Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
9 (A)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi;
amaaso gange gakooye olw’ennaku;
omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.
10 (B)Obulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyange
ne giggwaawo olw’okusinda.
Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange,
n’amagumba ganafuye.
11 (C)Abalabe bange bonna bansekerera,
banneetamiddwa.
Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange,
n’abandaba mu kkubo banziruka.
12 (D)Nneerabiddwa ng’eyafa edda;
nfuuse ng’ekibumbe ekyatifu.
13 (E)Buli ludda mpulirayo obwama
nga bangeya;
bye banteesaako
nga basala olukwe okunzita.
23 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 2 (A)“Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Zino ze mbaga zange ze nnonze, nga ze mbaga za Mukama Katonda ezirondeddwa ze munaakubirangako enkuŋŋaana entukuvu.
Ssabbiiti
3 (B)“Mu nnaku omukaaga munaakolerangamu emirimu gyammwe, naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ey’okuwummula; lunaabeeranga olunaku olw’okukuŋŋaana okutukuvu. Temulukolerangako mulimu n’akatono yonna gye munaabeeranga, kubanga ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda.
Okuyitako n’Emigaati Egitali Mizimbulukuse
4 “Zino ze mbaga Mukama Katonda ze yeerondera okunaakubirwanga enkuŋŋaana entukuvu ze munaalangiriranga mu ntuuko zaazo: 5 (C)Embaga ya Mukama Katonda ey’Okuyitako eneetandikanga ng’obudde buwungeera ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye. 6 Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo, Embaga ya Mukama Katonda ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse kw’eneetandikiranga; munaamalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egifumbiddwa nga temuli kizimbulukusa. 7 (D)Ku lunaku olusooka olw’embaga eyo ey’Okuyitako munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyammwe egya bulijjo. 8 Munaamalanga ennaku musanvu nga buli lunaku muleeta ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama. Ku lunaku olw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyammwe egya bulijjo.”
Yuda Alya mu Yesu Olukwe
22 (A)Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa eyitibwa Okuyitako yali esembedde. 2 (B)Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka baali bakola kaweefube okusala amagezi okutta Yesu, naye nga batya abantu okusasamala. 3 (C)Awo Setaani n’ayingira mu Yuda Isukalyoti eyali omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri, 4 (D)n’agenda eri bakabona abakulu n’abakuumi ba Yeekaalu abakulu, n’ateesa nabo nga bw’anaamuwaayo gye bali. 5 (E)Ne basanyuka nnyo, era ne bakkiriza okumusasula. 6 Yuda n’akkiriza okuwaayo Yesu, n’anoonya akakisa konna mw’anaamuweerayo gye bali nga tewali kibiina.
Ekyekiro eky’Enkomerero
7 (F)Awo olunaku olw’Emigaati Egitazimbulukuswa, okuttirwa omwana gw’endiga ogw’embaga y’Okuyitako, ne lutuuka. 8 (G)Yesu n’atuma Peetero ne Yokaana n’abagamba nti, “Mugende mututegekere ekyekiro kyaffe eky’okuyitako, tujje tukirye.”
9 Ne bamubuuza nti, “Oyagala tukitegekere wa?”
10 Yesu n’abaddamu nti, “Munaaba mwakayingira mu kibuga, mujja kulaba omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi ng’atambula. Mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw’anaayingira, 11 mugambe nnyinimu nti, ‘Omuyigiriza atutumye gy’oli ng’agamba nti: Ekisenge ky’abagenyi kiruwa mwe nnaaliira Okuyitako n’abayigirizwa bange?’ 12 Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu nga kitegekeddwa bulungi. Omwo mwe muba mutegekera.”
13 (H)Ne balaga mu kibuga, ne basanga buli kimu nga Yesu bwe yabagamba. Ne bateekateeka Okuyitako.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.