Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
20 (A)Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu.
Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.
2 (B)Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu;
akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.
3 (C)Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa,
era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.
4 (D)Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga,
era atuukirizenga by’oteekateeka byonna.
5 (E)Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo,
ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe.
Mukama akuwenga byonna by’omusaba.
6 (F)Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta,
amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo,
ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.
7 (G)Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi,
naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
8 (H)Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo,
naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.
9 (I)Ayi Mukama, lokola kabaka,
otwanukule bwe tukukoowoola.
Okusaba kwa Kaabakuuku
3 Okusaba kwa nnabbi Kaabakuuku, okw’Ekisigiyonosi.
2 (A)Ayi Mukama, mpulidde ebigambo byo;
mpulidde ettutumu lyo Ayi Mukama, ne ntya.
Bizze buggya mu nnaku zaffe,
bimanyise mu biro bino,
era mu busungu jjukira okusaasira.
3 (B)Katonda yajja ng’ava e Temani,
Omutukuvu oyo ng’ava ku lusozi Palani.
Ekitiibwa kye kyatimbibwa ku ggulu,
ensi n’eryoka ejjula ettendo lye.
4 Okumasamasa kwe ne kulyoka kubeera ng’enjuba evaayo.
Ebimyanso byayakanga okuva mu mukono gwe,
era omwo mwe mwasinziiranga amaanyi ge ag’ekitalo.
5 Kawumpuli ye yakulembera,
Endwadde endala zinaamutta ne zigoberera.
6 (C)Yayimirira n’anyeenyanyeenya ensi;
Yatunula n’akankanya amawanga.
Ensozi ez’edda za merenguka,
obusozi obw’edda ne buggwaawo. Engeri ze, za mirembe na mirembe.
7 (D)Nalaba eweema z’e Kusani nga ziri mu nnaku:
n’entimbe ez’ensi ya Midiyaani nga zijugumira.
8 (E)Ayi Mukama, wanyiigira emigga?
Obusungu bwo bwali ku bugga obutono?
Wanyiigira ennyanja
bwe weebagala embalaasi zo,
n’olinnya ku magaali go ag’obuwanguzi?
9 (F)Wasowolayo akasaale ko,
wategeka okulasa obusaale;
ensi n’ogyawulayawulamu n’emigga.
10 (G)Ensozi zaakulaba, ne zeenyogootola;
Amataba ne gayitawo mbiro,
obuziba bw’ennyanja ne buwuluguma,
ne busitula amayengo gaayo waggulu.
11 (H)Enjuba n’omwezi ne biyimirira butengerera mu bifo byabyo,
olw’okumyansa kw’obusaale bwo nga buwenyuka,
n’olw’okumyansa kw’effumu lyo eritemagana.
12 (I)Watambula okuyita mu nsi ng’ojjudde ekiruyi,
wasambirirasambirira amawanga mu busungu bwo.
13 (J)Wavaayo oleetere abantu bo obulokozi,
olokole gwe wafukako amafuta;
Wabetenta omukulembeze w’ensi ekola ebibi,
ng’omwerulira ddala okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.
14 (K)Wafumita omutwe gwe n’effumu lye ye,
abalwanyi be bwe baavaayo okutugoba,
nga bali ng’abanaatumalawo,
ffe abaali baweddemu essuubi nga twekwese.
15 (L)Walinnyirira ennyanja n’embalaasi zo,
n’otabangula amazzi amangi.
Yesu Ayongera Okwogera ku Kufa kwe
31 (A)Awo Yesu n’azza ku bbali ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, era bwe tunaatuuka eyo, byonna bannabbi bye bawandiika ku Mwana w’Omuntu, bijja kutuukirizibwa. 32 (B)Ajja kuweebwayo eri Abamawanga okukudaalirwa n’okuvumibwa. Balimuduulira, ne bamubonyaabonya, ne bamuwandira amalusu, 33 (C)balimukuba era ne bamutta. Ne ku lunaku olwokusatu alizuukira.”
34 (D)Naye abayigirizwa be tebaategeera ky’agamba, amakulu gaakyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera bye yayogera.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.