Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 118:1-2

118 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale Isirayiri ayogere nti,
    “Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”

Zabbuli 118:14-24

14 (A)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
    afuuse obulokozi bwange.

15 (B)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
    nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
    “Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
    omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (C)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
    ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (D)Mukama ambonerezza nnyo,
    naye tandese kufa.
19 (E)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
    nnyingire, neebaze Mukama.
20 (F)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
    abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (G)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
    n’ofuuka obulokozi bwange.

22 (H)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
    lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
    era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
    tusanyuke tulujagulizeeko.

Balam 4:17-23

Okuttibwa Kwa Sisera

17 Naye Sisera n’addukira eri eweema ya Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi: Kubanga waaliwo enkolagana wakati wa kabaka w’e Kazoli, Yabini n’ab’omu maka g’Omukeeni Keberi. 18 Yayeeri n’afuluma okusisinkana Sisera; n’amugamba nti, “Mukama wange yingira mu weema yange, totya.” Sisera n’ayingira mu weema. Yayeeri n’amubikkako omunagiro. 19 (A)Namwegayirira nti, “Mpa ku tuzzi nnyweko kubanga ennyonta enzita.” N’asumulula eddiba omufukibwa amata n’amunywesa oluvannyuma n’amubikkako. 20 Sisera n’agamba Yayeeri nti, “Yimirira mu mulyango gwa weema eno, omuntu yenna bw’ajja n’akubuuza obanga muno mulimu omusajja yenna, omuddamu nti, ‘Temuli.’ ”

21 (B)Awo Sisera bwe yali nga ali mu tulo tungi, Yayeeri mukazi wa Keberi n’addira enkondo ya weema n’ennyondo n’amusooberera n’amukomerera enkondo mu kyenyi, n’eyitamu n’ekwata n’ettaka n’afa.

22 Awo Baraki bwe yali nga anoonya Sisera, Yayeeri n’afuluma okumusisinkana, n’amugamba nti, “Jjangu nkulage omusajja gw’onoonya. Baraki n’ayingira mu weema n’alaba omulambo ggwa Sisera nga gukubiddwamu enkondo mu kyenyi.”

23 (C)Ku lunaku olwo Katonda n’awa Abayisirayiri obuwanguzi ku Yabini kabaka wa Kanani.

Balam 5:24-31

24 (A)“Nga wa mukisa Yayeeri okusinga abakazi bonna!
    Nga wa mukisa Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi,
    okusinga abakazi bonna ababeera mu weema!
25 (B)Bwe yasaba amazzi, yamuwa mata,
    era n’amuleetera n’omuzigo mu bbawulo ey’ekikungu.
26 (C)Yakwata enkondo ya weema mu mukono gwe ogwa kkono,
    n’ennyondo mu gwa ddyo,
n’akomerera Sisera enkondo
    mu kyenyi n’eyita namu.
27 Amaanyi gaamuggwa n’agwa;
    yagwa ku bigere bya Yayeeri
n’alambaala
    we yagwa we yafiira.

28 (D)“Nnyina wa Sisera yalingiriza mu ddirisa;
    yayisa amaaso mu ddirisa, n’aleekaanira waggulu nti
‘Kiki ekirwisizza eggaali lye okujja?
    Okuguluba kw’eggaali lye nga sikuwulira?’
29 Abazaana be abagezi baba tebanamuddamu
    ne yeddamu yekka.
30 (E)‘Tebazudde omunyago era tebali mu kugugabana,
    omuwala omu oba babiri buli musajja?
    Sisera tufunye omunyago ogw’engoye enduke ez’amabala?
    Eminagiro ebiri emiruke, egy’amabala tegiibe gyange?’

31 (F)“Ayi Mukama Katonda abalabe bo bazikirirenga bwe batyo nga Sisera.
    Naye abo bonna abakwagala bamasemasenga ng’enjuba
    ey’akavaayo mu maanyi gaayo.”

Awo ne wayitawo emyaka ana nga Abayisirayiri bali mu mirembe.

Okubikkulirwa 12:1-12

Omukazi n’Ogusota

12 Ne wabaawo ekyewuunyo ekinene mu ggulu. Ne ndaba omukazi ng’ayambadde enjuba n’omwezi nga guli wansi wa bigere bye, ng’alina engule eyaliko emmunyeenye kkumi na bbiri ku mutwe gwe. (A)Yali lubuto era ng’akaaba ng’alumwa okuzaala. (B)Awo ne ndaba ekyewuunyo ekirala mu ggulu, era laba, ogusota ogumyufu nga gulina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga ku mitwe egyo kuliko engule musanvu. (C)Ku mukira gw’ogusota kwali kuwalulirwako ekitundu ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye zonna eziri waggulu mu ggulu, ne guzisuula wansi ku nsi. Ne guyimirira mu maaso g’omukazi oyo, anaatera okuzaala nga gulindirira okulya omwana we nga yaakazaalibwa. (D)Omukazi n’azaala omwana owoobulenzi eyali agenda okufuga amawanga gonna n’omuggo ogw’ekyuma, amangwago n’akwakulibwa n’atwalibwa eri Katonda ku ntebe ye ey’obwakabaka. (E)Omukazi n’addukira mu ddungu eyali ekifo Katonda gye yategeka okumulabirira okumala ennaku Lukumi mu bibiri mu nkaaga.

(F)Ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikayiri ne bamalayika ab’omu kibinja kye ne balwanyisa ogusota n’eggye lya bamalayika baagwo. Ogusota ne guwangulwa era ne gusindiikirizibwa okuva mu ggulu. (G)Ogusota ogwo ogw’amaanyi, era gwe gusota ogw’edda oguyitibwa Setaani Omulimba, alimba ensi yonna, ne gusuulibwa wansi ku nsi n’eggye lyagwo lyonna.

10 (H)Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka mu ggulu nga ligamba nti,

“Kaakano obulokozi bwa Katonda, n’amaanyi ge
    n’obwakabaka bwa Katonda waffe
    awamu n’obuyinza bwa Kristo we bizze.
Kubanga omuloopi eyaloopanga baganda baffe,
    eri Katonda waffe emisana n’ekiro,
    agobeddwa mu ggulu.
11 (I)Ne bamuwangula
    olw’omusaayi gw’Omwana gw’Endiga,
    n’olw’ekigambo eky’obujulirwa bwabwe,
ne bawaayo obulamu bwabwe
    nga tebatya na kufa.
12 (J)Noolwekyo ssanyuka ggwe eggulu,
    nammwe abalituulamu musanyuke.
Naye mmwe ensi n’ennyanja zibasanze,
    kubanga Setaani asse gye muli
ng’alina obusungu bungi,
    ng’amanyi nti asigazza akaseera katono.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.