Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 42

EKITABO II

Zabbuli 42–72

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

42 (A)Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,
    n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
(B)Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.
    Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
(C)Nkaabirira Mukama
    emisana n’ekiro.
Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,
    abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
(D)Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange
    nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,
ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,
    nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,
nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka
    n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.

(E)Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Essuubi lyo liteeke mu Katonda,
    kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange;
    ye mubeezi wange.

Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise,
    yeeraliikiridde;
naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani
    ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni[a] ne ku Lusozi Mizali.
(F)Obuziba bukoowoola obuziba,
    olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro
amayengo n’amasingisira go
    bimpiseeko.

(G)Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro
    ne muyimbira oluyimba lwe;
    y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.

(H)Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti,
    “Lwaki onneerabidde?
Lwaki ŋŋenda nkungubaga
    olw’okujoogebwa abalabe bange?”
10 Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange
    bancocca,
nga bwe bagamba buli kiseera nti,
    “Katonda wo ali ludda wa?”

11 (I)Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Weesigenga Katonda,
    kubanga nnaamutenderezanga,
    Omulokozi wange era ye Katonda wange.

Zabbuli 43

43 (A)Ayi Katonda, onnejjeereze
    omponye eggwanga eritatya Katonda
    ondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi.
(B)Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi.
    Lwaki ondese?
Lwaki ŋŋenda nkaaba
    nga nnyigirizibwa omulabe?
(C)Kale tuma omusana gwo n’amazima
    binnuŋŋamye;
bindeete ku lusozi lwo olutukuvu,
    mu kifo mw’obeera.
(D)Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda,
    eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika.
Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga,
    Ayi Katonda, Katonda wange.

(E)Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse munda yange?
Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga,
    Omulokozi wange era Katonda wange.

Engero 11:3-13

(A)Obwesimbu bw’abatuukirivu bubaluŋŋamya,
    naye enkwe z’abatali beesigwa zibazikirizisa.

(B)Obugagga tebugasa ku lunaku olw’okusalirwako omusango,
    naye obutuukirivu buwonya okufa.

(C)Obutuukirivu bw’abalongoofu bubatambuliza mu kkubo eggolokofu
    naye abakozi b’ebibi bagwa olw’ebikolwa byabwe ebibi.

Obutuukirivu bw’abagolokofu bubawonya,
    naye abatali beesigwa bagwa mu mutego olw’okwegomba ebibi.

(D)Omukozi w’ebibi bw’afa, essuubi lye libula,
    ne byonna bye yasuubira mu maanyi bikoma.

(E)Omutuukirivu aggyibwa mu mitawaana,
    naye jjijjira omukozi w’ebibi.

Akamwa k’oyo atatya Katonda, kazikiriza muliraanwa,
    naye olw’okumanya, abatuukirivu bawona.

10 (F)Abatuukirivu bwe bakulaakulana ekibuga kijaguza;
    abakozi b’ebibi bwe bazikirira wawulirwawo amaloboozi ag’essanyu.

11 (G)Omukisa gw’abatuukirivu gukulaakulanya ekibuga:
    naye olw’akamwa k’abakozi b’ebibi, ekibuga kizikirizibwa.

Abeesigwa n’Abatambuza Eŋŋambo

12 (H)Omuntu atalina magezi anyooma muliraanwa we,
    naye omuntu ategeera akuuma olulimi lwe.

13 (I)Aseetula olugambo atta obwesigwa,
    naye omuntu omwesigwa akuuma ekyama.

Matayo 9:27-34

Yesu Awonya Bamuzibe ne Bakiggala

27 (A)Awo Yesu bwe yava eyo, abazibe b’amaaso babiri ne bamugoberera nga bwe baleekaana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, otusaasire!”

28 Bwe yatuuka mu nju, bamuzibe ne bajja w’ali. Yesu n’ababuuza nti, “Mukkiriza nga nnyinza okubazibula amaaso?” Ne bamuddamu nti, “Weewaawo, Mukama waffe.”

29 (B)Awo n’akoma ku maaso gaabwe n’abagamba nti, “Kale, olw’okukkiriza kwammwe, kye musabye mukiweereddwa.” 30 (C)Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n’abakuutira nnyo baleme kubuulirako muntu yenna ng’abagamba nti, “Mulabe nga tewaba n’omu ategeera bibaddewo.” 31 (D)Naye bwe baava awo, ne bagenda nga basaasaanya ebigambo ebyo, nga babuulira buli muntu gwe baasisinkananga mu kitundu ekyo.

32 (E)Awo Yesu ne be yali nabo, bwe baali bafuluma ne bamuleetera kiggala eyali tayogera kubanga yaliko dayimooni. 33 (F)Yesu n’amugobako dayimooni, era amangwago abadde kiggala n’ayogera. Ekibiina ky’abantu ne beewuunya nnyo nga bagamba nti, “Kino tekibangawo mu Isirayiri.”

34 (G)Naye Abafalisaayo ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni lwa kubanga ye mukulu wa baddayimooni!”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.