Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
27 (A)Awo abatume bwe baaleetebwa, ne bayimirira mu maaso g’Olukiiko Olukulu, Kabona Asinga Obukulu n’ababuuza 28 (B)ng’agamba nti, “Tetwabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo; naye laba mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, era mumaliridde okutuleetako omusaayi gw’omuntu oyo.”
29 (C)Naye Peetero n’abatume ne baddamu nti, “Kitugwanira okugondera Katonda okusinga okugondera abantu. 30 (D)Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu, gwe mwatta nga mumuwanise ku muti. 31 (E)Oyo Katonda n’amugulumiza okubeera Omulangira era Omulokozi, abeerenga ku mukono gwe ogwa ddyo, okuwa Isirayiri omukisa ogw’okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi. 32 (F)Ffe ne Mwoyo Mutukuvu Katonda gw’awa abo abamugondera tuli bajulira ba bigambo ebyo.”
14 (A)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
afuuse obulokozi bwange.
15 (B)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
“Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (C)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (D)Mukama ambonerezza nnyo,
naye tandese kufa.
19 (E)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
nnyingire, neebaze Mukama.
20 (F)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (G)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
n’ofuuka obulokozi bwange.
22 (H)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
tusanyuke tulujagulizeeko.
25 Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,
Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.
26 (I)Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.
Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
27 (J)Mukama ye Katonda,
y’atwakiza omusana.
Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe
kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.
28 (K)Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga;
ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.
29 Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
150 (A)Mutendereze Mukama!
Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu;
mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi.
2 (B)Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge;
mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde.
3 (C)Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere,
mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere.
4 (D)Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina;
mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere!
5 (E)Mumutendereze nga mukuba ebitaasa;
mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo!
6 (F)Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama!
Mutendereze Mukama.
Okulamusa n’Okutendereza Mukama
4 (A)Nze Yokaana mpandiikira Ekkanisa omusanvu eziri mu Asiya.
Mbagaliza ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda oyo aliwo, era eyaliwo era alibaawo; n’ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g’entebe ye ey’obwakabaka,[a] 5 (B)era n’okuva eri Yesu Kristo omujulirwa omwesigwa. Oyo ye yasooka okuzuukira mu bafu, era y’afuga bakabaka ab’omu nsi; oyo yatwagala, era ye yatuggya mu bibi byaffe n’omusaayi gwe, 6 (C)n’atufuula obwakabaka bw’obwakabona bwa Katonda, Kitaawe. Ekitiibwa n’obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n’emirembe. Amiina.
7 (D)Laba, ajja n’ebire,
na buli liiso lirimulaba,
n’abaamufumita balimulaba,
era n’amawanga gonna ku nsi galimukungubagira.
Weewaawo. Amiina!
8 (E)“Nze Alufa ne Omega,”[b] bw’ayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”
Yesu Alabikira Abayigirizwa be
19 (A)Akawungeezi ako abayigirizwa baali bakuŋŋaanidde mu kisenge ng’enzigi nsibe olw’okutya Abayudaaya, Yesu n’ajja n’ayimirira wakati mu bo. N’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.” 20 (B)Bwe yamala okwogera ebyo n’abalaga ebibatu bye n’embiriizi ze. Abayigirizwa bwe baalaba Mukama ne basanyuka nnyo.
21 (C)N’addamu nti, “Emirembe gibe mu mmwe. Nga Kitange bwe yantuma, nange bwe mbatuma mmwe.” 22 (D)Bwe yamala okwogera ebyo n’abassiza omukka, n’abagamba nti, “Mufune Mwoyo Mutukuvu. 23 (E)Buli muntu gwe munaasonyiwanga ebibi bye anaabanga asonyiyiddwa. Abo be munaagaananga okusonyiwa, banaabanga tebasonyiyiddwa.”
Yesu Alabikira Tomasi
24 (F)Naye Tomasi, omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri, ayitibwa Didumo, teyali na banne Yesu bwe yajja. 25 (G)Bayigirizwa banne ne bamugamba nti, “Tulabye Mukama waffe.”
Ye n’abagamba nti, “Okuggyako nga ndabye enkovu ez’emisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olunwe lwange mu nkovu ezo era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, sigenda kukkiriza.”
26 (H)Bwe waayitawo ennaku munaana, abayigirizwa ba Yesu, era bali mu nnyumba, Tomasi yali nabo. Yesu n’ajja, enzigi nga nsibe, n’ayimirira wakati mu bo n’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe,” 27 (I)Awo n’agamba Tomasi nti, “Kale teeka engalo zo wano, laba ebibatu byange. Teeka ekibatu kyo mu mbiriizi zange. Lekeraawo okuba atakkiriza, naye kkiriza.”
28 Tomasi n’amuddamu nti, “Ggwe Mukama wange era Katonda wange.”
29 (J)Yesu n’amugamba nti, “Okkirizza kubanga ondabye. Balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye.”
30 (K)Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ng’abayigirizwa be balaba, ebitaawandiikibwa mu kitabo kino. 31 (L)Naye bino byawandiikibwa mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo Omwana wa Katonda era olw’okumukkiriza mulyoke mube n’obulamu mu linnya lye.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.