Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 105:1-15

105 (A)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;
    amawanga gonna mugategeeze by’akoze.
(B)Mumuyimbire, mumutendereze;
    muyimbe ku byamagero bye.
Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;
    emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.
(C)Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
    mumunoonyenga ennaku zonna.

(D)Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola,
    ebyamagero bye, n’emisango gye yasala;
(E)mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be
    mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
Ye Mukama Katonda waffe;
    ye alamula mu nsi yonna.

(F)Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
    kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,
(G)ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,
    era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.
10 (H)Yakikakasa Yakobo ng’etteeka,
    n’akiwa Isirayiri ng’endagaano eteriggwaawo nti,
11 (I)“Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani
    okuba omugabo gwo.”

12 (J)Bwe baali bakyali batono,
    nga si bangi n’akamu, era nga bagwira mu nsi omwo,
13 baatambulatambulanga okuva mu ggwanga erimu okulaga mu ddala,
    ne bavanga mu bwakabaka obumu ne balaga mu bulala.
14 (K)Teyaganya muntu yenna kubayisa bubi;
    n’alabulanga bakabaka ku lwabwe nti,
15 (L)“Abalonde bange,
    ne bannabbi bange temubakolangako kabi.”

Zabbuli 105:16-41

16 (A)Yaleeta enjala mu nsi,
    emmere yaabwe yonna n’agizikiriza.
17 (B)N’atuma omuntu okubeesooka mu maaso,
    ye Yusufu eyatundibwa ng’omuddu,
18 (C)ebigere bye ne binuubulwa enjegere ze baamusibya,
    obulago bwe ne buteekebwa mu byuma,
19 (D)okutuusa bye yategeeza lwe byatuukirira,
    okutuusa ekigambo kya Mukama lwe kyamukakasa nti bye yayogera bya mazima.
20 (E)Kabaka n’atuma ne bamusumulula;
    omufuzi w’ensi eyo yamuggya mu kkomera.
21 Yamufuula omukulu w’eby’omu maka ge,
    n’akulira byonna omufuzi oyo bye yalina;
22 (F)okukangavvulanga abalangira be nga bwe yalabanga,
    n’okuyigiriza abakulu eby’amagezi.

23 (G)Oluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri;
    Yakobo bw’atyo n’atuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga.
24 (H)Mukama n’ayaza nnyo abantu be;
    ne baba bangi nnyo, n’abalabe baabwe ne beeraliikirira,
25 (I)n’akyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be,
    ne basalira abaweereza be enkwe.
26 (J)Yatuma abaweereza be Musa
    ne Alooni, be yalonda.
27 (K)Ne bakola obubonero bwe obw’ekitalo mu bantu abo;
    ne bakolera ebyamagero bye mu nsi ya Kaamu.
28 (L)Yaleeta ekizikiza ensi yonna n’ekwata,
    kubanga baali bajeemedde ekigambo kye.
29 (M)Amazzi gaabwe yagafuula omusaayi,
    ne kireetera ebyennyanja byabwe okufa.
30 (N)Ensi yaabwe yajjula ebikere,
    ebyatuukira ddala ne mu bisenge by’abafuzi baabwe.
31 (O)Yalagira, ebiwuka ebya buli ngeri ne bijja,
    n’ensekere ne zeeyiwa mu bitundu byonna eby’ensi yaabwe.
32 (P)Yafuula enkuba okuba amayinja g’omuzira;
    eggulu ne libwatuka mu nsi yaabwe yonna.
33 (Q)Yakuba emizeeyituuni n’emizabbibu,
    n’azikiriza emiti gy’omu nsi yaabwe.
34 (R)Yalagira, enzige ne zijja
    ne bulusejjera obutabalika muwendo.
35 Ne birya buli kimera kyonna mu nsi yaabwe,
    na buli kisimbe kyonna mu ttaka lyabwe ne kiriibwa.
36 (S)N’azikiriza abaana ababereberye bonna mu nsi yaabwe,
    nga bye bibala ebisooka eby’obuvubuka bwabwe.
37 (T)Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu;
    era bonna baali ba maanyi.
38 (U)Abamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze,
    kubanga baali batandise okubatiira ddala.
39 (V)Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka,
    n’omuliro ne gubamulisiza ekiro.
40 (W)Baamusaba, n’abaweereza enkwale
    era n’abaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta.
41 (X)Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika,
    ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.

Zabbuli 105:42

42 (A)Kubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvu
    kye yawa omuweereza we Ibulayimu.

2 Ebyomumirembe 20:1-22

Yekosafaati Awangula Abamowaabu n’Abamoni

20 (A)Bwe wayitawo ebbanga, Abamowaabu n’Abamoni nga bali wamu n’abamu ku Bamoni ne balumba Yekosafaati okumulwanyisa.

(B)Abasajja abamu ne bagenda ne bategeeza Yekosafaati nti, “Eggye ddene eriva e Busuuli okuva emitala w’Ennyanja ey’Omunnyo, likulumbye, era lituuse mu Kazazonutamali, ye Engedi,” (C)Yekosafaati n’atya nnyo n’amalirira okwebuuza ku Mukama, era n’alangirira okusiiba mu Yuda yonna. Yuda yonna n’ekuŋŋaana okunoonya okubeerwa okuva eri Mukama okuva mu bibuga byonna ebya Yuda.

Awo Yekosafaati n’ayimirira mu maaso g’ekkuŋŋaaniro lya Yuda ne Yerusaalemi, mu yeekaalu ya Mukama mu maaso g’oluggya olupya, (D)n’ayogera nti,

“Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe, si ggwe Katonda ow’omu ggulu? Si ggwe ofuga obwakabaka bwonna mu nsi? Obuyinza n’amaanyi biri mu mukono gwo, n’okubaawo ne watabaawo n’omu ayinza okuyimirira mu maaso go. (E)Ayi Katonda waffe, si ggwe wagobamu abatuuze abaali mu nsi eno mu maaso g’abantu bo Isirayiri, n’ogiwa ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwo okugibeerangamu emirembe gyonna? (F)Era bagibaddemu ne bazimbamu ekifo ow’okusinziza erinnya lyo, nga boogera nti, (G)‘Bwe tulituukibwako akabi konna, oba ekitala eky’okusala omusango, oba lumbe, oba njala, tunaayimiriranga mu maaso go, ne mu maaso ga yeekaalu eno okuli erinnya lyo, ne tukukaabiriranga mu kulumwa kwaffe n’otuwulira era n’otulokola.’

10 (H)“Naye kaakano laba, abasajja ba Amoni ne Mowaabu n’ab’oku Lusozi Seyiri, ab’omu kibangirizi kye wagaana Isirayiri okulumba bwe baava mu nsi y’e Misiri, era babeewala ne batagenda kubazikiriza, 11 (I)laba bwe baagala okutusasula nga batugobaganya mu kifo kye watuwa ng’omugabo gwaffe. 12 (J)Ayi Katonda waffe, toobasalire musango? Kubanga tetulina maanyi ga kulwana na ggye lino eddene eritulumbye. Tetumanyi kya kukola, wabula amaaso gaffe gatunuulidde ggwe.”

13 Abasajja bonna aba Yuda, wamu ne bakyala baabwe, n’abaana baabwe, n’abaana abasemberayo ddala obuto, ne bayimirira mu maaso ga Mukama.

14 (K)Awo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya, muzzukulu wa Benaya muzzukulu wa Yeyeri, muzzukulu wa Mattaniya, Omuleevi ow’ezzadde lya Asafu ng’ayimiridde wakati mu lukuŋŋaana.

15 (L)N’ayogera nti, “Kabaka Yekosafaati, ne Yuda yenna, n’abatuuze ba Yerusaalemi, kino Mukama ky’abagamba nti, ‘Temutya era temuggwaamu mwoyo olw’eggye eryo eddene, kubanga olutalo si lwammwe, naye lwa Katonda. 16 Enkya muserengete mubasisinkane; laba bajja kwambukira awalinnyirwa e Zizi, era munaabasisinkana ekiwonvu we kikoma mu ddungu lya Yerweri. 17 (M)Tekijja kubeetagisa kulwana lutalo luno. Mubeere mu bifo byammwe, mube bagumu mulabe obuwanguzi Mukama bw’anaabawa mmwe Yuda ne Yerusaalemi. Temutya wadde okuggwaamu omwoyo; enkya mugende mubasisinkane, Mukama anaabeera nammwe.’ ”

18 (N)Awo Yekosafaati n’avuunama amaaso ge ku ttaka, era ne Yuda yenna n’abatuuze bonna ab’e Yerusaalemi ne bavuunama wansi mu maaso ga Mukama ne bamusinza. 19 Abamu ku Baleevi, Abakokasi n’abalala nga Bakoola ne bayimirira okutendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri, n’eddoboozi ery’omwanguka.

20 (O)Ne bakeera mu makya ne bagenda mu ddungu lya Tekowa. Bwe baali nga bagenda Yekosafaati n’ayimirira n’abagamba nti, “Mumpulirize, Yuda n’abantu ab’e Yerusaalemi! Mube n’okukkiriza mu Mukama Katonda wammwe munaanywezebwa; mukkirize bannabbi be, munaalaba omukisa.” 21 (P)Awo bwe yamala okwebuuza ku bantu, n’alonda abasajja ab’okuyimbira Mukama, n’okumutendereza olw’ekitiibwa ky’obutuukirivu bwe, abakulemberamu eggye, nga boogera nti,

“Mwebaze Mukama
    kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

22 (Q)Awo bwe batandika okuyimba n’okutendereza, Mukama n’ataayiza abasajja ba Amoni, n’aba Mowaabu, n’ab’oku Lusozi Seyiri, abaali balumbye Yuda, ne bawangulwa.

Lukka 13:22-31

Omulyango Omufunda

22 (A)Awo Yesu n’ayita mu bibuga ne mu bubuga; yagendanga ayigiriza ng’ali ku lugendo lwe ng’agenda e Yerusaalemi. 23 Ne wabaawo eyeewuunya nti, “Mukama waffe, abantu abalirokolebwa nga baliba batono?”

Yesu n’addamu nti, 24 (B)“Mufube okuyingira mu mulyango omufunda kubanga mbagamba nti, bangi balyagala okuyingira naye tebalisobola. 25 (C)Nannyinimu bw’alisituka n’aggalawo oluggi, mugenda kubeera bweru nga mukonkona nga bwe mwegayirira nti, ‘Mukama waffe, tuggulirewo.’ Agenda kubaanukula nti, ‘Sibamanyi, ne gye muva simanyiiyo.’ 26 Nammwe muliddamu nti, ‘Twalyanga naawe era twanywanga ffenna, era wayigirizanga mu nguudo z’ewaffe.’ 27 (D)Naye alibaddamu nti, ‘Sibamanyi, ne gye muva simanyiiyo. Munviire mwenna abakozi b’ebitali bya bituukirivu.’ 28 (E)Era waliba okukuba ebiwoobe n’okuluma obujiji bwe muliraba Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo ne bannabbi bonna nga bali mu bwakabaka bwa Katonda, naye nga mmwe musuulibbwa ebweru. 29 (F)Kubanga abantu baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba, ne bava ne mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, ne batuula ku mmeeza mu bwakabaka bwa Katonda. 30 (G)Era laba, abooluvannyuma baliba aboolubereberye, n’aboolubereberye baliba abooluvannyuma.”

Yesu Anakuwalira Yerusaalemi

31 (H)Mu kiseera ekyo ne wabaawo abamu ku Bafalisaayo abajja eri Yesu ne bamugamba nti, “Tambula ove wano, kubanga Kerode ayagala kukutta.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.