu.
20 (D)Olw’okukkiriza ebyo ebyali bigenda okubaawo, Isaaka yasabira Yakobo ne Esawu omukisa.
21 (E)Olw’okukkiriza Yakobo bwe yali anaatera okufa, yasabira bazzukulu be abaana ba Yusufu omukisa kinoomu, n’akutama ku muggo gwe n’asinza Katonda.
22 (F)Yusufu bwe yali anaatera okufa, olw’okukkiriza yayogera ku kuva kw’abaana ba Isirayiri mu Misiri, era n’abalagira n’okutwala amagumba ge nga baddayo ewaabwe.
23 Olw’okukkiriza bakadde ba Musa bwe yazaalibwa baamukwekera emyezi esatu, kubanga baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kiragiro kya Falaawo.
24 (G)Olw’okukkiriza Musa ng’akuze, yagaana okuyitibwa omwana w’omumbejja wa Falaawo 25 (H)n’alondawo okubonaabonera awamu n’abantu ba Katonda n’agaana okuba mu ssanyu ery’ekibi eriggwaawo amangu. 26 (I)Musa yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kisingira wala obugagga bw’e Misiri, kubanga yali asuubira empeera. 27 (J)Olw’okukkiriza Musa yava mu Misiri nga tatya busungu bwa Falaawo, kubanga yanywera ng’alaba Katonda oyo atalabika na maaso buuso ag’omubiri. 28 (K)Olw’okukkiriza Musa yassaawo Embaga ejjuukirirwako Okuyitako, n’amansira omusaayi omuzikiriza aleme okutta abaana ababereberye Abayisirayiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.