Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yoswa 5:9-12

Mukama n’agamba Yoswa nti, “Okuva olwa leero mbaggyeeko ekivume ky’e Misiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Girugaali n’okutuusa kaakano.

Abayisirayiri bakwata Okuyitako e Girugaali

10 (A)Awo Abayisirayiri bwe baali bakyasiisidde e Girugaali embaga ey’Okuyitako n’etuuka era ne bagirya akawungeezi ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi, mu lusenyi lw’e Yeriko. 11 (B)Enkeera ne balya emmere ey’omu nsi y’e Kanani: emigaati egitali mizimbulukuse n’empeke ensiike. 12 (C)Okuva ku lunaku olwo lwe baalya ku mmere y’omu Kanani tebaddamu kufuna Maanu; olwo ne batandika kulyanga mmere ya mu nsi eyo.

Zabbuli 32

Zabbuli ya Dawudi.

32 (A)Alina omukisa oyo
    asonyiyiddwa ebyonoono bye
    ekibi ne kiggyibwawo.
(B)Alina omukisa omuntu oyo
    Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
    ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.

(C)Bwe nasirikiranga ekibi kyange,
    ne nkogga,
    kubanga nasindanga olunaku lwonna.
(D)Wambonerezanga
    emisana n’ekiro,
amaanyi ne ganzigwamu
    ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.

(E)Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
    ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
    “Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
    n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.

(F)Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa
    bakwegayirire ng’okyalabika;
oluvannyuma ebizibu bwe birijja,
    ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.
(G)Oli kifo kyange mwe nneekweka,
    ononkuumanga ne situukwako kabi
    era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.

(H)Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga;
    nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
(I)Temubeeranga ng’embalaasi
    oba ennyumbu ezitategeera,
ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba,
    ziryoke zifugibwe zijje gy’oli.
10 (J)Ababi balaba ennaku nnyingi;
    naye abeesiga Mukama bakuumirwa
    mu kwagala kwe okutaggwaawo.

11 (K)Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu,
    era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.

2 Abakkolinso 5:16-21

16 (A)okuva kaakano, tuleme okumanya omuntu yenna mu mubiri, bwe tuba nga ddala twamanya Kristo mu mubiri. Naye kaakano tetukyamumanyi bwe tutyo. 17 (B)Noolwekyo omuntu yenna bw’abeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; eby’edda nga bigenze, laba ng’afuuse muggya. 18 (C)Ebintu byonna biva eri Katonda eyatukomyawo gy’ali nga tuyita mu Kristo, era ne tuweebwa obuweereza obw’okutabaganya. 19 (D)Kubanga Katonda yali mu Kristo, ng’atabagana n’abantu, nga tababalira, bibi byabwe, n’atuteresa ffe obubaka obw’okutabaganya. 20 (E)Noolwekyo ku bwa Kristo tuli babaka, era Katonda atuma ffe okwogera nammwe. Kyetuva tubeegayirira, ku bwa Kristo, mutabagane ne Katonda. 21 (F)Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.

Lukka 15:1-3

Olugero lw’Endiga Eyabula

15 (A)Awo abasolooza b’omusolo n’abakozi b’ebibi ne bakuŋŋaanira eri Yesu okumuwuliriza. (B)Naye Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beemulugunya nga bagamba nti Yesu akolagana n’abantu abalina ebibi, n’okulya n’alya nabo.

(C)Yesu n’alyoka abagerera olugero luno ng’agamba nti,

Lukka 15:11-32

Olugero lw’omwana eyazaawa

11 (A)Awo Yesu n’abagamba nti, “Waaliwo omusajja eyalina batabani be babiri. 12 (B)Omuto n’agamba kitaawe nti, ‘Kitange, nkusaba ompe omugabo gwange ku bintu byo ogunsaanidde.’ Kitaawe n’abagabanyiza ebintu byabwe.

13 (C)“Waayitawo ennaku ntono, omwana omuto n’asibako ebintu bye byonna ne yeetambulira, n’agenda mu nsi ey’ewala. Bwe yatuuka eyo n’asaasaanya ebintu bye ne yeemalira mu binyumu. 14 Mu kiseera ekyo we yamalirawo ebintu bye byonna, n’enjala nnyingi we yagwira mu nsi omwo mwe yali, n’asiibanga era n’asulanga enjala. 15 (D)N’agenda abeere ew’omwami omu ow’omu nsi omwo n’amusaba amuwe omulimu, n’amusindika gye yalundiranga embizzi azirabirirenga. 16 Omulenzi ne yeegombanga okulyanga ebikuta by’embizzi, naye ne watabaawo amuwa kantu konna.

17 “Naye bwe yeddamu n’agamba nti, ‘Eka ewaffe, abasajja abapakasi aba kitange bafuna emmere nnyingi ne balya ne balemwa, naye nze ndi wano nfiira wano enjala! 18 (E)Nnaagenda eri kitange, mugambe nti, Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go, 19 era sikyasaanira na kuyitibwa mwana wo. Nfunira omulimu mbeere ng’abapakasi bo.’ 20 (F)Bw’atyo n’asitula n’addayo ewa kitaawe.

“Naye bwe yali ng’akyaliko wala n’awaka, kitaawe n’amulengera ng’ajja, n’amusaasira nnyo. Kitaawe ng’ajjudde amaziga n’amusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amunywegera. 21 (G)Omwana n’agamba kitaawe nti, ‘Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo.’

22 (H)“Naye kitaawe n’alagira abaddu be nti, ‘Mwanguwe mangu! Muleete ekkanzu esinga obulungi mugimwambaze. Mumunaanike empeta ku ngalo ye, mumwambaze n’engatto! 23 Era mugende mutte ennyana eya ssava. Tufumbe embaga nnene tujaguze. 24 (I)Kubanga mutabani wange ono yali afudde kaakano mulamu, yali azaaye laba wuuno azaawuse.’ Embaga n’etandika.

25 “Mu kiseera ekyo omwana omukulu yali ali mu nnimiro. Awo bwe yali akomawo eka ng’asemberedde ennyumba, n’awulira ennyimba ez’amazina. 26 N’ayita omu ku baweereza n’amubuuza bwe bibadde. 27 Omuweereza n’amutegeeza nti, ‘Muganda wo akomyewo, era kitammwe amuttidde ennyana eya ssava olwokubanga muganda wo akomyewo nga mulamu bulungi.’

28 (J)“Muganda we omukulu n’anyiiga, n’okuyingira n’atayingira mu nnyumba. Naye kitaawe n’ajja n’amwegayirira ayingire, 29 naye omwana n’amuddamu nti, ‘Emyaka gino gyonna nkukoledde, era tewali mulundi na gumu Lwe wali ondagidde ne nkujeemera. Naye tompangayo wadde akabuzi akato neesanyuseeko ne mikwano gyange. 30 (K)Naye kale mutabani wo olukomyewo ng’ebintu byo bye wamuwa amaze okubimalira mu bamalaaya, n’omuttira ennyana ensava.’

31 “Kitaawe n’amuddamu nti, ‘Laba mwana wange, tuli ffenna bulijjo, era byonna bye nnina bibyo. 32 (L)Kaakano kituufu okusanyuka n’okujaguza. Kubanga muganda wo, yali afudde, kaakano mulamu! Yali azaaye, wuuno azaawuse!’ ”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.