Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 44

Ya mukulu wa bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

44 (A)Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe,
    bajjajjaffe baatubuulira,
ebyo bye wakola mu biro byabwe,
    mu nnaku ez’edda ezaayita.
(B)Nga bwe wagoba amawanga mu nsi
    n’ogiwa bajjajjaffe,
wasaanyaawo amawanga
    n’okulaakulanya bajjajjaffe.
(C)Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi,
    n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola;
wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo
    awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.

(D)Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange;
    awa Yakobo obuwanguzi.
(E)Ku lulwo tunaawangulanga abalabe baffe;
    ku lw’erinnya lyo tunaalinnyiriranga abalabe baffe.
(F)Ddala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga,
    n’ekitala kyange si kye kimpa obuwanguzi.
(G)Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe,
    n’oswaza abo abatuyigganya.
(H)Twenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna.
    Era tunaatenderezanga erinnya lyo emirembe gyonna.

(I)Naye kaakano otusudde ne tuswala;
    era tokyatabaala na magye gaffe.
10 (J)Watuzza emabega okuva mu bifo mwe twali ng’abalabe baffe balaba,
    abatuyigganya ne batunyaga.
11 (K)Watuwaayo okuliibwa ng’endiga;
    n’otusaasaanya mu mawanga.
12 (L)Watunda abantu bo omuwendo mutono nnyo,
    n’otobaako ky’oganyulwa.

13 (M)Watufuula ekivume eri baliraanwa baffe,
    ekinyoomebwa era ekisekererwa abo abatwetoolodde.
14 (N)Otufudde ekinyoomebwa mu mawanga gonna;
    era abantu banyeenya emitwe gyabwe.
15 Nswazibwa obudde okuziba,
    amaaso gange ne gajjula ensonyi,
16 (O)olw’abo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu,
    olw’omulabe amaliridde okuwoolera eggwanga.

17 (P)Ebyo byonna bitutuseeko,
    newaakubadde nga tetukwerabidde,
    wadde obutagondera ndagaano yo.
18 (Q)Omutima gwaffe tegukuvuddeeko,
    so tetugaanyi kutambulira mu kkubo lyo.
19 (R)Naye ggwe otubonerezza n’otulekera emisege,
    n’otuleka mu kizikiza ekikutte.

20 (S)Ddala singa twerabira erinnya lya Katonda waffe,
    ne tusinza katonda omulala,
21 (T)ekyo Katonda waffe teyandikizudde?
    Kubanga ye amanyi n’ebikisibwa mu mutima.
22 (U)Katonda waffe, tetukuvuddeeko, kubanga ku lulwo tuttibwa obudde okuziba,
    era tuli ng’endiga ez’okusalibwa.

23 (V)Golokoka Ayi Mukama, lwaki weebase?
    Zuukuka! Totusuula Ayi Mukama!
24 (W)Lwaki otwekwese?
    Lwaki tofaayo ku kulumwa kwaffe n’okujoogebwa?

25 (X)Ddala ddala tusuuliddwa mu nfuufu;
    tuli ku ttaka.
26 (Y)Golokoka otuyambe;
    tulokole olw’okwagala kwo okutaggwaawo.

Koseya 6:11-7:16

11 (A)“Naawe Yuda,
    amakungula gatuuse.

“Bwe ndikomyawo emikisa gy’abantu bange,

    (B)na buli lwe nawonyanga Isirayiri,
ebibi bya Efulayimu ne birabika,
    n’ebikolwa eby’ekyejo ebya Samaliya nabyo ne birabika.
Balimba,
    bamenya ne bayingira mu mayumba,
    era batemu abateega abantu mu makubo.
(C)Naye tebalowooza
    nga nzijukira ebikolwa byabwe byonna ebibi.
Ebibi byabwe bibazingizza,
    era mbiraba.

(D)“Kabaka asanyukira obutali butuukirivu bwabwe,
    n’abakungu basanyukira obulimba bwabwe.
(E)Bonna benzi;
    bali ng’ekyoto ekyaka omuliro,
omufumbi w’emigaati gw’ateetaaga kuseesaamu
    okutuusa obutta bw’agoye, lwabuusa ku kyoto ne buzimbulukuka.
(F)Ku lunaku kabaka lw’agabula embaga,
    abakungu ettamiiro lya wayini ne libalwaza,
    kabaka ne yeegatta n’abanyoomi.
(G)Emitima gyabwe gyokerera nga oveni
    mu busungu bwabwe;
Obusungu bwabwe bubuguumirira ekiro kyonna;
    mu makya ne bwaka ng’omuliro.
(H)Bonna bookya nga oveni,
    era bazikiriza abakulembeze baabwe.
Bakabaka baabwe bonna bagudde;
    tewali n’omu ku bo ankowoola.

(I)“Efulayimu yeegattika ne bannaggwanga;
    Efulayimu mugaati oguyiddeko oluuyi olumu.
(J)Bannaggwanga banyuunyunta amaanyi ge
    naye takimanyi.
Mu nviiri ze mulimu envi,
    naye takiraba.
10 (K)Okwekulumbaza kwa Isirayiri kwe kubalumiriza,
    naye newaakubadde ng’ebyo byonna bimutuuseeko
tadda eri Mukama Katonda we
    newaakubadde okumunoonya.

11 (L)“Efulayimu ali ng’ejjiba,
    alimbibwalimbibwa mangu era talina magezi;
bakaabira Misiri,
    era bagenda eri Obwasuli.
12 (M)Bwe baliba balaga eyo, ndibasuulako akatimba,
    era ndibassa wansi ng’ennyonyi ez’omu bbanga.
Bwe ndiwulira nga bakuŋŋaana, ndibaziyiza.
13 (N)Zibasanze,
    kubanga bawabye ne banvaako.
Baakuzikirira
    kubanga banjemedde.
Njagala nnyo okubanunula,
    naye banjogerako eby’obulimba.
14 (O)Tebankaabira n’emitima gyabwe,
    wabula ebiwoobe babikubira ku bitanda byabwe.
Bakuŋŋaana awamu olw’emmere ey’empeke ne wayini,
    naye ne banjeemera.
15 (P)Nabayigiriza ne mbawa n’amaanyi,
    naye bansalira enkwe.
16 (Q)Tebakyukira oyo Ali Waggulu Ennyo;
    bafuuse ng’omutego gw’akasaale ogwayonooneka;
abakulembeze baabwe balifa kitala,
    olw’ebigambo byabwe ebya kalebule.
Era kyebaliva babasekerera
    mu nsi y’e Misiri.”

Matayo 5:43-48

Mwagale Abalabe Bammwe

43 (A)“Mwawulira ab’edda bwe baagambibwa nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo, naye okyawenga mulabe wo.’ 44 (B)Naye nze mbagamba nti, Mwagalenga abalabe bammwe! Musabirenga ababayigganya! 45 (C)Bwe mulikola bwe mutyo muliba baana ba Kitammwe ali mu ggulu. Kubanga omusana gwe agwakiza abalungi n’ababi, era n’enkuba agitonnyeza ab’amazima n’abatali ba mazima. 46 (D)Bwe mwagala ababaagala bokka, mufunamu ki? N’abawooza bwe bakola bwe batyo. 47 Era bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, munaaba mulina njawulo ki n’abalala? Kubanga ne bannamawanga bwe bakola bwe batyo. 48 (E)Naye mmwe kibagwanira okubeeranga abatuukirivu nga Kitammwe ali mu ggulu bw’ali Omutuukirivu.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.