Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 60

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Eddanga ery’Endagaano.” Zabbuli ya Dawudi. Yakuyigiriza. Dawudi bwe yalwana n’Abaalamu abaava e Nakalayimu n’abaava e Zoba, Yowaabu n’akomawo n’atta Abayedomu omutwalo gumu mu enkumi bbiri mu Kiwonvu eky’Omunnyo.

60 (A)Otusudde, Ayi Katonda, otumazeemu amaanyi,
    otunyiigidde. Tukwegayiridde otuzze gy’oli.
(B)Ensi ogiyuuguumizza n’ogyasaayasa;
    tukwegayirira enjatika ozizibe, kubanga ekankana.
(C)Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo;
    tuli nga b’owadde omwenge omungi ne gututagaza.
Naye abo abakutya obawanikidde ebbendera okuba akabonero akabakuŋŋaanya awamu,
    era akatiisa abalabe baabwe.

(D)Otulokole era otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
    abakwagala baleme kutuukibwako kabi konna.
(E)Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu, n’agamba nti,
    “Mu buwanguzi, ndisala mu Sekemu,
    era n’ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
(F)Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
    Efulayimu ye nkufiira ey’oku mutwe gwange;
    ate Yuda gwe muggo gwange ogw’okufuga.
(G)Mowaabu kye kinaabirwamu kyange,
    ate Edomu gye nkasuka engatto yange:
    ne ku Bafirisuuti ndeekaana mu buwanguzi.”

Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
    Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
10 (H)Si ggwe Ayi Katonda, atusudde,
    atakyatabaala na magye gaffe?
11 (I)Tudduukirire, nga tulwanyisa abalabe baffe,
    kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
12 (J)Bwe tunaabeeranga ne Katonda, tunaabanga bawanguzi,
    kubanga ye y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.

Koseya 13

Mukama Asunguwalira Isirayiri

13 (A)Efulayimu buli lwe yayogeranga, abantu baakankananga.
    Yagulumizibwanga mu Isirayiri.
    Naye bwe yayonoona olw’okusinza Baali, n’afa.
(B)Ne kaakano bongera okwonoona;
    ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse mu ffeeza yaabwe,
ng’okutegeera kwabwe bwe kuli,
    nga byonna mulimu gw’abaweesi.
Kigambibwa nti,
    “Bawaayo ssaddaaka ez’abantu,
    ne banywegera ebifaananyi eby’ennyana.”
(C)Kyebaliva babeera ng’olufu olw’oku makya,
    oba ng’omusulo oguvaawo amangu,
    ng’ebisusunku embuyaga ze bifumuula okubiggya mu gguuliro,
    oba ng’omukka ogufulumira mu ddirisa.

(D)“Nze Mukama Katonda wo
    eyakuggya mu nsi ya Misiri;
so tolimanya Katonda mulala wabula nze,
    so tewali mulokozi wabula nze.
Nakulabirira mu ddungu,
    mu nsi ey’ekyeya ekingi.
(E)Bwe nabaliisa, bakkuta;
    bwe bakkuta ne beegulumiza,
    bwe batyo ne banneerabira.
Kyendiva mbalumba ng’empologoma,
    era ndibateegera ku kkubo ng’engo.
(F)Ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo,
    ndibalumba ne mbataagulataagula.
Era okufaananako ng’empologoma bw’ekola ndibaliira eyo,
    ensolo ey’omu nsiko eribataagulataagula.
(G)Ndibazikiriza mmwe Isirayiri,
    kubanga munnwanyisa.
10 (H)Kabaka wammwe ali wa, abalokole?
    Abafuzi ab’omu bibuga byo byonna bali ludda wa,
be wayogerako nti,
    ‘Tuwe kabaka n’abafuzi?’
11 (I)Nabawa kabaka nga nsunguwadde,
    ate ne mmubaggyako nga ndiko ekiruyi.
12 (J)Omusango gwa Efulayimu guterekeddwa,
    era n’ekibi kye kimanyiddwa.
13 (K)Obubalagaze ng’obw’omukyala alumwa okuzaala bumujjira,
    naye omwana olw’obutaba n’amagezi,
ekiseera bwe kituuka,
    tavaayo mu lubuto.

14 (L)“Ndibanunulayo mu maanyi g’emagombe,
    era ndibalokola mu kufa.
Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa?
    Ggwe Magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa?

“Sirimusaasira,
15     (M)ne bw’anaakulaakulana mu baganda be.
Empewo ey’ebuvanjuba erijja okuva eri Mukama,
    ng’eva mu ddungu,
n’ensulo ze ne zikalira,
    n’oluzzi lwe ne lukalira.
Eggwanika lye lirinyagibwa,
    eby’omuwendo byonna ne bitwalibwa.
16 (N)Abantu b’e Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe
    kubanga bajeemedde Katonda waabwe.
Balittibwa n’ekitala, n’abaana baabwe abato balibetentebwa,
    n’abakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”

Abakkolosaayi 4:2-6

(A)Munyiikirirenga mu kusaba, nga temuddirira, wabula nga mwebazanga (B)nga mwenna awamu mutusabira Katonda atuggulirewo oluggi okubuulira Enjiri, n’okutegeeza ekyama kya Kristo, kye nasibirwa. Ndyoke njolesenga ekyama ekyo nga bwe kiŋŋwanidde okukyogerako. (C)Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo n’amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina. (D)Enjogera yammwe ebeerenga ya kisa, era ng’enoga omunnyo, mulyoke mumanye eky’okwanukulanga buli muntu yenna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.