Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Asafu.
50 (A)Oyo Owaamaanyi, Mukama Katonda,
akoowoola ensi
okuva enjuba gy’eva okutuuka gy’egwa.
2 (B)Katonda ayakaayakana
ng’ava mu Sayuuni n’obulungi bw’ekitiibwa kye ekituukiridde.
3 (C)Katonda waffe ajja, naye tajja kasirise,
omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera,
n’omuyaga ogw’amaanyi ne gumwetooloola.
4 (D)Akoowoola abali mu ggulu ne ku nsi,
azze okusalira abantu be omusango.
5 (E)Agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abantu bange abaayawulibwa,
abaakola nange endagaano nga bawaayo ssaddaaka.”
6 (F)Eggulu litegeeza obutuukirivu bwa Katonda
kubanga Katonda yennyini ye mulamuzi.
Obusungu bwa Mukama Ku Isirayiri
8 Mukama yaweereza obubaka obukwata ku Yakobo,[a]
ku birituuka ku Isirayiri.
9 (A)Era abantu bonna balibumanya,
Efulayimu n’abantu b’omu Samaliya
aboogera n’amalala
n’omutima omukakanyavu,
10 nti, “Amatoffaali gagudde wansi
naye tulizimbya amayinja amateme,
emisukamooli gitemeddwawo
naye tulizzaawo emivule.”
11 (B)Mukama Katonda kyaliva awa abalabe ba Lezini amaanyi bamulumbe;
alibakumaakuma bamulumbe.
12 (C)Abasuuli balisinziira mu buvanjuba, n’Abafirisuuti bave ebugwanjuba,
balyoke basaanyeewo Isirayiri n’akamwa akaasamye.
Newaakubadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo
era omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
13 (D)Kubanga abantu tebakyuse kudda
wadde okunoonya Mukama Katonda ow’Eggye eyabakuba.
14 (E)Bw’atyo Mukama Katonda kyaliva asala ku Isirayiri, omutwe n’omukira,
ettabi n’olukindu mu lunaku lumu.
15 (F)Omutwe be bakadde n’abantu ab’ekitiibwa,
n’omukira be bannabbi abayigiriza eby’obulimba.
16 (G)Kubanga abakulembera abantu bano bababuzaabuuza,
n’abo abakulemberwa babuzibwabuzibwa.
17 (H)Noolwekyo, Mukama tajja kusanyukira bavubuka,
wadde okukwatirwa ekisa abo abataliiko ba kitaabwe wadde bannamwandu;
kubanga buli omu mukozi wa bibi,
era buli kamwa konna kogera eby’obuwemu.
Olwa bino byonna, obusungu bwa Mukama tebunakyusibwa kubavaako,
era omukono gwe gukyagoloddwa.
Okulonda kwa Katonda
9 (A)Njogera amazima mu Kristo, sirimba, omwoyo gwange nga gunkakasa mu Mwoyo Mutukuvu, 2 nga ndimunakuwavu nnyo era nga nnumwa mu mutima. 3 (B)Nnali njagala nze mwene nkolimirwe Katonda era njawukanyizibwe ku Kristo olwa baganda bange, bwe tuli ab’omu mubiri, 4 (C)be Bayisirayiri, abantu ba Katonda abalonde. Katonda yabalaga ekitiibwa kye, n’akola nabo endagaano, n’abawa n’amateeka ge. Yeekaalu yagibawa, n’abawa n’ebyasuubizibwa. 5 (D)Balina bajjajjaabwe abamanyiddwa, Kristo be yasibukamu mu mubiri. Nsaba Katonda afuga byonna atenderezebwenga emirembe gyonna, Amiina.
6 (E)Naye si kuba nti Katonda yalemwa okutuukiriza kye yasuubiza. Si bonna ab’omu Isirayiri nti bantu ba Katonda ddala. 7 (F)Ate so si nti ly’ezzadde lya Ibulayimu bonna balyoke babeere abaana, naye ekisuubizo kyali ku Isaaka bwe kyagambibwa nti, “Mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza.” 8 (G)Kino kitegeeza nti abaana ab’omubiri si be baana ba Katonda, wabula abo ab’okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde lya Ibulayimu. 9 (H)Kubanga ekigambo ky’okusuubiza kye kino nti, “Mu kiseera nga kino Saala alizaala omwana owoobulenzi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.