Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 42:1-9

Omuweereza wa Katonda

42 (A)Laba omuweereza wange gwe mpanirira,
    omulonde wange gwe nsanyukira ennyo.
Ndimuwa Omwoyo wange
    era alireeta obwenkanya eri amawanga.
Talireekaana
    wadde okuyimusa eddoboozi lye mu luguudo.
(B)Talimenya lumuli lubetentefu
    oba okuzikiza olutambi olwaka empola ennyo;
mu bwesigwa alireeta obwenkanya.
    (C)Taliremererwa oba okuggwaamu essuubi okutuusa ng’aleesewo obutebenkevu ku nsi.
N’ebizinga eby’ewala
    biririndirira amateeka ge.

(D)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda,
eyatonda eggulu n’alibamba.
    Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu;
awa omukka abantu baakwo
    era n’obulamu eri bonna abagitambulirako.
(E)“Nze Mukama,
    nakuyita mu butuukirivu.
Ndikukwata ku mukono era ndikukuuma.
    Ndikufuula okuba endagaano eri abantu,
    era omusana eri bannamawanga.
(F)Okuzibula amaaso g’abazibe,
    okuta abasibe okuva mu makomera
    n’okuggya abo abali mu bunnya, abo abali mu kizikiza.

(G)“Nze Mukama,
    eryo lye linnya lyange, n’ekitiibwa kyange sirikiwa mulala,
    newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala.
Laba, ebyo bye nagamba nti
    biribaawo bituuse,
kaakano mbabuulira ku bigenda okujja;
    mbibategeeza nga tebinnabaawo.”

Zabbuli 36:5-11

Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu;
    obwesigwa bwo butuuka ku bire.
(A)Obutuukirivu bwo bugulumivu ng’agasozi aganene,
    n’obwenkanya bwo buwanvu nnyo ng’ennyanja ennene ennyo.
Ayi Mukama, olabirira abantu n’ebisolo.
    (B)Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika.
Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa
    baddukira mu biwaawaatiro byo.
(C)Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta;
    obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.
(D)Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu,
    era gw’otwakiza omusana.

10 Yongeranga okwagala abo abakutegeera,
    era n’obutuukirivu bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.
11 Ab’amalala baleme okunninnyirira,
    wadde ababi okunsindiikiriza.

Abaebbulaniya 9:11-15

Omusaayi gwa Kristo

11 (A)Kristo yajja nga Kabona Asinga Obukulu ow’ebintu ebirungi ebyali bigenda okujja. Yayingira mu weema esinga obukulu n’okutuukirira, etaakolebwa na mikono gya bantu, etali ya mu nsi muno. 12 (B)Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogw’ente ennume, naye yayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu omulundi gumu gwokka n’omusaayi gwe; bw’atyo ye yennyini n’atufunira obulokozi obutaggwaawo. 13 (C)Obanga omusaayi gw’embuzi, n’ente ennume, n’evvu ly’ente enduusi, bimansirwa ku abo abalina ebibi, ne bibatukuza mu mubiri; 14 (D)omusaayi gwa Kristo ataliiko kamogo, eyeewaayo ye yennyini eri Katonda olw’Omwoyo ataggwaawo, tegulisinga nnyo okutukuza emyoyo gyaffe okuva mu bikolwa ebifu tulyoke tuweereze Katonda omulamu?

15 (E)Noolwekyo Kristo ye mutabaganya mu ndagaano empya, okufa bwe kwabaawo olw’okununulibwa okuva mu byonoono eby’omu ndagaano eyasooka, abo abaayitibwa ab’obusika obutaggwaawo balyoke baweebwe ekisuubizo.

Yokaana 12:1-11

Yesu Asiigibwa Amafuta ag’Akaloosa e Besaniya

12 (A)Bwe waali wakyabulayo ennaku mukaaga emikolo gy’Embaga ejjuukirirwako Okuyitako gitandike, Yesu n’ajja e Besaniya ewa Laazaalo gwe yazuukiza. (B)Ne bamufumbira ekyeggulo, Maliza n’aweereza, Laazaalo nga ye omu ku baali batudde ne Yesu okulya. (C)Awo Maliyamu n’addira eccupa erimu amafuta amalungi ag’akaloosa ag’omugavu, ag’omuwendo omungi, n’agafuka ku bigere bya Yesu n’abisiimuuza enviiri ze. Ennyumba yonna n’ejjula akaloosa k’amafuta ago.

(D)Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu, eyali ow’okumulyamu olukwe, n’agamba nti, “Lwaki amafuta ago tegatundiddwamu eddinaali ebikumi bisatu ne zigabirwa abaavu?” (E)Yayogera bw’atyo si lwa kuba nti yali alumirwa nnyo abaavu, wabula Lwa kubanga yali mubbi. Yatwalanga ensimbi ezaaterekebwanga mu nsawo y’ensimbi.

(F)Yesu n’alyoka abagamba nti, “Omukazi mumuleke, akoze ekyo lwa kunteekerateekera kuziikibwa kwange. (G)Abaavu muli nabo bulijjo, naye Nze sijja kuba nammwe bulijjo.”

Olukwe olw’Okutta Laazaalo

(H)Awo ekibiina kinene eky’Abayudaaya bwe bategeera nti Yesu ali Besaniya, ne bajja, si Lwa Yesu yekka, naye n’okulaba Laazaalo, Yesu gwe yazuukiza. 10 Awo bakabona abakulu ne basala amagezi okutta Laazaalo, 11 (I)kubanga yaleetera Abayudaaya bangi okuva ku bakulembeze baabwe ne bakkiriza Yesu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.