Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yobu 14:1-14

14 (A)“Omuntu azaalibwa omukazi,
    abeera ku nsi akaseera katono era abeera mu kutegana.
(B)Amulisa ng’ekimuli n’awotoka;
    abulawo mangu ng’ekisiikirize, tabeerera.
(C)Otunuulira omuntu afaanana bw’atyo?
    Olimuleeta gy’oli asalirwe omusango?
(D)Ani ayinza okuggya ekirongoofu mu kitali kirongoofu?
    Tewali n’omu!
(E)Ennaku z’omuntu zaagererwa,
    wagera obungi bw’emyezi gye
    era n’oteekawo ekkomo ly’atasobola kusukka.
(F)Kale tomufaako muleke yekka,
    okutuusa lw’alimala okutuukiriza emirimu gye ng’omupakasi.

“Wakiri waliwo essuubi ng’omuti guloka:
    Bwe gutemebwa, guloka nate,
    era ekikolo kyagwo ekiggya tekifa.
Emirandira gyagwo gyandikaddiyidde mu ttaka
    era n’ekikonge ne kifiira mu ttaka,
naye olw’emirandira okutambula ne ginoonya amazzi kimulisa
    ne kireeta amatabi ng’ekisimbe.
10 (G)Naye omuntu afa era n’agalamizibwa,
    assa ogw’enkomerero n’akoma.
11 (H)Ng’amazzi bwe gaggwa mu nnyanja
    oba omugga bwe gukalira ne guggwaawo,
12 (I)bw’atyo omuntu bw’agalamira,
    era n’atasituka okutuusa eggulu bwe linaggwaawo,
    abantu tebajja kuzuukuka oba kuggyibwa mu tulo twabwe.

13 (J)“Singa kale onkweka emagombe
    era n’onziika okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo!
Singa ongerera ekiseera
    n’onzijukira!
14 Omuntu bw’afa, addamu n’abeera omulamu?
    Ennaku zange zonna ez’okuweereza
    nnaalindanga okuwona kwange kujje.

Okukungubaga 3:1-9

(A)Nze muntu eyakangavvulwa
    n’omuggo ogw’obusungu bwe.
(B)Angobye mu maaso ge n’antambuliza
    mu kizikiza, awatali kitangaala;
(C)ddala, omukono gwe gunnwanyisizza
    emirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna.

(D)Akaddiyizza omubiri gwange n’eddiba lyange
    era amenye n’amagumba gange.
(E)Antaayizza n’anzijuza
    obulumi n’okubonaabona.
(F)Antadde mu kizikiza
    ng’abafu abaafa edda.

(G)Ankomedde n’okuyinza ne siyinza kudduka,
    ansibye enjegere ezizitowa.
(H)Ne bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe,
    okusaba kwange akuggalira bweru.
(I)Anteeredde amayinja mu kkubo lyange
    era akyamizza amakubo gange.

Okukungubaga 3:19-24

19 Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange,
    n’obulumi n’obubalagaze.
20 (A)Mbijjukira bulungi
    era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.
21 Ebyo byonna mbijjukira,
    kyenvudde mbeera n’essuubi.

22 (B)Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo,
    tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
23 (C)Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya;
    n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.
24 (D)Njogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange,
    kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.”

Zabbuli 31:1-4

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

31 Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange,
    leka nneme kuswazibwa.
    Ndokola mu butuukirivu bwo.
(A)Ontegere okutu kwo
    oyanguwe okunziruukirira.
Beera ekiddukiro kyange eky’olwazi
    era ekigo eky’amaanyi eky’okumponya.
(B)Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange;
    olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.
(C)Omponye mu mutego gwe banteze;
    kubanga ggwe kiddukiro kyange.

Zabbuli 31:15-16

15 (A)Entuuko zange ziri mu mikono gyo;
    ondokole mu mikono gy’abalabe bange
    n’abangigganya.
16 (B)Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo;
    ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo.

1 Peetero 4:1-8

Obulamu Obuggya

Kale nga Kristo bwe yabonyaabonyezebwa mu mubiri, nammwe mumalirire okubonaabona nga ye. Kubanga abonaabona mu mubiri aba takyafugibwa kibi. (A)Okuva kaakano nga muli mu nsi muno, mugoberere ebyo Katonda by’ayagala, so si kugoberera kwegomba kwammwe okw’omubiri. (B)Mu biseera ebyayita mwemaliranga mu kukola ebyo Abaamawanga bye beegombanga. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obw’omwenge, ne mu kusinza bakatonda abalala. (C)Kaakano abo abatakkiriza Katonda beewuunya era babavuma bwe balaba nga temukyabeegattako mu ebyo bye bakola. (D)Abantu abo baliwoza mu maaso ga Katonda. Kubanga yeeteeseteese okulamula abalamu n’abafu ng’asinziira ku ebyo bye baakola. (E)Enjiri kyeyava ebuulirwa, n’abafu balyoke basalirwe omusango ng’abantu abalala bonna, kyokka babe balamu mu mwoyo nga Katonda bw’ali.

Okukozesa Obulungi Ebirabo Katonda by’atuwa

(F)Enkomerero ya byonna eneetera okutuuka. Noolwekyo mwetegeke era mwegenderezenga, era bulijjo musabenga Katonda. (G)N’ekisingira ddala obukulu mwagalanenga ddala mu mazima, kubanga okwagalana kubikka ebibi bingi.

Matayo 27:57-66

Okuziika Yesu

57 Obudde bwe bwawungeera, ne wajja omusajja omugagga ng’ava Alimasaya, erinnya lye Yusufu eyali omu ku bagoberezi ba Yesu. 58 N’agenda eri Piraato n’asabayo omulambo gwa Yesu. Piraato n’alagira bagumuwe. 59 Yusufu n’atwala omulambo n’aguzinga mu lugoye olulungi olwa linena, 60 (A)n’agugalamiza mu ntaana ye empya gye yatema mu lwazi, n’addira ejjinja eddene n’aliyiringisiza mu mulyango gw’entaana n’aggalawo, ne yeetambulira. 61 Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu munne, bombi baali batudde awo kumpi n’entaana.

Abakuumi ku Ntaana

62 Enkeera, ng’olunaku olusooka mu nnaku z’Embaga y’Okuyitako luweddeko, bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne bagenda eri Piraato, 63 (B)ne bamugamba nti, “Oweekitiibwa, omulimba oli tujjukira ng’akyali mulamu yagamba nti, ‘Nga wayiseewo ennaku ssatu ndizuukira.’ 64 Noolwekyo tukusaba olagire entaana ye ekuumibwe, okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kumubbamu, ne balyoka bategeeza abantu nti azuukidde! Singa ekyo kiba bwe kityo, ekyo kye kijja okuba ekibi ennyo okusinga n’ekyasooka.”

65 (C)Piraato n’abaddamu nti, “Mukozese abaserikale bammwe be mulina mugende mugikuume.” 66 (D)Bwe batyo ne bateeka akabonero ak’envumbo ku jjinja eryaggala omulyango gw’entaana, ne bateekawo n’abakuumi.

Yokaana 19:38-42

Okuziikibwa kwa Yesu

38 Ebyo bwe byaggwa, Yusufu ow’e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu mu kyama olw’okutya Abayudaaya, n’asaba Piraato olukusa okuwanulayo omulambo gwa Yesu, Piraato n’amukkiriza. Yusufu n’aguwanulayo n’agutwala. 39 (A)Nikodemo, eddako eyagenda eri Yesu ekiro, naye n’ajja ng’aleese kilo ng’amakumi ataano ez’ebyakoloosa ebitabule n’envumbo. 40 (B)Ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye eza linena wamu n’ebyakaloosa ng’empisa y’Abayudaaya ey’okuziika bwe yali. 41 Mu kifo Yesu we yakomererwa waaliwo ennimiro omwali entaana empya ey’empuku, eyali teziikibwangamu muntu. 42 (C)Nga bwe lwali olunaku lw’Abayudaaya olw’okweteekerateekera Ssabbiiti ate ng’entaana eno eri kumpi, Yesu ne bamussa omwo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.