Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 150

150 (A)Mutendereze Mukama!

Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu;
    mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi.
(B)Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge;
    mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde.
(C)Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere,
    mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere.
(D)Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina;
    mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere!
(E)Mumutendereze nga mukuba ebitaasa;
    mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo!

(F)Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama!

Mutendereze Mukama.

1 Samwiri 17:32-51

32 (A)Awo Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Waleme kubaawo muntu n’omu aggwaamu mwoyo olw’Omufirisuuti oyo. Omuweereza wo anaagenda n’amulwanyisa.” 33 (B)Sawulo n’amuddamu nti, “Toyinza kugenda kulwana na Mufirisuuti oyo; kubanga oli mulenzi bulenzi, songa ye abadde mulwanyi okuva mu buvubuka bwe.”

34 (C)Naye Dawudi n’addamu Sawulo nti, “Omuweereza wo amaze ebbanga ng’alunda endiga za kitaawe, era bwe waabangawo empologoma oba eddubu eyajjanga n’etwala omwana gw’endiga okuva mu kisibo, 35 nagigobereranga, ne ngikuba, ne mponya omwana gw’endiga nga nguggya mu kamwa k’ensolo eyo. Bwe yankyukiranga n’eyagala okunzita, nga ngikwata oluba ne ngikuba ne ngitta. 36 Omuweereza wo yattako ku mpologoma n’eddubu. Omufirisuuti ono atali mukomole anaaba ng’emu ku zo, kubanga asoomozezza eggye lya Katonda omulamu.” 37 (D)Dawudi n’ayogera nti, “Mukama eyamponya enjala z’empologoma n’enjala z’eddubu, alimponya ne mu mukono gw’Omufirisuuti oyo.”

Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti, “Genda, era Mukama abeere naawe.” 38 Sawulo n’ayambaza Dawudi ebyambalo bye eby’olutalo; n’amuwa ekizibaawo eky’ekikomo, n’amuteeka n’enkuufiira ey’ekikomo ku mutwe. 39 Dawudi ne yeesiba ekitala kya Sawulo ku kyambalo, n’agezaako okutambula, naye n’alemererwa, kubanga yali tabimanyidde. Awo n’agamba Sawulo nti, “Siisobole kugenda na bino kubanga sibimanyidde.” N’abyeyambulamu. 40 N’akwata omuggo mu mukono gwe, n’alonda n’amayinja amaweweevu ataano mu kagga, n’agateeka mu nsawo ye ey’omusumba. N’addira n’envuumuulo ye mu mukono gwe n’asemberera Omufirisuuti.

41 Awo Omufirisuuti n’omusajja eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nga yamukulembeddemu, ne basemberera Dawudi. 42 (E)Omufirisuuti n’atunuulira Dawudi n’amunyooma kubanga yali mulenzi bulenzi, ng’alabika bulungi ate n’amaaso ge nga malungi. 43 (F)N’agamba Dawudi nti, “Ndi mbwa olyoke ojje gye ndi n’emiggo?” Omufirisuuti n’akolimira Dawudi nga bwakoowoola balubaale be. 44 (G)Omufirisuuti n’agamba Dawudi nti, “Sembera wano, omubiri gwo nnaagugabira ennyonyi ez’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko.”

45 (H)Naye Dawudi n’agamba Omufirisuuti nti, “Ojja gye ndi n’ekitala n’effumu, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Mukama ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isirayiri gw’osoomooza. 46 (I)Olwa leero Mukama anaakuwaayo mu mukono gwange, ne nkukuba era ne nkusalako omutwe. Olwa leero nnaagabira emirambo egy’eggye ery’Abafirisuuti eri ebinyonyi eby’omu bbanga n’eri ensolo enkambwe ez’ensi, ensi yonna eryoke etegeere nga waliwo Katonda mu Isirayiri. 47 (J)Abo bonna abakuŋŋaanye wano banaategeera nga Mukama talokola na kitala wadde effumu, kubanga olutalo, lwa Mukama era mwenna agenda kubawaayo mu mukono gwaffe.”

48 Awo Omufirisuuti bwe yali ng’asembera okulumba Dawudi, Dawudi n’adduka mbiro okumusisinkana. 49 Dawudi n’aggya ejjinja mu nsawo ye n’alivuumuula ne likwasa Omufirisuuti mu kyenyi; n’agwa nga yeevuunise, n’ejjinja nga liyingidde mu kyenyi kye. 50 (K)Bw’atyo Dawudi n’awangula Omufirisuuti n’envuumuulo n’ejjinja, n’amukuba n’amutta nga Dawudi talina kitala ky’akutte.

51 (L)Dawudi bwe yamala okutta Omufirisuuti, n’adduka n’amuyimirirako, n’asowola ekitala ky’Omufiisuuti okuva mu kiraato kyakyo, n’amutemako omutwe nakyo.

Awo Abafirisuuti bwe baalaba omuzira waabwe ng’afudde ne badduka.

Lukka 24:36-40

Yesu alabikira Abayigirizwa be

36 (A)Awo bwe baali bakyayogera ebyo Yesu n’ayimirira mu makkati gaabwe n’abalamusa nti, “Emirembe gibeere nammwe!” 37 (B)Naye bonna ne bakankana nga batidde nnyo, nga balowooza nti balaba muzimu! 38 Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki mutidde bwe mutyo? Lwaki mubuusabuusa mu mitima gyammwe? 39 (C)Mulaba ebibatu byange. Mutunule ne ku bigere byange! Kaakano mutegeere nga ye Nze kennyini. Munkwateko mukakasize ddala nti ssiri muzimu, kubanga omuzimu tegubeera na mubiri na magumba nga Nze bye nnina.”

40 Bwe yali ng’ayogera n’abalaga ebibatu bye n’ebigere bye.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.