Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.
63 (A)Ayi Katonda, oli Katonda wange,
nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
emmeeme yange ekwetaaga,
omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,
nga nnina ennyonta ng’ali
mu nsi enkalu omutali mazzi.
2 (B)Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu,
ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
3 (C)Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu;
akamwa kange kanaakutenderezanga.
4 (D)Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;
nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5 (E)Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga;
nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.
Ebiseera eby’Enkomerero
12 (A)“Mu biro ebyo Mikayiri omulangira omukulu akuuma abantu bo aligolokoka, ne yeeyimirira abantu bo. Waliba ekiseera eky’okubonaaboneramu ekitabangawo okuva ku kutondebwa kw’amawanga. Naye mu biro ebyo, omuntu aliba awandiikiddwa mu kitabo, alirokolebwa. 2 (B)Bangi ku beebase mu nfuufu ey’ensi baligolokoka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n’abalala eri ensonyi n’okuswazibwa okutaggwaawo. 3 (C)Abo abalina okutegeera balyakaayakana ng’okumasamasa kw’omu bbanga; n’abo abakyusa abangi okudda eri obutuukirivu, balyakaayakana ng’emmunyeenye emirembe n’emirembe. 4 (D)Naye ggwe Danyeri, bikka era osse envumbo ku kitabo okutuusa ekiseera eky’enkomerero lwe kirituuka. Bangi balitambula eno n’eri, era n’okumanya n’amagezi kulyeyongera.”
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Saadi
3 (A)(B) “Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Saadi wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda n’emmunyeenye omusanvu nti, Mmanyi ebikolwa byo, ng’olina erinnya eriraga nti oli mulamu so nga oli mufu. 2 Kale weegendereze onyweze ebikyasigaddewo ebitannafa. Kubanga mu by’okola sinnalabamu by’otuukiriza mu maaso ga Katonda wange. 3 (C)Kale jjukira bye wayigirizibwa ne bye wawulira obikwate era weenenye. Bw’otegendereze ndijja mangu ng’omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy’oli.
4 (D)Naye waliwo abamu mu Saadi abatonotono abatayonoonanga byambalo byabwe, balitambula nange nga bambadde engoye enjeru, kubanga basaanidde. 5 (E)Na buli awangula alyambazibwa engoye enjeru nga bali, era sirisangula linnya lye mu kitabo ky’obulamu, naye ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne bamalayika be nti oyo muntu wange. 6 (F)Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.